Abantu bulijjo mbagamba ku curfew – RCC Bamwine
Omubaka wa Pulezidenti owa Disitulikiti y’e Masaka Fred Bamwine; “Mbadde nteekesa ekiragiro kya curfew e Masaka. Singa abantu babadde bagondera ekiragiro kino ssaawa emu ey’ekiro nebasanga mu maka gaabwe, osanga ettemu lino teryandibaddewo.”
BOBI WINE AKYALIDDEKO MU MAKA GABAWAGIZI BE ABALI MU KKOMERA
Pulezidenti wa National Unity Platform – NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Enkya yaleero tukedde kukyalako mu maka gabanaffe abakyali mu kkomera e Kitalya. Kinkutteko nnyo bwenkyaddeko mu maka ga Machete Yasin e Bwaise ne wa Johnbosco Sserunkuuma e Nansana. Banaffe bano abali e Kitalya tebalina musango gwebazza wabula bamaze emyezi egiwera mu kaduukulu. […]
Ibrahim Ssegawa (Vincent) ali mu nkomyo
Omwogezi w’ekitongole kya Uganda Police Force ekikola kukunoonyereza ku misango ekya CID Charles Twiine avuddeyo nategeeza nga bwewaliwo abaana 50 abakuumirwa ku kitebe kya CID nga bano bali mukugibwako ebibakwatako n’oluvannyuma baddizibwe ab’enganda zaabwe. Bano kuliko nabantu abakulu abakwatibwa nabo nga mwemuli neyali omuyimbi wa Kadongokamu Vincent Ssegawa eyasiramuka nafuuka Ibrahim Ssegawa bagiddwa ku Markaz […]
Tujja kukozesa buli omukisa gwonna gwetufuna okununula eggwanga – Bobi Wine
Pulezidenti wa National Unity Platform – NUP Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Singa okulonda kwali kw’amazima nabwenkanya, twandibadde n’omuwenda gw’ababaka ogusinga ku guno naye naye era wetuli; tukozese kyetulina. Tuli mu Palamenti leero kuba twakyogera lwatu okuva kuntandikwa nti tujja kukozesa buli mukisa gwonna gwetufuna okununula eggwanga lyaffe.”
Pulezidenti Museveni akuzizza Lt. Gen. Paul Loketch
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo nakungubagira abadde omumyuuka w’omuduumizi wa Uganda Police Force DIGP Lt. Gen. Paul Lokech. Avuddeyo nategeeza ngakozesa obuyinza obumuweebwa Ssemateeka wa Yuganda owa 1995 nga Pulezidenti mu kawayiro 98 ne 99 akuzizza Omugenzi okuva ku ddaala lya Major General namuzza ku lya Lieutenant General okumusiima olw’emirimu gyakoledde eggye lya UPDF ne […]
Akakiiko ka Anti Corruption Unit kakutte Omumbejja
Akakiiko akalwanyisa enguzi n’obukenuzi okuva mu maka g’omukulembeze w’eggwanga aka Anti Corruption Unit – State House Uganda kavuddeyo nekategeeza nga bwekakutte Omumbejja Naalinnya Bwanga nga kigambibwa nti abadde yeyita kyatali nti mukozi w’Akakiiko kano. Ono yakwatiddwa olunaku lweggulo nasula mu kaduukulu ka Uganda Police Force e Kikyuusa mu Luweero gyagiddwa enkya yaleero naleetebwa ku Central […]
Maj. Gen. Lokech aziikibwa lwaleero
Enkumi n’enkumi z’abantu beyiye ku Paipir Primary School okukuba eriiso evvanyuma ku abadde omumyuuka w’omuduumizi wa Uganda Police Force DIGP, Maj. Gen. Paul Lokech. Abasirikale b’eggye lya UPDF aba Special forces command webali nga betegese okusiibula Maj. Gen. Paul Lokech. Ono bagenda kumukubira emizinga 21.
UPDF EKUTTE LUMIRAMWOYO E PADER
Omwogezi w’eggye lya UPDF Brig. Gen. Flavia Byekwaso avuddeyo nategeeza nga bwebakutte omuvubuka ategeerekese nga ye Katumba Abdul aka Ben agambibwa okuba lumiramyoyo abadde nekigendererwa ekyokutulisa bbomu e Pader mu kuziika abadde omumyuuka w’omuduumizi wa Uganda Police Force DIGP Maj. Gen. Paul Lokech. Katumba yagiddwa mu Mikicha Guest House, nasangibwa n’ebintu ebikozesebwa mu kukola bbomu […]
TULAKITA ZA DISITULIKITI YE HOIMA ZIKWATIDDWA E KIRYANDONGO
Akakiiko akalwanyisa obuli bw’enguzi n’obukenuzi okuva mu Maka g’omukulembeze w’eggwanga aka Anti Corruption Unit – State House Uganda nga kali wamu ne Uganda Police Force bakutte tulakita ezikola enguudo eza Disitulikiti y’e Hoima okuva ku kyalo Kaduku mu Disitulikiti y’e Kiryandongo nga zino zabadde zipangisiddwa omulimu okukola ku ffaamu ye. Tulakita zikuumirwa ku Poliisi y’e […]