Sirina buzibu na Pulezidenti wange – Hon. Mpuuga

Sirina gyendaga nkyali mu NUP – Hon. Mathias Mpuuga

Hon. Mathias Mpuuga Nsamba; “Njagala okutegeeza obukulembeze bwa National Unity Platform, bammemba wamu n’e Bannayuganda mwenna nti National Unity Platform kibiina kyange era sirina nteekateeka ekivaamu. Njagala okubategeeza nti tugenda kukwatira wamu n’e bakulembeze banange mu NUP okulaba nti tutereeza enkola yokukwatamu ensonga munda mu kibiina.”

Sirina buzibu bwonna na Pulezidenti wange – Hon. Mpuuga

Hon. Mathias Mpuuga Nsamba; “Sirina buzibu bwonna ne Pulezidenti w’ekibiina kyange. Bwaba Pulezidenti ngalina ensonga yonna nange genda omubuuze. Sinamusisinkana, wabula mbadde muwulira ngayogera eri Bannamawulire ngagezaako okumatiza Eggwanga nga bwendi omuntu omuzibu naye Eggwanga ligaanye okukikiriza. Tetunasisinkana naye ndowooza mu naku ntono tujja kusisinkana bwanaaba akirizza. Sisobola kumuwaliriza kunsisinkana.”

Mukaseera kano tulina kulwana kukyuusa Ggwanga – Hon. Mpuuga

Hon. Mathias Mpuuga Nsamba; “Njakugabana n’obukulembeze bwa National Unity Platform byendowooza nti Ekibiina kyange nange bwetusobola okweyambisa eri enkyuukakyuuka gyetuluubirira olwakadde akatono ketulina wamu nobwetaavu bwokwegatta okusoboola okuleetawo enkyuukakyuuka mu Ggwanga. Kati obwanga tulina kubwolekeza kulaba nti wabaawo enkyuukakyuuka mu mateeka g’ebyokulonda ne Ssemateeka okuyamba banaffe abali ebweru w’Eggwanga okwenyigira mu byokulonda okusinga okukyuusa ekigendererwa […]

Ababaka muli ba Kibiina si ba gundi, olwo bwetutalibaawo? – Hon. Mpuuga

Hon. Mathias Mpuuga Nsamba; “Saagala Mubaka yenna mmemba wa National Unity Platform okubeera nti ono wa Mpuuga oba ono wa Kyagulanyi (Bobi Wine). Mukama akitutaase, singa omu kuffe afa? Ababaka baffe balina okukubirizibwa okutambulira ku misingi gyekintu. Ababaka baffe balina okuyimririra ku misingi gy’ekibiina.”

Amaanyi twandibadde tugateeka Mw. Museveni ayagala okutondawo obwakabaka – Hon. Mpuuga

Hon. Mathias Mpuuga Nsamba; “Embeera nga bweri mu Ggwanga akaseera kano tukiraba nti Gen. Museveni atulaze mu lwatu nti agezaako kukola bwakabaka bwe. Bwotunuulira enkyuukakyuuka ezakoleddwa mu UPDF ezavuddemu okutuusa mutabani mu kifo ekisinga mu maggye g’Eggwanga. Ekyanaku ekibiina ekisinga obunene ku ludda oluvuganya mu Ggwanga kyesibye ku bintu ebitalina mitwe n’amagulu.”

Poliisi ekutte agambibwa okubba emu ku motoka ezakozesebwa mu NAM

Uganda Police Force yavuddeyo nekakasa okukwatibwa kwa Ddereeva wa Ministry of Health- Uganda, Mathias Tumusiime kubigambibwa nti yabba emu ku mmotoka ezaakozesebwa okutambuza abakungu abaali bazze kuno okwetaba mu lukungaana lwa NAM olwaliwo ku ntandikwa y’omwaka guno. Omwogezi wa Poliisi SCP Fred Enanga ategeezezza ebintu bingi ebyakozesebwa ebyabbibwa bangi ku bano bakwatiddwa era nebakunyizibwa.

Mu Palamenti waliyo okulya – Lt. Gen. Elwelu

Abadde omumyuuka w’omuduumizi w’eggye lya UPDF Lt. Gen. Peter Elwelu bwabadde ayogereka eri bammemba ba Wazelendo mu lukungaana lwa bonna olwomulundi ogwe 18; “Mu Palamenti waliyo ssente ennungi. Nali sewolangako, naye olwokuba Palamenti newola ssente zesaakozesa. Nengamba nti kati mu myaka gino 5 kanfuneyo nange ekintu kuba waliyo okulya. Ssente zenakwatako mu Palamenti nali sizikwatangako.”

Nzize kukolera Bavubuka bonna mu Ggwanga – Balaam

Barugahara Balaam Ateenyi avuddeyo; “Sizze mu Lukiiko lwa Baminisita kunkunga bavubuka kwegatta ku MK Project oba PLU wabula nzize kugonjoola kusomoozebwa kwebasanga. Njakutuuka mu buli kitundu kya Ggwanga okuyamba Abavubuka n’abaana.”

Namubuuza ssente gyeyazijja okuzimba eddwaliro nangamba mu ssomero – Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Nabuuza Sipiika wa gyeyajja ssente okuzimba kino. Nanzijukiza nti namuyambako okuzimba essomero. Nangamba nti oluvannyuma lwokuzimba essomero, abayizi batandika okusasula fiizi ezo ssente zeyakozesa okuzimba Bukedea Teaching Hospital.”