Abakyala mukole nnyo emirimu egibayamba okwekulaakulanya – Hon. Malende
Olunaku olwaleero Omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Kampala Hon. Shamim Malende yetabye ku mukolo ogutegekeddwa ekibiina ekimanyiddwa nga Catholic Workers Movement ng’omukolo gubadde Mbuya mu Division. Ono akubirizza abakyala okukola ennyo okulaba nti bekulaakulanya nga bayita mu mirimu egyenjawulo, ono awagidde pulojeketi yaabwe eyebintu ebyemikono nasuubiza okubasakira.
Bannayuganda batuufu okutunyiigira – Hon. Ssemujju
Omubaka wa Kira Municipality Ibrahim Ssemujju Nganda; “Bannayuganda batuufu okutunyiigira, wabula ekirina okukolebwa si kugoba Among. Mu Palamenti Ababaka gyebekobaana okugabana obuwumbi 170 ezaali ez’ebibiina byobweggassi ebyaggalwa ate ekibinja ekirala nekigabana amabaati agali agabantu abayinike e Karamoja, ekirabo ky’obuweereza kitandika okulabika ngekyabulijjo. Ye nsonga lwaki ekirina okukolebwa kwekuggya Mw. Yoweri Kaguta Museveni mu buyinza ate […]
Owa NUP awangudde obwa Guild President e Makerere
Munnakibiina kya National Unity Platform Lubega Vincent Nsamba alangiriddwa nga Guild President owe 90 owa Makerere University oluvannyuma lwokufuna obululu 2,540 mu kulonda okukoleddwa ku mutimbagano bwatyo namegga banne 15 babadde avuganya nabo. Ono adidirddwa Edmond Ariho, gwasinze obululu 4. Kasekende Fulungensio, afunye obululu 1,674 ate Simon Wandukwa akutte kyakuna n’obululu 1,039.
Sipiika asinga abazibba nebatabaako kyebakolera bantu baabwe – Chris Obore
Chris Obore nga ye Director, Communication & Public Affairs owa Palamenti avuddeyo ku nsimbi y’omuwi w’omusolo abantu gyebanenya Sipiika Anitah Among gwebagamba nti azikozesa bubi; “Ekibuuzo kirina kubeera nti ssente zino zaali zaaki era zasaasanyizibwa zitya. Okusinga okulumba omuntu tubeere benkanya. Saagala kunenya Sipiika Anitah Among olwokuba akoledde abantu be mu kitundu kye naye nga […]
Abantu abasoba mu 200 abagambibwa okugobwa ku bibanja byabwe bayiiriddwa e Mubende
Waliwo abantu abali eyo mu bibiri omuli abaana n’bakyala abayiiriddwa motoka ekika kya tipa mu Disitulikiti y’e Mubende ku kyalo Kattabalanga mu kiro ekyakeesa olunaku lwegulo, bano bategeezezza abatuuze nti bagobebwa ku bibanja byabwe ku kyalo mu bitundu by’e Hoima ne Kagadi nga webabayiridde wano baabadde bolekera offiisi za National Resistance Movement – NRM mu […]
Omubaka Malende adduukiridde abakyala abasulirira okuzaala
Omubaka wa Omukyala owa Kampala Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Shamim Malende enkya yaleero ku offiisi ye e Kawempe atongozza pulogulaamu yakugabira abakyala abasulirira okuzaala ‘Mama Kits’okuva mu Kampala ne Disitulikiti ezirinaanyeewo. Ono ategeezezza nti wakugenda mu maaso n’okugaba Mama kit abatalina mwasirizi mu bitundu ebyenjawulo. Ono bamunyonyodde ensonga zaabwe nabasuubiza okuzituusa mu Palamenti.
Twagala kulaba ku Ddwaliro lya Mbuya Military Hospital – Hon. Muwanga Kivumbi
Ssentebe w’Akakiiko ka PAC Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Muhammad Muwanga Kivumbi; “Mututte emyaka 6 okuzimba eddwaliro eryalina okumalirizibwa nga 31st-July-2020. Kino kitegeeza eddwaliro lyarina okumalirizibwa mu myaka 2 mwe mututte 6. Kkontulakita mwamwongera emyaka 3, tetulina ddwaliro. Webabalira ebitabo mu October 2023, mwali mumalirizza ebitundu 70 ku 100 so nga byalina kubeera 90 […]
Pulezidenti Museveni awadde eyakwata abatemula Lwomwa emotoka
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo naawa omusajja eyakwata abatta Omukulu w’Ekika ky’Endiga Lwomwa Bbosa Daniel ekirabo olunaku olwaleero mu State House Entebe. Pulezidenti Museveni awadde Abdul Katabazi omuddaali gwa Nalubaale era namwebaza okubeera omuvumu era yakola obuzira obutagambika. Agambye nti ono naye kati afuuse omulwanyi era neyeyama okuwa aba booda booda abalala abenyigira mu kugoba […]
Munnamateeka Malende akedde ku Kkooti e Nabweru
Omubaka omukyala owa Kampala era Munnamateeka wa basibe Bannakibiina kya National Unity Platform Hon. Shamim Malende yatuuse dda ku Kkooti e Nabweru ku misango gyobutujju egivunaanibwa abawagizi ba NUP okuli Magala Umar n’abalala 10. Bano kwateekebwako abalala 2 okuli; SSEBAGALA RASHID ne SSEKABEMBE SALIM, ye RESTY BIRUNGI ne FARIDA MASABA bagibwako emisango era nebayimbulwa.