NEC eronze Hon. Zaake okusirikira Hon. Mpuuga
Akola nga Pulezidenti wa National Unity Platform Dr. Lina Zedriga Waru avuddeyo nafulumya ekiwandiiko oluvannyuma lwa NEC okutuula ku nsonga zeyali LOP Hon. Mathias Mpuuga Nsamba ku bigambibwa nti yenyigira mu bikolwa byokulya enguzi wamu n’okukozesa obubi offiisi ye ngali wamu ne Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM abali ku Parliamentary Commissioners mwebegabirira akawumbi […]
Abakolera abasiyazi tebajja kuntiisatiisa – Sipiika Among
Sipiika wa Palamenti Anitah Among avuddeyo nategeeza nti ebigambibwa nti akozesa bubi offiisi ye wamu n’obuli bwenguzi mu Palamenti nategeeza nti ye talina budde kwanukula ngambo zapangiddwa ku ye olwokuba yakiriza okuyisa etteeka lyokulya ebisiyaga. Ono ayongeddeko nti tajja kwanukula bintu bya ŋŋambo nabintu biyiyiziddwa ku social media. Ono akinogaanyizza nti ye awakanyiza ddala ekyokuvuga […]
Pressure aziddwayo ku alimanda e Luzira
Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road Ronald Kayizzi agaanye okusaba kwa Musana Ibrahim aka Pressure 247 okwokweyimirirwa nga agamba nti talina kifo kituufu wabeera nga nabwekityo tasobola kumuyimbula kuba tebalina gyebanamunoonyeza singa abulawo. Omulamuzi ategeezezza nti Pressure yagamba Poliisi nga bwabeera e Kawuga mu Disitulikiti y’e Mukono nti wabula mu Kkooti baleese ebbaluwa nga ewandiikiddwa […]
Abakirizza balemesezza Archbishop Kazimba okuyingira ekkanisa e Kumi
Waliwo ekiwayi kyabakirizza mu Disitulikiti y’e Kumi abagaanyi Archbishop Stephen Kazimba Mugalu okuyingira ekkanisa ya St. James Atutur. Obuzibu bwatandise Bishop Mike Esakan bweyategeezezza nti y’essaawa Essaza ly’e Kumi lyeddize ekkanisa eno ebadde yawambibwa ennumba. Kino kyanyizizza abakiririza mu kiwayi kya Reformed Anglican Church ababadde babagalidde amafumu n’amajambiya abatandise okuwerekereza musajja wa Katonda ebigambo nga […]
Pressure 247 n’abamamweyimirira beyaleeta tebalina watuufu webabeera
Ibrahim Musana aka Pressure 247 akomezeddwawo mu Kkooti olunaku olwaleera wabula okusinziira ku alipoota yomuwaabi wa Gavumenti Richard Birivumbuka eraga nti abantu 2 beyaleeta okumweyimirira ne Musana yennyini tebirina bifo byankalakkalira webabeera. Ono agamba nti nokumuyimbula kyabulabe nnyo olwabantu beyavuma abomugaso ennyo nga okumukuumira mu kkomera kimutaasa. Ono ayongeddeko nti Kkooti bweba esazeewo kumuyimbira lwakiri […]
Mugende mukwate PS Katusiime – Hon. Muwanga Kivumbi
Ssentebe w’akakiiko ka Palamenti aka Public Accounts Committee Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Muwanga Kivumbi alagidde CID okukwata Doreen Katusiime omuwandiisi omukulu mu Minisitule y’ebyobulambuzi okuva mu maka ge. Kino kidiridde ono okuyitibwa enfunda eziwera ngatalabikako kunyonyola ku bibuuzo ebyeyolekera mu bitabo bya Minisitule. Ono abadde asindika abali wansi we mu Minisitule okujja mu […]
Sipiika Among asisinkanye Pulezidenti Museveni
Ettuntu lyaleero Sipiika wa Palamenti Nnaalongo Anita Among asisinkanye Pulezidenti Gen. Yoweri Kaguta Museveni mu State House in Entebbe, nebogera ku ngeri gyenayinza okukolera awamu okuweereza obulungi Bannayuganda. Sipiika yebazizza nnyo Pulezidenti olwokumulambika nga buli kaseera ku bintu ebyenjawulo. Bya Barbara Nabukenya
Abasomesa e Nakaseke batuyaanye nga bakola ebigezo bya P7
Abasomesa okuva mu masomero ga Pulayimale agaakola obubi mu bigezo bya PLE agasoba mu 40 okuva mu Disitulikiti y’e Nakaseke batuyanye nga bwezikala oluvannyuma lwa Ssentebe wa Disitulikiti Mw. Koomu Ignatius Kiwanuka okubawa ebigezo mu ssomo buli omu lyasomesa babituule nekigendererwa ekyokutumbula omutindo gw’ebyenjigiriza. Koomu agamba nti kino akikoze nekigendererwa kyokulaba nti batumbula ebyenjigiriza mu […]
Dr. Ssentanda erinnya Kinyamatama waliwulira wa nga mu katambi mulimu Kyamatama? – Munnamateeka Lukwago
Bannamateeka b’Omubaka wa Mityana Municipality Munnakibiina kya National Unity Platform MP Zaake Francis Butebi banenyezza abakugu okuva ku Ssetendekero wa Makerere mu kitongole ky’ebyennimi olwokuvvuunula obubi ebigambo ebyayogerwa Omubaka Zaake mu katambi okubizza mu Lungereza. Kino kyaddiridde Dr. Medard Ssentanda okusaba ekiwandiiko ekyasooka okuwebwayo ekyali kyoleka ebigambo ebyayogerwa Hon. Zaake okuva mu katambi akaweebwayo Omubaka […]