Ssekikubo akulembeddemu Ababaka abalala okujja obwesige mu ba commissioner abeewa akasiimo
Waliwo Ababaka ba Palamenti nga bakulembeddwamu Omubaka wa Lwemiyaga Theodore Ssekikubo, Joseph Ssewungu (Kalungu West), Sarah Opendi (Tororo Woman MP), Patrick Nsamba Oshabe (Kassanda North) ne Yorke Alioni Odria (Aringa South) abatandise okukungaanya emikono okuva mu Babaka banaabwe nga baagala okujja obwesige mu ba Kkamisona ba Palamenti abenyigira mukugabana ensimbi y’omuwi w’omusolo akawumbi 1 mu […]
Kizza eyagezaako okutema omusuubuzi asindikiddwa ku alimanda
Ashraf Kizza eyalabikira mu katambi ngagezaako okutemula omusuubuzi Sam Turyamuhaki yatwaliddwa mu Kkooti ye Mmengo. Ono yaguddwako emisango 2 okuli okugezaako okutta omuntu wamu nokugezaako okubba ngakozesa eryanyi. Omuwaabi wa Gavumenti Carolyn Mpumwire yategeezezza Kkooti nti okunoonyereza ku musango guno kwawedde dda nti era balindiridde kusindikibwa mu Kkooti Enkulu Adams Byarugaba omulamuzi wa Kkooti esookerwako […]
Omubaka Malende y’omu ku basoose e Kamuli nga beteekerateekera olukungaana lwa NUP
Omubaka Omukyala owa Kampala Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Shamim Malende yatuuse dda mu Disitulikiti y’e Kamuli ngeno ekibiina kya NUP gyekitandikidde ekitundu ekyokubiri ekyokuffeffetta obuwagizi bwa Bannayuganda nga bewandiisa. Ono agamba nti bategeezezza ku Uganda Police Force ngetteeka bwerigamba era bagisuubira okugoberera amateeka. Yatambudde nowuwe Ssebunya Andrew ngono mmemba wa NUP era Munnamateeka.
Poliisi etandise okuyigga Lecturer eyasobya ku muzibe
Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo nategeeza nti Poliisi eri ku muyiggo gwa Dr. Alon Laurence 56, nga musomesa ku Kyambogo University kubigambibwa nti yasobya ku muyizi muzibe ow’emyaka 16.
Bobi Wine alidde matereke ne Wangadya
Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine: “Okwemulugunya kuno nakuteekayo emyaka 5 egiyise. Ssentebe ne bammemba Akakiiko kano Ssemateeka akawa obuyinza okukuuma n’okulera eddembe lyobuntu wabula ate kalinyirira lirinyirire. Ssentebe w’Akakiiko akalera eddembe lyobuntu aka Uganda Human Rights Commission – UHRC Mariam Wangadya; “Ssebo bwekiba nti ekyo kyoyogedde kuba kulumbagana Kakiiko. Oli waddembe okuggyayo okwemulugunya kwo. […]
Omulamuzi agaanye okusaba kwa Katanga okwokweyimirirwa
Omulamuzi Isaac Muwata azzeemu okugoba okusaba kwa Molly Katanga okwokweyimirirwa. Omulamuzi ategeezezza nti Bannamateeka be balemeddwa okulaga ensonga endala eyawukana kuyokuba omuyi kuba ekitongole ky’amakomera kyategeeza nti kisobola bulungi okumuwa obujanjabi. Ono agamba nti ekyokukomyaawo ensonga yobulwadde baba nga abaagala Kkooti eddemu etunule mu kusalawo kwayo. Ategeezezza nti omusango gwakutandika okuwulirwa nga 2 – July.
Omukuumi wa Ssaabasajja yagenze ku misomo – Katikkiro
Katikkiro Charles Peter Mayiga avuddeyo nategeeza nti akulira eggye erikuuma Kabaka, erya Kabaka Protection Unit, Capt. Edward Ssempijja teyabuzeewo nga bali bweru oluvannyuma lw’eggye lya UPDF okulangirira nti ono anoonyezebwa. Katikkiro agamba nti ono yagenze ku misomo emitala w’amayanja oluvannyuma lwokufuna sikaala nti era yamuwandiikira mu butongole namutegeezaako. Omwogezi w’eggya lya UPDF Spokesperson Brig. Gen. […]
Eyaweebwa kkontulakita okuzimba essomero e Tororo akwatiddwa
Akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi okuva mu maka g’omukulembeze w’Eggwanga aka Anti Corruption Unit – State House Entebe nga kakolera wamu ne bambega ba Poliisi bakutte Natuhwera Polly, Director wa Zionat Multipurpose Limited, ku misango gyobukenuzi. Kigambibwa nti mu December wa 2023, yaweebwa kkontulakita yokuzimba essomero lya Mwello Seed School mu Disitulikiti y’e Tororo nga yali […]
Omuvubuka eyalabikidde mu katambi nga agezaako okutema omusuubuzi akwatiddwa
Omuvubuka eyalabikidde mu katambi ka kkamera enkettabikolwa nga agezaako okutema wamu n’okukuba ennyondo omusuubuzi eyabadde asasulwa ensimbi ku kyuuma ekikuba kasooli e Nateete yakwatiddwa ngono kigambibwa nti yagiddwa mu Disitulikiti y’e Rakai nga kitegeerekese nti ye Ashraf Kizza. Kigambibwa nti ono abadde akolera Beshir Mill investment ngabadde yakamalawo emyezi 4.