LWAKI OLEMESA ABAZIRAKISA OKUYAMBA ABANTU ABAYINIKE – BARBIE KYAGULANYI
Muky. Barbie Kyagulanyi avuddeyo; “Enkya yaleero, natindizze olugendo okugenda ku Kikamulo Health Centre III mu Disitulikiti y’e Nakaseke okutwalayo ebintu byeddwaliro ku lwa Caring Hearts Uganda. Hon. Allan Mayanja owa Nakaseke Central yabadde ategeezezza abakulu mu Disitulikiti eno okuli ne DPC wa Uganda Police Force Mr. Kwesiga John ne RDC Mr. Nayebale Kyamuzigita nga okusinziira […]
Bannamawulire balumiziddwa e Nakaseke
Sylvia Nakazibwe alumiziddwa abasirikale ba Uganda Police Force bwebabadde bagumbulula abantu e Nakaseke okubadde ababaka ba Palamenti wamu ne Barbie Kyagulanyi. Nakazibwe addusiddwa mu Ddwaliro ly’e Kiwoko okufuna obujanjabi. Munnamawulire Taaka Conslata naye alumiziddwa omusirikale wa Poliisi bwakubye akakebe ka teargas nekamwabikirako bwabadde akwata ebibadde bigenda mu maaso.
TETUNAKUBA KU BANTU MASASI E NAKASEKE – POLIISI
Omwogezi wa Uganda Police Force ow’ettunduttundu lya Savannah ASP Ssemwogerere Isah avuddeyo ku bibadde e Nakaseke; “Enkya yaleero nga 26 August 2021, Ababaka ba Palamenti okubadde owa Nakaseke Central, Hon. Allan Mayanja, Mukyala Barbie Kyagulanyi n’abalala ababadde baagala okutonera eddwaliro lya Kikamulo Health Centre III e Nakaseke. Nga abebyokwerinda tubawabudde nti bakwatagane ne District Covid […]
Poliisi ekubye omukka ogubalagala mu babadde bagaba ebintu e Nakaseke
Agava e Nakaseke galaga nga Uganda Police Force nga eduumirwa OC Station Kikamulo, DPC wa Disitulikiti y’e Luweero wamu ne RDC we Nakaseke Nayebare Kyamuzigita bwebakubye omukka ogubalagala mu bamaama abakyali abavubuka, ba maama abasulirira okuzaala n’abaana abawere ababadde bakungaanidde ku Kikamulo Health Centre III, e Nakaseke okufuna ebikozesebwa omuli emifaliso, mama kits n’ebirala nga […]
IGP Ochola yafunamu puleesa
Omuduumizi wa Uganda Police Force IGP Martin Okoth Ochola tasobodde kubeera mukusabira omwoyo gwabadde omumyuuka we DIGP Maj. Gen. Paul Lokech olwaleero olwobulwadde obumubala embiriizi. Omwogezi wa Poliisi CP Fred Enanga ategeezezza nti puleesa ya IGP yalinnya bweyafuna amawulire g’okufa kwa Maj. Gen. Lokech.
Bannansi ba Afghanistan 51 batuuse mu Yuganda
Ekibinja kya Bannansi ba Afghanistan 51 ekisoose kituuse mu Ggwanga Yuganda ekya yaleero. Bano batwaliddwa ku Imperial Resort Beach Hotel Entebbe.
NALEMEREDDWA OKUGENDA E ZAMBIA
Omukulembeze wa National Unity Platform – NUP Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo; “Ekiro kyajjo nayogedde n’olukiiko oluteekateeka omukolo ogwanjula Pulezidenti wa Zambia omuggya Hakainde Hichilema nebentodera nga bwesisobole kubeerawo ku mukolo guno ogw’enjawulo kuba nagezezzaako kyonna kyensobola okugenda e Zambia naye nenemesebwa. Njakunyonyola byonna ebyabaddewo ku kino. Baganda bange ab’e Zambia mwebale […]
Poliisi y’e Kiira efunye Fire Brigade empya
Ekitongole kya Uganda Police Force ekizinyamwoto olunaku olwaleero kiwadde Poliisi yettunduttundu ly’e Kiira emotoka ezizikiriza omuliro emu nga erina byonna.Eno erina Horses 28 nga etikka amazzi liita 5000 nga eno ejja kuyamba ne ku Divizoni y’e Njeru
ABASOMESA MULINA OKUGEMEBDWA – JANET MUSEVENI
Minisita w’ebyenjigiriza n’ebyemizannyo era omukyala w’omukulembeze w’Eggwanga Janet Kataaha Museveni avuddeyo nakikkaatirizza nti teri musomesa yenna agenda kukirizibwa kuyingira mu kibiina kusomesa bayizi nga tagemeddwa kirwadde kya Ssenyiga omukambwe lumiimamawuggwe owa COVID-19 amasomero bweganaaba gagguddwawo. Minisita Kataaha agamba nti kino kikoleddwa kutaasa bulamu bwabwe kwossa n’abaana b’Eggwanga nga omusomesa ataakikole tajja kukirizibwa kweriraanya yadde essomero.