Sipiika wa Palamenti akulembeddemu Ababaka okugenda e Mengo

Poliisi ekutte eyabbye emmwaanyi e Mityana

Ttiimu ya Uganda Police Force eya K-9 e Mityana yayitiddwa oluvanyuma lw’omutuuze omu Kayima Madi omutuuze ku kyalo Kitaliza, Kamuseenene Parish mu Kiganda Sub-county okwekubira enduulu ku Poliisi y’e Kiganda nga bwewaliwo omuntu eyabbye emmwaanyi ze ku musiri. Poliisi yatutte embwa yaayo enkongalusu mu musiri webabbye emmwaanyi era bwetyo nebakulembera okubatwala olugendo nga lwa kiromita […]

Ssaabasajja akubirizza abantu be obutawubisibwa lwa byanfuna nabugagga

Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye n’aweereza abantu be obubaka bw’Amazuukira n’okubeebaza Okusiiba. Ssaabasajja ajjukizza abantu bulijjo okunywerera mu ebyo byebakiririzaamu baleme kuwubisibwa n’okwegaana bantu bannaabwe olw’ebyenfuna n’obugagga nga Petero bweyegaana Yezu ne Yuda bweyalya mu Yezu olukwe. Ssaabasajja awunzise akubiriza abantu okugula emijoozi n’okujja mu Lubiri nga 7 April okudduka olw’ekigendererwa eky’okukungaanya obuyambi […]

Hon. Malende awadde b’e Kabowa ebyokusiibulukuka

Omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti y’e Kampala Munnakibiina kya National Unity Platform Shamim Malende olunaku olwaleero agabidde Abasiraamu ebyokusibulukukirako ku Muzigigiti gwa Kabowa Diniya. Abawadde enkota z’amatooke 70 ne kiro z’omuceere 200. Ono oluvannyuma asisinkanye Abakyala neboogerezeganya ku naonga ezenjawulo. Bano bamutegeezezza ku bizibu byebasanga mu kitundu kyabwe omuli ne kasasiro asusse.

Enkola y’ekibiina enaku zino yakuyita ku mutimbagano? – Hon. Mpuuga

Hon. Mathias Mpuuga Nsamba avuddeyo nayanukula ku kiwandiiko ekitambuzibwa nti kyawandiikiddwa Pulezidenti wa National Unity Platform Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine ngamuyimiriza; “Eri Pulezidenti wa National Unity Platform (NUP), Kampala. Ku nsonga yokuyimirizibwa ku kifo ky’omumyuuka wa Pulezidenti. Ndabye ekiwandiiko ekitambuzibwa ku mikutu gya ‘social media’ nga kiraga nti ggwe wakitaddeko omukono mu […]

Hon. Mpuuga yandivuddeyo ng’omukulembeze ow’ekitiibwa – Hon. Karuhanga

Hon Gerlad Karuhanga; “Omusingi guba musingi. Ndowooza Mpuuga yakoze ensobi. Ndowooza yetaaga okukiriza nti yakoze ensobi akikirize nti yasobya era yetonde. Alina okussaamu okulekulira kwe nga kaminsona wa Palamenti, oluvannyuma asalewo okugenda okukiikirira abantu be. Yandivuddeyo ng’omukulembeze ow’ekitiibwa. Tukola ensobi ng’abantu, era okuzikiriza yemu ku ngeri eraga omukulembeze.”

Ramathan Ggoobi alina okutwetondera – Hon. Ssewungu

Omubaka akiikirira Kalungu West, Hon. Joseph Ssewungu Gonzaga aleese ekiteeso mu Palamenti ngayagala omuteesiteesi omukulu owa Minisitule y’ebyensimbi, Ramathan Ggoobi alabikeko gyebali asobole okubeetondera ku byeyayogedde bweyategeezezza nti Palamenti terina buyinza butemaatema mbalirira ya Ggwanga.

Omubaka Bwanika ayagala NUP eveeyo eyogere weyimiridde ku kyebisiyaga

Omubaka Munnakibiina kya National Unity Platform akiikirira Kimaanya Kabonera Hon. Abed Bwanika avuddeyo nawandiikira Nampala w’Ababaka b’oludda oluwabula Gavumenti Hon. John Baptist Nambeshe ngayagala aveeyo eyita olukiiko bakubaganye ebirowoozo ku nsonga y’ekibiina kya NUP wekiyimiridde ku nsonga y’ebisiyaga. Ono ezimu ku nsonga zawadde agamba nti Pulezidenti wa NUP Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine […]

Twejjusa okwongera omusolo ku diapers – Babaka ba Palamenti

Ababaka ba Palamenti bavuddeyo nebejjusa okuyisa enongosereza ku musolo ku diapers, nga baali balowooza zaali zikozesebwa okutumbula ebisiyaga mu Ggwanga kyali ki kyaamu. Bano bagamba nti omusolo guno ate gufudde diapers ezebbeeyi naddala eri Abakadde wamu n’abantu abaliko obulemu abazikozesa okukuuma ekitiibwa kyabwe mu bantu.

Anderson Burora ategeezezza nti agenda kulekulira

RCC wa Lubuga eyawummuzibwa Anderson Burora avuddeyo nasaba awummule emirimu mu butongole. Okusinziira ku Burora agamba nti okumuwummuza kuleeseewo embeera etali nnungi mu Offiisi ya Pulezidenti ne Gavumenti. Ategeezezza nti okusaba okumuwummula agezaako kwewala kwongera kwonoona kitiibwa kyabwe.