Gavumenti etadde envumbo ku Sipiika Among nabalala 4
Gavumenti ya Amerika evuddeyo neteeka ekkoligo lyobutayigira Ggwanga eryo ku bakulu abalala 5 mu Gavumenti lwa buli bwa nguzi n’obukenuzi wamu n’okulinyirira eddembe ly’obuntu. Bano kuliko Sipiika wa Palamenti Anita Annet Among ngono bamuvunaanye buli bwanguzi obususse obwetololera ku Palamenti gyakulembera, eyali Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Karamoja Mary Goretti Kitutu, eyali Minisita omubeezi avunaanyizibwa […]
Abdu Katuntu yebalamye ebyokuteeka omukono ku kiwandiiko ekiggya obwesige mu ba Kkamisona
Abdu Katuntu (Bugweri County) avuddeyo nategeeza nga bwatasobola kuteeka mukono ku kiwandiiko kiggya obwesige mu ba Kkamisona ba Palamenti nga agamba nti Akakiiko kakulembera aka Parliament’s Rules Committee, kekaweebwa obuyinza okutunula mu nsonga ezikwatagana neneyisa y’Ababaka nga nabwekityo ekigenda mu maaso essaawa eno Ababaka bano bandifundikira nga basindikiddwa mu Kakiiko kakulembera.
Sinakwata ku ssente wabula eyaleeta ekiteeso simwesiga – Hon. Luttamaguzi
Omubaka Luttamaguzi Paulson Ssemakula avuddeyo nasambajja ebibadde bitambuzibwa nti yomu ku bafunye obukadde 25 obutateeka mukono ku kiwandiiko ekiggya obwesige mu bakkamisona ba Palamenti 4 abeggemulira ensimbi ezisoba mu kawumbi nga agabamba nti ye ekikyamugaanye okuteekako omukono kwekuba nti omuntu eyaleeta ekiteeso kino Theodore Ssekikubo (Lwemiyaga County) tamwesiga okuba nti kyakulemberamu kiyamba Bannayuganda kuba mu […]
Minisita eyabba omuceere ne nnyama e Masaka ku mukolo gwa Gen. Muhoozi tomuyitanga? – Gashumba
Omumyuuka wa Ssentebe owa massekkati owa Patriotic League of Uganda, Frank M. Gashumba alumbye Director for mobilization, era Omubaka akiikirira Igara East mu Disitulikiti ye Bushenyi Michael Mawanda. Kino kyaddiridde Gashumba okuvaayo nawandiika ku mukutu gwa X ngayagala abavunaanyizibwa ku byokwerinda mu Ggwanga okuvaayo bunnambiro bataase Bannayuganda ku bakifeesi ababatiggomya wabula Omubaka Mawanda namuyita Bunnambiro […]
Omubaka Nsibambi naye atadde omukono ku kiwandiiko ekiggya obwesige mu kkamisona
Nampala w’Ababaka ba Forum for Democratic Change mu Palamenti akiikirira Mawokota South Yusuf Nsibambi avuddeyo nagenda okuteeka omukono ku kiwandiiko ekiggyamu ba Kkamisono ba Palamenti 4 abegemulira akasiimo akaweza ensimbi akawumbi 1 mu obukadde 700 so nga ate baali bafuna obukadde 23 nga ngomusaala buli mwezi. Ono yegaanye okuba nakakuku konna ku bantu bano 4 […]
IGP wewale entalo naba Opposition – Minisita Otafiire
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’omunda mu Ggwanga Maj. Gen. Kahinda Otafiire avuddeyo nakalataira Ssaabadduumizi wa Uganda Police Force omuggya IGP Abas Byakagaba obutasaawo ntalo na bannabyafuuzi abali ku ludda oluvuganya Gavumenti wabula abakwate mu ngeri amateeka gyegamulambikamu bwewaba nga waliwo ebitatambula bulungi.
Persis Namuganza naye awagidde ekyokuggya obwesige mu ba KKamisona
Minisita omubeezi owettaka avunaanyizibwa ku nsonga zamayumba Persis Namuganza asekeredde ba Kkaminsona ba Palamenti olw’okukemererwa okuyimirira ku bigambo byabwe eby’okulwanirira abantu, ne batuuka okwegabanya ensimbi y’omuwi w’omusolo bwebeewa akasiimo ngate be bamu ku baakulemberamu enteekateeka y’okumuggyamu obwesiga ku kifo ky’obwa minisita omwaka oguwedde. Bino Minisita Namuganza abyogedde bwabadde assa omukono ku kiwandiiko ekiggya obwesige mu […]
IGP ne DIGP abaggya bakwasiddwa offiisi mu butongole
Ekiriwo kati: Okuwaayo offiisi wamu n’okutuuza abaggya Inspector General of Police ne Deputy Inspector General of Police. Omukolo gguno gugenda mu maaso ku kitebe kya Uganda Police Force e Naguru. Omukolo gwetabiddwa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga zomunda mu Gggwanga Hon. Maj. Gen. Kahinda Otafiire ne Minisita Omubeezi ow’ensonga zomunda mu Ggwanga Gen. David Muhoozi.
Poliisi ekutte abavubuka 15 e Kira
Omumyuuka w’omwogezi wa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi bweyakoze ekikwekweto oluvannyuma lwokutemezebwako nekwata abantu 15 abagambibwa okuba abamenyi b’amateeka mu Kira Division nga 27-May. Poliisi yakutte abamenyi bamateeka lukulwe mu bitundu bya; Nsawo Zone, Kyaliwajala Ward, Namugongo Division, mu Disitulikiti y’e Wakiso. Bano kuliko; Syino Michael, Katumba Ashraf alias Cobler […]