Muganga ffe twamukutte – UPDF

Nassolo aggyeyo gweyawawabira Mukasa

Eugenia Nassolo aggyeeyo omusango mwabadde awakanyiza obuwanguzi bwa Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Aloysius Mukasa ku kifo ky’omubaka wa Lubaga South. Nassolo agamba kino akikoze mu mutima mulungi era ogwobwa sseruganda. Kati tewali kabuuza Mukasa ye mubaka omulonde owa Lubaga South.

ABAKULEMBEZE B’E KIBUGA GULU BEGABANYA EZA NABBANJA

Ebiswaza bingi bikyavaayo ku ssente za Ssaabaminisita Rt Hon Robinnah Nabanja, bino bizuuliddwa Akakiiko ka Palamenti aka Gavumenti z’ebitundu aka Local Government Public Accounts Committee. Kitegeerekese nti omu kubafuna ssente zino emitwalo 10 mu Kibuga Gulu yali Gulu City Council Clerk. Okusinziiira ku alipoota eyakoleddwa eyali ssentebe wa Disitulikiti y’e Gulu Martin Ojara Mapenduzi, eraga […]

PULEZIDENTI MUSEVENI YALINA OKUGGULAWO AMASOMERO YEKKA

Omwogezi wa Ministry of Education and Sports Uganda Dr. Dennis Mugimba avuddeyo nategeeza nti enaku zomwezi ezokuggulawo amasomero ezibadde zitambuzibwa ku social media tezivangako waabwe. Ategeezezza nti Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yekka yalina okuvaayo okulangirira enaku zokuggulawo amasomero. Ayongedde nategeeza nti Minisitule yakiriza Abayizi abalina okutuula ebigezo byabwe ebyakamalirizo bokka abali mu Internation Schools okuddayo […]

ABEBIJJAMBIYA BALUMBYE KYOTERA

Mu kiro ekikeesezza olwaleero abatamanyangamba abebijjambiya balumbye omukyala Maria Gorret Nakyanzi 61, ku kyalo Buyingi Kyango ekisangibwa mu Kasaali town council, mu Disitulikiti y’e Kyotera nebamutema ku mutwe n’emikono nebamuleka nga ataawa. Ono ali mu ddwaliro ly’e Kaliisizo. Nga tebanamulumba kigambibwa nti basuula ebibaluwa bikirokitwalomunaku ebilabula abatuuze mu kitundu kino wiiki ewedde.

Obwakabaka buli mu kuteekateeka bbago lya kulungamya bannabitone

Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Obwakabaka buli mu kuteekateeka bbago lya kulungamya bannabitone: abayimbi, abazannyi ba katemba ne firimu; abakubi b’ebivuga; abawandiisi b’emizannyo/ firimu; abazinyi ne kalonda agendera ku bitone n’okwewummuza. Leero nsisinkanye abamu ku bawi b’amagezi ku nsonga eno. Banjuddwa Owek Ssekabembe Kiberu , Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Okwewummuza.”

Omwana namuzaala mu mulamu wange – Maama wa Nsubuga Paul

Maama w’Omubaka Busiro North Munnakibiina kya National Unity Platform Nsubuga Paul, Agnes Nabawanuka 60, azze mu Kkooti Enkulu olwaleero okuwa obujjulizzi ku mannya g’omwana we. Muky. ategeezezza Kkooti nga bwazaala Nsubuga Paul nti wabula yamuzaala nga ye Mukalazi Peter wabula bwekyazuulibwa nti yamuzaala mu mulamu we kwe kufuuka Nsubuga Paul nga bamuwadde kitaawe omutuufu.

Abebijjambiya 10 basimbiddwa mu Kkooti e Masaka

Abagambibwa okubeera ab’ebijjanbiya ababadde batigomya abantu e Buddu 10 abakwatiddwa Uganda Police Force basibiddwa mu Kkooti y’Omulamuzi w’e Masaka nebasomerwa emisango n’abasindika ku alimanda mu Ssaza Government Prison okutuusa nga 15-September-2021. Omulamuzi Charles Yeteise bano tabaganyizza kwewozaako kuba emisango egibavunaanibwa gyanaggomola giwulirwa Kkooti Enkulu yokka. Bano bavunaaniddwa emisango 7 egikontana n’akawayiro 188 ne 189 obwa […]

Omubaka Balimwezo awaddeyo ambulance 3

Omubaka wa Nakawa East Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Balimwezo Ronald Nsubuga nga ayita mu Balimwezo Community Foundation mukugezaako okutumbula ebyobulamu kitundu kyakiikirira ataddewo emotoka agafemulago 3 ziyambeko mukutambuza abalwadde. https://youtu.be/xRXmsMeYxIQ

Muky. Etuusa bamusalidde omusango

Omwogezi w’ekitongole kya Uganda Police Force ekikola kukunoonyereza ku misango ekya CID Charles Twiine avuddeyo nategeeza nga Kkooti evunaana abali b’enguzi n’abakenzi e Kololo olunaku olwaleero bwesalidde Muky. Etuusa Magaret Lubega Deputy Academic Registrar wa Makerere University emisango 4 egyokukozesa obubi offiisi ye.