Ebibiina byobufuzi 7 bisabye EC okubiwandiisa

UAE nayo etadde envumbo ku ntambula, ebyobugagga wamu ne akawunti za Sipiika

Bbanka enkulu eya United Arab Emirates evuddeyo neragira ebyobugagga ne akawunti za Sipiika Anita Annet Among, abaali ba Minisita Agnes Nandutu ne Mary Goretti Kitutu bwebiba nga gyebiri biteekebweko envubo. UAE naye yegasse ku UK eyatadde envubo zezimu ku bakulu bano nga bagamba nti teri bbanka yonna erina kwenyigira nsonga yonna yekuusa ku byansimbi n’abantu […]

Musuubula ebintu ebweru naye mulowooze kukutundayo ebintu – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Mpulidde omusajja oli agambye nti abamu mumpagira ate abalala temumpagira. Kyonna kyemuli! Kino njagala mukimanye nti ekyakolebwa ku mata kisobola okukolebwa ku bintu byaffe okuli amaliba n’engoye. Eyo y’ensonga enkulu. Osobola okutandika nga osuubula ebintu ebweru naye kyolina okumanya nti bwoba oyagala Eggwanga lyo olina okufuba okulaba nti otandika okukola ebintu […]

Mu Uganda tetulina misolo mingi – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Ensonga yammwe esoose nti tulina emisolo mingi mu Uganda. Ekyo si kituufu. Y’ensonga lwaki ndi wano okwogera nammwe (Abasuubuzi). Enkola ya Gavumenti ku misolo ngederere. Tetulina kujja misolo ku bintu bizimba Uganda.”

Temugenda kuntiisatiisa, muwulirize – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Muwulirize bulungi byengenda okubagamba. Temugenda kuntiisatiisa. Muwulirize… ntudde wano essaawa 2 nga mpuliriza byonna byemwogera oba bituufu oba sibituufu.” Aabadde ayanukula abasuubuzi ku kisaawe e Kololo ababadde bemulugunya ku nkola ya Electronic Fiscal Receipting and Invoicing Solution (EFRIS).

Abasuubuzi bagaddewo amaduuka gaabwe

Abasuubuzi mu Kampala bakedde kuggalawo maduuka gaabwe nga beteekerateekera okusisinkana Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku kisaawe kya Kololo Independence grounds olunaku olwaleero. Okusinziira ku bakulembeze babasuubuzi kigambibwa nti bagaddewo amaduuka gaabwe kibasobozese okubaayo mu bungi mu nsisinkano yaabwe ne Pulezidenti. Pulezidenti Museveni asuubirwa okwogera ku nkola ya Electronic Fiscal Receipting and Invoicing Solution (EFRIS) n’ensonga […]

Ssente muziggyawa ezipangisiza abaana enyonyi – Minisita Muyingo

Minisita avunaanyizibwa ku by’enjigiriza mu matendekero agawaggulu Dr. John Chrysostom Muyingo avuddeyo ku ky’abayizi abagendedde mu nnyonnyi ekika kya namunkanga ku kabaga k’essomero; “Ebintu ebyo byabadde Uganda? Tulaga wa? Sirowoozanga ku kyakupangisa nnyonyi. Ssente nga zibuze nnyo ensangi zino. Tezisaanidde kusaasanyizibwa zityo newankubadde bazadde baabwe bayinza okuba nga balina ssente. Kiki kyogezaako okusiga mu baana? […]

Kkooti eremedde basitoola y’Omusinga

Kkooti Enkulu ewozesa bakkalintalo eya International Crimes Division- ICD mu Kamapala egaanyi okuddiza Omusinga wa Rwenzururu Irema-Ngoma I Charles Wesley Mumbere, emmundu ye ekika kya basitoola wamu namasasi 30. Bya Christina Nabatanzi

Waliwo bangi abatatambulidde mu motoka – HM Elite High School – Entebe

Omukulu w’essomero lya ELITE HIGH School -Entebbe Lawrence Onyango agamba nti tewali kyakoleddwa kiwaawaza matu kuba amasomero mangi mu Ggwanga agakola obubaga nga buno era bingi ebikolebwa nti ne Minisitule y’Ebyenjigiriza bweba yakuvaayo kuvunaana, bangi bejja okukwata. Ono ayongerako nti tewali Minisitule kyeyetaaga kunoonyerezaako kuba kano kabadde kabaga k’Abayizi akateereddwamu ssente Abazadde b’abayizi abagenda okutuula […]

Omusomesa atanziddwa obukadde 4 lwakuwayiriza HM

Mubiru Ayub nga yali musomesa wa Luzungu ku ssomero lya Educare Junior School e Wakaliga asingisiddwa omusango gwokukozesa obubi omuntimbago ngaweereza obubaka obuvvoola omukulu w’essomero eryo Mahadi Kayondo nti yali ayesa empiki n’abasomesa be abakyala. Ono asingisidwa omusango gw’osasanya amawulire agobukyayi era omulamuzi wa kooti eya Mwanga II Adams Byarugaba namulagira okusasula engagisi ya bukadde […]