POLIISI EKUTTE 5 KU MMUNDU EZABBIBWA E SSEMUTO

FRED LUMMBUYE AKYAKUUMIRWA TURKEY – HON. NKUNYINGI:

Omubaka wa Kyaddondo East Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Nkunyingi Muwada avuddeyo nategeeza nga bwasisinkanye Omubaka wa Turkey mu Yuganda HE. KEREM ALP namutegeeza nga Fred lumbuye kajjubi bwakyali mu Ggwanga lya Turkey nga tali ku Poliisi oba mu kkomera wabula nga akuumirwa ku Immigration Centre nti era mulamu nti era alina eddembe okwogera […]

POLIISI EZINZEEKO EDDWALIRO E KYAZANGA

Uganda Police Force mu bitundu by’e Kyazanga ezinzeeko eddwaliro lya Kyazanga Health Centre erisangibwa mu Disitulikiti y’e Lwengo oluvannyuma lwagambibwa okuba omu ku bebijambiya ategeerekeseeko nti ye Joseph Ssenyonjo yakubiddwa abatuuze nga bamusuubiriza okwenyigira mu ttemu erikolebwa e Buddu n’oluvannyuma nebamusuula mu ddwaliro lino. Okusinziira ku Political Commissar wa Poliisi AIGP Asan Kasingye agamba nti […]

EMBIZZI EZITTA ABANTU E MASAKA ZIWEDDE – PULEZIDENTI MUSEVENI

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nategeeza nti kaweddemu akaabo ababadde batta abantu e Buddu. “Waliwo abantu abebuzaabuza nga balowooza nti bagenda kutaataganya emirembe egiri mu Yuganda, wano berimba. Tewali maanyi gasobola kutuwangula. Bano bawedde ku luno. Bino abyogeredde Kololo bwabadde afulumya abasirikale b’ekitongole kyamakomera nategeeza nti ng’obuzzi bw’emisango bwonna, wabaawo obujulizi obulekebwa nga bwekiri ne […]

Owa FDC agiddwa mu Palamenti

Kkooti Enkulu e Soroti esudde Munnakibiina kya Forum for Democratic Change (FDC) Moses Okia Attan ku kifo ky’Omubaka wa Palamenti ow’ekibuga Soroti. Kkooti era eragidde Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Electoral Commission Uganda okuddamu okutegeka okulonda. Kkooti egamba nti waliwo okukyuusa abalonzi mu bukyamu okuva ku nkalala mu kitundu ekimu okubazza mu kirala. Obuwanguzi bwa Okia […]

Ebyokwerinda binywezebwe e Buddu

Akulira oludda oluwabula Gavumenti era omumyuuka w’omukulebeze wa National Unity Platform owamassekatti Hon. Mathias Mpuuga Nsamba; “Mu kiro ekikeesezza olwaleero abebijjambiya basse omuntu omu e Degeya mu Disitulikiti y’e Lwengo. Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okuwa abo abafiiriddwako abaabwe amataaba ga bukadde 10, wadde kikolwa kyakisa naye tekizza bulamu bwafudde, ebyokwerinda birina okutereezebwa mu Greater Masaka.”

ABABAKA BA BUGANDA BAGENDA KUSISINKANA

Akabondo k’ababaka abava mu Buganda kagenda kutuula essaawa yonna okulaba eky’okukola ku ttemu ly’ebijambiya eriri mu Buddu. Kino wekijjidde nga abantu abali mu 30 bebakattibwa mu bulumbaganyi bwe bijambiya mu ttundutundu lye Masaka. Kino kirangiriddwa Ssaabawanddiisi w’ akabondo kano era omubaka wa Ntenjeru South Patrick Nsanja.

ABABAKA BALAMBUDDE AMAATO AGAGULIBWA MOH

Akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku kulondoola ebyobulamu mu Ggwanga aka Parliamentary Health Committee nga kakulirwa Dr. Francis Ayume n’ababaka abakatuulako 20 balambuziddwa amaato agamanyiddwa nga agafemulago agagulibwa Ministry of Health- Uganda okutumbula ebyobulamu ku bizinga nga kati gakuumirwa ku nkambi y’eggye ery’okumazzi erya UPDF Marine Forces Entebe nga bwebalindirira okugaweereza gyegalina okubeera. Amaato 7 gegakagulibwa.

Bammeeya ba Divizono basisinkanye ED wa KCCA

Olunaku olwaleero ba Ssentebe ba zi Divizoni ezikola Kampala basisinkanye Loodi Meeya wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago wamu ne Nnakulu wa Kampala Capital City Authority – KCCA muky. Dorothy Kisaka nebakubaganya ebirowoozo ku ngeri gyebayinza okuyambamu ba Kkansala 461 okuva mu miruka 99 okukulembera obulungi ekibuga. Nnankulu asuubizza okukolera awamu nabo okulaba nti bakulaakulanya ekibuga […]

AB’EBIJJAMBIYA BATUJJU – GEN. DAVID MUHOOZI

Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga zomunda mu Ggwanga Gen. David Muhoozi avuddeyo nategeeza Bannamawulire nga abebijjambiya abatema abantu e Buddu bwebali abatujju nga ekigendererwa kyabwe tekinamanyika. Bino abyogeredde mu lukiiko lwabebyokwerinda olutudde mu Disitulikiti ye Lwengo.