Lwaki Mw. Museveni atasasulira luguudo lwa Expressway aluggazaawo – Hon. Sseggona

Tutya n’okuyita ku nguudo mu Kampala – Hon. Ssekikubo

Waliwo Ababaka Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM abamu abasazeewo okwegatta ku Babaka b’Oludda oluvuganya, okusaba Sipiika okuyita Ababaka okuvaayo mu luwummula batuule nabakulembera Palamenti okusobola okwekeneenya ensonga y’obuli bw’enguzi wamu n’okukozesa obubi offiisi ebibunye omutimbagano. Omubaka akiikirira Lwemiyaga County Theodore Ssekikubo ategeezezza nti bangi tebakyasobola kutambula ku nguudo za Kampala babeera bekwese nga […]

Kkooti y’amaggye egobye omujulizi wa Gavumenti mu gwa NUP

Kkooti y’Eggye lya UPDF etuula e Makindye ngekubirizibwa Brig. Gen. Robert Freeman Mugabe olunaku lw’eggulo yagobye obujulizi bwomu ku bajulizi abaleeteddwa oludda oluwaabi okulumiriza abawagizi ba National Unity Platform abavunaanibwa omusango gwokusangibwa n’ebintu ebirina okubeera n’ebitongole byebyokwerinda. Kigambibwa nti ono yayogedde ebitakwatagana, mu bujulizi bwe. Brig. Gen. Mugabe kwekwongezaayo olutuula lwa kkooti eno okutuusa nga […]

Omubaka Malende agabidde aba Katale kabaliko obulemu ebikozesebwa

Omubaka omukyala akiikirira Disitulikiti y’e Kampala Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Shamim Malende enkya yaleero akedde mu katale Kaabaliko obulemu akalinaanye ppaaka empya mu Kampala okwengeramu nabo ku mbeera nga bwebayisa. Bano bamulombojjedde embeera gyebayisibwamu naddala abakwasisa amateeka mu Kitongole kya Kampala Capital City Authority – KCCA ababatulugunya naddala abakyala. Bano abawadde ebyokusibulukukirako omuli […]

Abayizi bangi abasiba tution mu zzaala – Prof. Nawangwe

Ssenkulu wa Makerere University Prof. Barnabas Nawangwe yavuddeyo nategeeza nga abayizi abasiba mu 1000 buli mwaka abalemererwa okumalako okusoma lwakusiba ssente za tuition mu zzaala kayite akapapula. Nawangwe agamba nti bakola okunoonyereza nebakizuula nti abayizi bangi abalemererwa okusasula tution lwakuzisiba bafunemu amagoba mu kapapula nebabakuba. Ono agamba nti abayizi bano bagenda mu maaso nebalimba bazadde […]

Nze kabwa ka Sipiika akalina okuboggolera abamulumba – Chris Obore

Omwogezi wa Palamenti Chris Obore avuddeyo; “Abo abalabisa mu mwoleso gwokumutimbagano ogwa #UgandaParliamentExhibition ennugu ebatta kuba Sipiika Anitah Among tabaanukula. Mukimanye Sipiika talina kuvaayo kwogera ku buli lugambo. Okugeza bwoba n’embwa awaka yerina okuboggola so ssi ggwe. Sipiika ne Palamenti bampa obuyinza okwogera ku lwabwe.”

Poliisi etabuse ku kalango ka Jesa Jus

Omwogezi wa Uganda Police Force SCP Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga obukulembeze bwa Poliisi bwebuvumirira ne ssekuvumirira akalango ka ‘JESA JUS’ akakoleddwa nekateekebwamu omusirikale w’ebidduka by’okunguudo nga kalaga nti yabadde akola emirimu gye egyabulijjo ku luguudo nayimiriza emotoka okugyekebejja. Ddereeva w’emotoka n’abaana beyabadde atisse yabasabye ku kyokunywa kya ‘JESA JUS’ era nabaleka bagende ebyokwekebejja emotoka […]

Abgambibwa okutta Lwomwa omubuze basindikiddwa e Luzira

Abantu 5 okuli n’omuwandiisi mu Kkooti ya Kisekwa Milly Naluwenda basindikiddwa ku alimanda e Luzira ku misango egyekuusa ku kutta eyali omukulu w’Ekika ky’Endiga Lwomwa omubuze Eng. Daniel Kakendo Bbosa nga 25-Febuary. Omu ku bagambibwa okutta Lwomwa, ye Luggya Daniel ngono yasimattuka okuttibwa abatuuze ababagoba nebabakwata abadde ajjanjabwa mu Ddwaliro e Mulago gyasiibuddwa olwaleero okuleetebwa […]

Abaaliko ba RDC balaajanidde Pulezidenti Museveni

Abaliko ba RDC abasoba mu 30 nga ku bano kuliko ny Eric Sakwa bavuddeyo nebalajanira Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okuvaayo okubataasa kuba embeera gyebayitamu sinyangu nga bagamba nti okusuulibwa kwabwe kwali kwakibwatukira nga tebalina kebetegekedde nga kati basanga obuzibu bwamaanyi okweyimirizaawo naddala mu byensimbi nti era ne mu bitundu gyebabeera tebakyawera. Bano baagala Pulezidenti abafunireyo […]

NAGRC ewakanyizza ekyokuliyirira Minista Otafiire obuwumbi 76

National Genetic and Resources Centre and Data Bank – NAGRC&DB ewandiikidde Ssaabawolereza wa Gavumenti ngemulabula ku kyokuliyirira Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’omunda mu Ggwanga Gen. Kahinda Otafiire obuwumbi 76 ku ttaka lya Njeru Stock Farm lyakayanira nti lirye. Minisita Otafiire agamba nti ettaka lino yaligula Christopher Lule, era nga Minisita yagenda ku ffaamu eno nga […]