Bank of Uganda eragidde aba Mobile Money okusaba ID omuntu yenna aweereza oba okuggyayo ssente ezisoba mu kakadde
Bank of Uganda eyisinza ekiragiro ekitandikiddewo okukola eri ba agenti ba Mobile Money bonna okwetoloola Eggwanga okutandika okusaba ID omuntu yenna ayagala okuggyayo oba okuteekayo ensimbi ezisukka mu kakadde akamu. BOU egamba nti kizuuliddwa nti obumenyi bw’amateeka bweyongedde naddala ngabantu bakozesa mobile money omuli okuferera ku mutimbagano. Eyongerako nti waliwo ba agenti ba Mobile Money […]
LOP Ssenyonyi atikiddwa ku LDC olwaleero
Akulira Oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Joel Ssenyonyi olunaku olwaleero atikiddwa oluvannyuma lwokumalirirza emisomo. Ono amalirizza Postgraduate Diploma in Legal Practice okuva ku Law Development Centre. Yoga yoga Ssebo!
Omukuumi wa Ssaabaminisita Nabbanja abombye
Okunoonyereza kutandise ku ngeri omukuumi wa Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister, Emmanuel Atwiine eyamuwerekeddeko mu Ggwanga lya Amerika mu Kibuga New York okukiikirira Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu lukuuŋŋaana lwa United Nations High Level gyeyabuzeemu okuva mu woteeri gyabadde asula. Kigambibwa nti Atwiine yandiba nga yabulawo mu kiro ky’olunaku olwokubiri okuva mu woteeri e […]
Gavumenti eyagala ensimbi ezenyongereza ezisoba mu kesedde 1
Gavumenti olunaku olwaleero etaddeyo okusaba kwayo eri Palamenti ngesaba ssente ezenyongereza akesedde 1 mu obuwumbi 101 nga kuzino obuwumbi 578.4 zakuweebwa Mathias Magoola azimbe ekkolero ly’eddagala erigema wamu neryo erijanjaba mu Disitulikiti y’e Wakiso. Ensimbi endala obuwumbi 3 zakweyambisibwa okutegeka ebijaguzo by’olunaku lw’abajulizi e Namugongo omwaka guno era nga enteekateeka zino zakulondoolwa Ministry of Gender, […]
Pulezidenti Museveni aguddewo ebizimbe bya Kkooti ebiggya
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olunaku olwaleero aguddewo mu butongole ebizimbe 2 ebyamaka ga Kkooti Ensukkulumu wamu ne Kkooti Ejulirwamu mu Uganda. Bino byamazeewo obuwumbi 100 mu obukadde 500. Bya Christine Nabatanzi
Maama asudde omwana we ow’olunaku olumu mu kabuyonjo
Uganda Police Force mu Disitulikiti y’e Kayunga esanze akaseera akazibu okutawuluza omuwala Milly Mutoni 19, ku batuuze ababadde bataamye obugo ku kyalo Bwetyaaba mu Gombolola y’e Kayunga oluvanyuma lwa Mutoni okusuula omwana we ow’olunaku 1 mu kabuyonjo. Poliisi etaasizza ebbujje lino nerinyulula mu kabuyonjo, Mutoni naye atwaliddwa ki Poliisi. Bya Latifah Nalubowa
Ennyonyi ebaddemu CDF wa Kenya Defence Forces egudde
Ennyonyi ekika kya nnamunkanga ey’eggye lya Kenya Defence Forces egudde nga yakasitula. Okusinziira ku mukutu gw’amawulire ogwa Kenya ogwa Citizen TV, kigambibwa nti mu nnyonyi muno mubaddemu omuduumizi owokuntikko ow’eggye lya Kenya CDF Gen. Francis Ogolla. Kigambibw anti egudde mu bitundu by’e Kaben-Cheptulel ku nsalo ya Elgeyo Marakwet ne West Pokot eno ngebaddemu abantu 9. […]
Gavumenti eyagala kwewola obuwumbi 450 kukola luguudo lwa Kitgum-Kidepo
Minisitule y’ebyenfuna etaddeyo okusaba kwayo eri Palamenti egikirize okwewola ensimbi Euro 110,543,947.52 bwebuwumbi nga 450.084 eza Uganda nga zino zakuzimba luguudo lwa Kitgum-Kidepo okusobola okutumbula ebyobulambuzi mu mambuka ga Uganda. Wabula Sipiika wa Palamementi Anita Among asabye Gavumenti okunnyonyola obulungi lwaki ensonga yokwewola ssente zino etutte kumpi omwaka mulamba n’ekitundu nga tekolebwako wabula nga yetoloolera […]
Enkuba ekedde okutonnya erese enguudo eziwerako mu Kampala nga zisaliddwako
Enkuba eyatandise okutonya mu kiro ekikeesezza olwaleero ku ssaawa nga kumi ezookumakya erese enguudo eziwerako mu Kampala nga sizaliddwako amataba okuli n’olwa Kinawataka – Kireka. Abagoba b’ebidduka bamaze essaawa eziwerako mu kalippagano k’ebidduka okusobola okuyingira Kampala. Mu masangazira g’e Katoogo olutindo lwabuliddemu era abatuuze bategeezezza nti waliwo owa booda booda eyaguddemu amazzi negamutwala ku makya […]