Poliisi y’e Kiira efunye Fire Brigade empya

ABASOMESA MULINA OKUGEMEBDWA – JANET MUSEVENI

Minisita w’ebyenjigiriza n’ebyemizannyo era omukyala w’omukulembeze w’Eggwanga Janet Kataaha Museveni avuddeyo nakikkaatirizza nti teri musomesa yenna agenda kukirizibwa kuyingira mu kibiina kusomesa bayizi nga tagemeddwa kirwadde kya Ssenyiga omukambwe lumiimamawuggwe owa COVID-19 amasomero bweganaaba gagguddwawo. Minisita Kataaha agamba nti kino kikoleddwa kutaasa bulamu bwabwe kwossa n’abaana b’Eggwanga nga omusomesa ataakikole tajja kukirizibwa kweriraanya yadde essomero.

Amateeka g’ettaka agaliwo gamala – Dr. Nakaayi

Eyaliko omukiise ku Kakiiko k’ebyettaka k’Omulamuzi Catherine Bamugemereire era omukugu mu mateeka g’ebyetakka Dr. Rose Nakaayi asambazze ebibadde bigambibwa nti Akakiiko kaabwe kekasemba okuggyawo ettaka lya mayiro nga bwebibungesebwa abantu abatali bamu. Dr. Rose Nakaayi agamba nti amateeka g’ettaka agaliwo gamala era tewali kyetaaga kukyuusibwa wabula obuzibu buva ku Gavumenti eremereddwa okugateekesa mu nkola.