Abakozi ba Equity Bank 4 bavunaaniddwa okunyaga obuwumbi 6
Abakozi ba Equity Bank Uganda 4 basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti evunaana abalyake nebavunaanibwa omusango gwokugera bbanka nebaginyaga obuwumbi 6 mu obukadde 200 nga beyambisa unsecured loan zebakiriza nebaziwa abantu abatatuukiriza bisaanyizo. Bano kuliko; Musiime Julius – Head of Agency Banking, Erina Nabisubi – Relationship Manager, Ssemwogere Fred – Banker ne Tumuhimbise Cresent – […]
Poliisi etandise ebikwekweto okufuuza abo bonna abatalina ppamiti
Omwogezi w’ekitongole kya Uganda Police Force ekivunaanyizibwa ku bidduka SP kananura Michael, avuddeyo nategeeza nga bwebagenda okukola ekikwekweto wiiki eno yonna ku bavuzi b’ebidduka okuli emotoka ne piki piki abatalina ppamiti, abalina naye nga kkiraasi gyalina siya kidduka ekyo wamu nabo abalina ezaggwako. Ono ayongerako nti akawayiro 35 aka Traffic and Road Safety, amendment Act […]
Okufa kwange tukujja kulemesa ba Spire balala kuvaayo – Dr. Jimmy Spire Ssentongo
Dr. Jimmy Spire Ssentongo aka Spire Cartoons avuddeyo ku mukutu gwe ogwa X; “Nkimanyiiko nti Palamenti ya Uganda munkukutu yasabye UCC ebikwata ku byempuliziganya yange era omulimu gwatandise okunoonya ani gwenjogera naye, biki byenjogera naye, ddi, wa, gyembeera, ddi lwensembayo okwogera nabo emisana n’ekiro n’ebirala. Muyinza n’okubaamu okwagala okuntuusaako obulabe. UCC, musobola okukiriza okukozesebwa mu […]
Poliisi eyongezza ku kirabo kyoyo anabatuusa ku Luggya Tabula
Omwogezi wa Uganda Police Force SCP Fred Enanga agamba nti Luggya Bbosa Tabula ebbanga lyamala nga yekukumye n’ekibi okwongera okumulumiriza wamu n’okuggwako emirembe. Ono agamba nti kino kyandimuviirako okwogera okuzza emisango emirala nga agezaako okudduka oba okwekweka. Enanga asaba oyo yenna ayinza okuba nga amanyi wa Tabula gyali okukubira aba Special Investigations Division ku Kitebe […]
Omusumba w’Abalakole eyasobya ku mwana namusiiga siriimu asibiddwa emyaka 40
Omusumba w’Abalokole Prophet Kimera Elijah James owa Faith Centre Church of All Nations e Lusanja mu Wakiso asindikiddwa mu kkomera amaleyo emyaka 40 lwakusobya ku mwana owemyaka 16 namusiiga akawuka akaleeta mukenenya. Kkooti ekitegeddeko nti Omusumba w’Abalokole ono omwana omuwala yamufunyisa olubuto nazaala balango, so ngera yali muganzi wa Maama we nga naye yegatta naye.
Kitalo! Abayizi 4 bafiiridde mu muliro ogukutte ekisulo
Kitalo! Abaana 4 bakakasiddwa nti bafiiridde mu muliro ogukutte ekisulo ky’essomero lya Victory Nursery and Primary School mu Ttawuni y’e Busia n’abalala 2 nebaweebwa ebitanda nga bali mu mbeera mbi. Kigambibwa nti omuliro gukutte ekisulo ky’abalenzi mu kiro ekikeesezza olwaleero.
Omubaka Malende agabidde Abasiraamu ebyokusibulukukirako
Omubaka omukyala owa Kampala Munnakibiina kya @National Unity Platfrom Hon. Shamim Malende olunaku olwaleero agabidde Abasiraamu ku Muzigiti e Kasubi ogwa Masjid Tawuhid ebintu ebyokusibulukuka. Abakyala abasulurrira okuzaala abawadde Mama Kits.
Kitalo! Omuyizi omu afudde abalala babuuse na bisago
Abayizi abasoba mu 100 ab’essomero lya Kasoolo St Paul SS ababadde bagenda okuzannya omupiira bagudde ku kabenje oluvanyuma lw’ekimotoka ekika kya Fuso ekitategeerekese nnamba okulemererwa omugoba waayo neggwa ku kyalo Kasoolo mu Gombolola y’e Nkandwa mu Disitulikiti y’e Kyankwanzi.
LOP Ssenyonyi weebale, e Lubowa bazzeemu okuzimba – Sipiika Among
Sipiika wa Palementi Anitah Among yavuddeyo nalangirira ng’okuzimba eddwaliro ly’e Lubowa bwekwazzeemu oluvannyuma lw’emyaka 2, era neyebaza nnyo akulira Oludda oluwabula Gavumenti Joel Ssenyonyi olwokuteekawo akazito.