Ababaka ba NUP ekyeggulo bakiridde wa LOP

ABABAKA BANNAKIBIINA KYA NUP BAGUDDWAKO EMISANGO GYABUTTEMU

Munnamateeka Ssaalongo Erias Lukwago avudde nategeeza nga Uganda Police Force e Masaka bw’egudde emisango ebiri ku babaka Bannakibiina kya National Unity Platform – NUP okuli Mohammed Ssegiriinya aka Mr. Updates wamu ne Allan Ssewanyana okuli ogwobuttemu wamu nogwokugezaako okutta abantu. Bateereddwa ku kakalu ka Poliisi wabula nga balina okweyanjula eri Poliisi e Masaka ku ssaawa […]

TEMUSONGA MU BANTU KU TTEMU LY’E MASAKA KATI

AIGP Asan Kasingye; “Buli bwewabaawo obumenyi bw’amateeka obutegeke mubaamu abantu 3 abakulu; abategesi, abateekamu ensimbi wamu n’abatemu bennyini. Mu kaseera kano si kirungi kusonga nnwe mu bantu nti bebavunaanyizibwa ku ttemu lino. Tuwe Uganda Police Force akadde ekole okunoonyereza kwayo bulungi.”

SSEGIRIINYA NE SSEWANYANA BEBATEGEKA ENKIIKO ZOKUTEMA ABANTU – CP ENANGA

Omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga avuddeyo nategeeza mu Lukiiko lwa Bannamawulire olunaku olwaleero nga ababaka ba National Unity Platform – NUP okuli Muhammad Ssegiriinya aka Mr. Updates wamu ne Allan Ssewanyana bwebalumirizibwa abamu ku bakwate nti bategeka ettemu eribadde e Masaka nga enkiiko bazituuza nga mu Ndeeba mu Kampala. Enanga agamba nti […]

ABABAKO BAGOBEDDWA KU POLIISI E MASAKA

  Ababaka ba Palamenti Bannakibiina kya National Unity Platform okuli nakulira oludda oluwabula Gavumenti Hon. Mathias Mpuuga Nsamba, MP Zaake Francis Butebi, Ssewungu Gonzaga, ababadde bawerekedde ku Babaka banaabwe abayitiddwa Uganda Police Force e Masaka bagobeddwa okuva ku kitebe kya Poliisi eno. Omubaka Mpuuga atgezeezza nti Bannamateeka okuli Ssaalongo Erias Lukwago wamu ne Shamim Malende […]

NNYINIMU MWALI ALAMULA

Katikkiro Charles Peter Mayiga olunaku olwaleero ategeezezza Obuganda nga Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bweyakomyewo okuva e Germany gyeyali agenze okujjanjabibwa wamu n’okusisinkana Bannamikago ba Kabaka Foundation. Asaasidde abasoddokisi olw’okuviibwako Ssaabasumba Metropolitan Yona Lwanga wamu n’abo abaafiiriddwa abantu baabwe mu kizimbe ekyagudde mu Kisenyi wamu n’okusaasira abaafiiriddwa ebintu ebikalu wamu ne nnannyini kizimbe olw’okufiirizibwa […]

Ebyokuluya mubiggyewo mu Palamenti kuba abantu batya okubirya – Hon. Nambooze

Omubaka wa Mukono Municipality Munnakibiina kya National Unity Platform Mp Nambooze Bakireke Betty; “Ekyokutya okuweebwa obutwa bwekyeyongedde, Abakozi ba Gavumenti bangi kati batya okulya mu nkiiko n’obubaga bwebabaako, nze ne Bammemba bwetutuula ku Kakiiko ka Palamenti aka Government Assurance Committee (GAC) twakiriziganyizza nti Palamenti ya Yuganda erekeraawo okuteekawo ebyokulya kuba bangi babirekawo nga tebabalidde, ssente […]

Ababaka ba NUP baguze emotoka okuyamba abantu baabwe

Ababaka Bannakibiina kya National Unity Platform – NUP okuli; Katabaazi Francis Katongole owa Kalungu East yagulidde abantu be emotoka esomba amazzi ne Ssimbwa Fred Kaggwa yagulidde ab’e Nakifuma emotoka agafemulago.

AMAGGYE GAWAMBYE PULEZIDENTI WA GUINEA

  Agave mu kibuga Conakry e Guinea galaga nti amaggye g’eggwanga nga gaduumirwa Mamady Doumbouya, gasazeeko amaka g’omukulembeze w’eggwanga Alpha Conde 83, negamuwamba. Amaggye gayiiriddwa ku lutindo olugatta ebitundu ebirala ku Kaloum n’olubiri lwa Pulezidenti lukuumibwa butiribiri. Konde abadde ayagala kwesimbawo kisanja kyakusatu.

LWAKI MUKWATA ABANTU NGA ABABAWAMBA? – ANDREW MWENDA

Andrew M. Mwenda; “Lwaki ebitongole bya Yuganda ebyebyokwerinda bikozesa enkola ezakozesebwa abasibiramubbwa ba Idi Amin okukwata abantu? Babadde tebasobola kuyita Lawrance Muganga, Vice Chancellor wa Victoria University Kampala Uganda okugenda ku Uganda Police Force bamubuuze byebaagala n’oluvannyuma bamusigaze? Lwaki kyebabeerera kizibu okweyisa nga abayivu? Kino kimalako ebyewungula, kuba wiiki ntono nnyo emabega Pulezidenti Yoweri Kaguta […]