Obwa Menah bwa Bugweri bwegaanye ebyokwetondera Sipiika Among
Obwa Menah bwa Bugweri buvuddeyo nebusambajja ekiwandiiko ekyafulumiziddwa Mugwisa Mwamadi ngatgeeza nga obwa Menha bwa Bugweri webwetondedde Sipiika wa Palamenti Anitah Annet Among olw’ebigambo ebyayogerwa omumyuuka w’omwogezi wa National Unity Platform Alex Waiswa Mufumbiro mukuziika Munnamateeka Waiswa Ramathan eyafiira mu kabenje. Mufumbiro yasaba Sipiika Among okwesonyiwa Rt Hon Rebecca Alitwala Kadaga alekerawo okumwogerako ebikikinike kuba […]
Sagenda mu nkiiko ebweru kuba Akakiiko tekalina ssente – Wangadya
Ssentebe w’Akakiiko akalera eddembe ly’obuntu aka Uganda Human Rights Commission – UHRC Mariam Wangadya yavuddeyo nategeeza Akakiiko ka Palamenti nti teyasobola kugenda mu nkiiko emitala w’amayanja ezikwata ku ddembe ly’obuntu olw’ensonga z’ensimbi ezitaliiwo kumuusobozesa kutambula.
Bwemba ndi kkaada wa NRM lwaki akakiiko bakawa ssente ntono – Mariam Wangadya
Ssentebe w’akakiiko kalera eddembe ly’obuntu aka Uganda Human Rights Commission – UHRC Mariam Wangadya, avuddeyo neyewuunya abagamba nti ku mulembe gwe nga Ssentebe akakiiko keyoleso nnyo nga akawagira ekibiina kya National Resistance Movement – NRM nategeeza nti singa kibadde kityo akakiiko kandibadde kaweebwa ensimbi ezimala okukola emirimu nti naye tazirabako nga kyebasigalira kusabiriza mu bagabirizi […]
Amama Mbabazi ne mukyala we bajaguza emyaka 50 mu bufumbo
Eyaliko Ssaabaminsita wa Uganda Rt. Hon. John Patrick Amama Mbabazi ne Mukyala we Jacqueline Mbabazi olunaku olwaleero bajaguzza okuweza emyaka 50 mu bufumbo ngera emisa eyokwebaze ebadde ku All Saints Church, Nakasero. Bano bakubye buggya ebirayiro byobufumbo. Photo Credit: Nicholas Bamulanzeki
Abakozi 2 okuva ku Disitulikiti e Rakai bakwatiddwa
Deputy IGG, Anne Twino Muhairwe, olunaku lw’eggulo yalagidde Uganda Police Force okukwata Rose Yawe, Principal HR ne Aaron Kayinga, Senior HR okuva ku Disitulikiti y’e Rakai. Kigambibwa nti bano bekobaana okuteeka abakozi abempewo ku lukalala lw’abakozi ba Gavumenti besasula okukakana nga bafiirizza Eggwanga obukadde 638.
Abantu 3 bakwatiddwa ku bigambibwa nti benyigidde mukusaddaaka abaana 2 e Kiboga
Omwogezi wa Uganda Police Force mu ttundutundu lya Wamala Kawala Rachael avuddeyo nategeeza nga abasirikale okuva mu Crime Intelligence bwebakutte abantu 2 kubigambibwa nti benyigira mu ttemu ery’emirundi 2 mu Muluka gwe Kasega, mu Gombolola y’e Kapeke mu Disitulikiti y’e Kiboga nga 4-April 2024. Abakwatiddwa kuliko Sulaiman Ssentongo 32, omutuuze ku Kyalo Kirinda ne Namuleme […]
H.E Jessica Alupo atuuse e Rwanda
Omumyuuka w’omukulembeze w’Eggwanga H.E Major (rtd) Jessica Alupo R.E, mutaka mu Kibuga Kigali ekya Rwanda gyagenze okukiikirira Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku mukolo ogw’omulundi ogwa 30 ogwokujjukira ekittabantu ekyaliwo mu 1994. Alupo ayaniriziddwa Hon. Dr. Claudine Uwera, Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku butonde bw’Ensi ne H.E (rtd) Maj. Gen. Robert Rusoke, omubaka wa Uganda mu Ggwanga […]
Hon. Malende awaddeyo eri Omuzigiti gw’e Kibuli ebyokusiibulukuka
Sheik Hamidi Tamusuza akulembeddemu okusaala Jumah olwaleero ku Muzigiti e Kibuli akalaatidde Abasiraamu okweyambisa enaku zino 10 ezisembayo mu mwezi Omutukuvu ogwa Ramadhan obulungi nga batuukiriza ebyo Quran byerambika. Sheik Tamusuza alaze enyiike olwabamu ku basiibi atte abalagajjalira okusiiba kwabwe mu naku zino ezisembayo kyayogedeko nga ekyobulabe ennyo mubusilamu. Mu kusaala kuno okwetabiddwamu abantu ab’enjawulo […]
LOP awaddeyo olukalala lw’abawagizi ba NUP abakwatibwa
Akulira oludda oluwabula Gavumenti Hon. Joel Ssenyonyi awaddeyo olukalala lw’abantu bawagizi ba National Unity Platform abakwatibwa nga tebavunaanibwa nga wamu n’abo ababuzibwawo olwasabiddwa Minisita Balaam Barugahara. LOP Ssenyonyi ategeezezza nti aleese olukalala luno Gavumenti ereme kuddamu kwekwasa.