Eyeyita Yeesu eyagaanye okubalibwa n’abantu be asindikiddwa ku alimanda
Omusajja eyeyita ‘Yeesu’ Jesus Navas Vera asumba ekkanisa ya King of Star Glopper Eden Church e Wobulenzi aleeteddwa mu Kkooti. Avunaanibwa omusango gw’okugaana okumubala ng’agamba nti ye ssi wa ku nsi yava mu ggulu n’olwekyo tasaanye kubalibwa ku Nsi. Bano tebakiririza munteekateeka ya Gavumenti yonna kuba bbo, kuba bbo si ba Mmemba ba Nsi eno.
Eyakutte akatambi nga yewaana nga bwasumulula essimu enzibe yakwatiddwa
Umar savior 19, nga muyizi ku Uganda Institute of Information and Communication Technology-Nakawa, ne mukwano ggwe bwebakutte akatambi nga bagamba nti amasimu agabbibwa bagabatwalira bategeezezza Uganda Police Force nti akatambi bakakutte kufuna views ku tiktok. Bano bakutwalibwa mu Kkooti bavunaanibwe omusango gwa computer misuse. Bya Kamali James
Pulezidenti Museveni akoze enkyuukakyuuka mu maggye
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni alonze Maj. Gen. Richard Otto ngomuduumizi omuggya owa Mountain Division era nga yemuduumizi wa Operation Shuuja. Maj. Gen. Dick Olum asindikiddwa okukulira South Sudan Stabilisation Mechanism, ngaddira Maj Gen Otto mu bigere.
Poliisi esazeeko amaka g’Omubaka Nyeko
Mukyala w’Omubaka wa Makindye East Derrick Nyeko Munnakibiina kya National Unity Platform, Ruth Twagira Kirabo, agamba nti Uganda Police Force n’maggye bisazeeko amaka gaabwe nebatandika okwaza ennyumba yaabwe nti banoonya mmundu. Ono ategeezezza nti balina ekiragiro kya Kkooti.
Kitalo! Omutendesi Kajoba afudde
Kitalo! Eyaliko omusambi wa ttiimu y’Eggwanga Uganda Cranes era omutendesi wabakuumi ba ggoolo ku ttiimu y’Eggwanga Fred Kajoba Kisitu afudde. Ono afiiridde mu Ggwanga lya Tanzania.
Omubaka Mwijukye akyuusiddwa naleetebwa e Kampala okufuna obujanjabi
Omubaka akiikiria Buhweju Munnakibiina kya Forum for Democratic Change Francis Mwijukye akyuusiddwa naweerezebwa e Kampala okufuna obujanjabi obusingako okuva mu Ddwaliro lya Devine Mercy mu Kibuga Mbarara gyabadde afunira obujanjabi oluvannyuma lwokulumbibwa abantu ababadde babagalidde emiggo nebaleka ngalumiziddwa. Ono bamulumbidde ku Rwanyamabare Catholic Church mu Disitulikiti y’e Buhweju gyeyabadde agenze okuwuliriza ensonga zokubba ettaka ly’e […]
Bakifeesi bonoonye ebintu byabasuubuzi mu Katale ka Kabaka e Bwaise
Abantu abagambibwa okubeera ba kifeesi balumbye akatale ka Kabaka ak’e Bwaise mu kiro ekikeesezza olwaleero nebakoonakona emidaala saako nokwonoona emmaali y’abasuubuzi. Okusinziira ku basuubuzi abasula mu Katale Kano bategeezezza nti abazigu babalumbye ku ssaawa 7 ogw’ekiro nga babagalidde ebijambiya n’enyondo nebatandika okukoona ssaako nokumenya emidaala gyabasuubuzi. Okusinziira ku Vicent Ssenono Omuwandiisi ku kakiiko akakulembera abasuubuzi […]
Eyakedde okukubiriza abantu basigale awaka bababale bafumisi
James Kalyango ngono yomu ku balina okukola omulimu gwokubala abantu mu Njeru municipality, mu Disitulikiti y’e Buikwe yakubiddwa abatamanyangamba abatanategeerekeka ku lunaku lwokutaano ku ssaawa kumi nabbiri nekitundu ezookumakya bweyabadde akutte mukalakaasa ngasaba abantu obutava waka omu namufumita ekintu mu kutu nebamuleka ngataawa. Bino byagudde ku kyalo Namuwaya ngabamukubye kiroowozebwa basuubidde nti yabadde alina ebintu […]
Mwebale kugaana kunywa chaayi kindaze muli bakozi – Pulezidenti Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yavuddeyo ku mukutu gwe ogwa X natendereza ababala abantu abagenze ku State Lodge e Nakasero ye ne Mukyala we Janet Kataaha Museveni bwebabawadde ka chaayi wabula abakulu bano nebakagaana. Pulezidenti yategeezezza nti bano bayolesezza obukugu ku mulimu gwabwe kuba abantu bemitima emibi bayinza okubawa omwenge negubalemesa okukola omulimu ogwabaweereddwa. Bano kwabaddeko […]