Byabashaija awagidde ekyokusengula ekkomera ly’e Luzira
Akulira ekitongole ky’amakomera mu Ggwanga ekya Uganda Prisons Service Johnson Byabashaija, avuddeyo nawagira ekiteeso kyokukyuusa ekkomera ly’e Luzira. Ono agamba nti kiba kyabuvunaanyizibwa okukozesa ettaka lino ekintu ekivaamu ensimbi era ngakiwa abantu abawerako emirimu okusinga okuteekawo ekkomera.
Nickson ne banne bejjeerezeddwa Kkooti y’Amaggye
Nickson Agasiirwe ayimbuddwa Kkooti y’Amaggye oluvannyuma lwokumuggyako emisango ye nabalala 2 okuli Hernet Muhangi ne Col. Nduhura Atwooki. Bano babadde bavunaanibwa emisango egyokuyambako n’okuwamba abantu, okuzzaayo Bannansi ba Rwanda ababundabunda ku mpaka wamu n’okuwa Bammemba ba Boda boda 2010 emmundu (okulemererwa okukuuma ebyokulwanyisa).
LOP akyaliddeko ku Hon. Ssegiriinya
Akulira Oludda Oluvuganya Gavumenti Joel Ssenyonyi akulembeddemu Ababaka Bannakibiina kya National Unity Platform okuli; Hon. Betty Ethel Naluyima Wakiso Dist. Woman MP, Hon. Hon Nyeko Derrick wamu ne Munnakibiina kya Democratic Party Uganda Hon. Luttamaguzi Paulson bakyaliddeko ku Mubaka wa Kawempe North Hon. Ssegirinya Muhammad FANS PAGE mu Ddwaliro lya Aga Khan Hospital-Nairobi. Bano bategeezezza […]
Pulezidenti Museveni atenderezza eyakwata abatta Lwomwa
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo naawa omusajja eyakwata abatta Omukulu w’Ekika ky’Endiga Lwomwa Bbosa Daniel ekirabo olunaku olwaleero mu State House Entebe. Pulezidenti Museveni awadde Abdul Katabazi omuddaali gwa Nalubaale era namwebaza okubeera omuvumu era yakola obuzira obutagambika. Agambye nti ono naye kati afuuse omulwanyi era neyeyama okuwa aba booda booda abalala abenyigira mu kugoba […]
Sirina buzibu bwonna ne Hon. Mpuuga – Bobi Wine
Pulezidenti wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Sirina buzibu bwonna na mumyuuka wange Hon. Mathias Mpuuga Nsamba. Namulonda ku kifo kyomumyuuka wange, ekya Leader of the Opposition in Parliament, ne Parliamentary Commissioner. Mukulembeze mulungi era muwa ekitiibwa. Kitwagala akole ekyobugunjufu.”
IGP awaddeyo offiisi mu butongole
Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo nategeeza nti IGP Martin Okoth Ochola olunaku olwaleero awaddeyo offiisi eri omumyuuka we DIGP Major General Tumusiime Kasigazi nga kino kidiridde endagaano ye okuggwako kuntandikwa y’omwezi guno. Omukolo gukoleddwa ku kitebe kya Poliisi mu kyaama.
Poliisi etaddewo obukadde 10 eri oyo abawa amawulire agakwata ku Luggya
Uganda Police Force evuddeyo neteekawo obukadde 10 nga buno bwakuweebwa oyo yenna anavaayo nagiwa amawulire aganagiyamba okuzuula Luggya Bbosa Tabula, nga kigambibwa nti ono yeyali emabega w’olukwe lwokutta Lwomwa omubuze Eng. Daniel Bbosa, eyali omukulu w’ekika ky’Endiga eyattibwa ku Sunday, nga 25 February 2024, e Lungujja, mu Lubaga.
Ab’Enzikiriza ya Faith of Unity bajaguza emyaka 44
Ab’enzikiriza ya Faith of Unity omwaka guno bajaguzza okuweza emyaka 44 era nebabakubiriza okwenyigira mu pulogulaamu za Gavumenti basobole okwegobako obwavu nga bayita mu kwekulaakulanya. Hajjat Hadijah Uzeiye Namyaalo yasabye abantu b’e Bunyoro okwaniriza enteekateeka za Gavumenti okusobola okufuna ensimbi eziyimirizaawo amaka gaabwe. Bino Namyalo yabyogeredde mu Ttawuni y’e Muhoro mu Disitulikiti y’e Kagadi ku […]
Akabenje kagudde e Namagunga
Omwogezi w’ekitongole kya Uganda Police Force ekivunaanyizibwa ku bidduka SP kananura Michael avuddeyo nategeeza nga bwewaliwo akabenje akamaanyi akagudde e Namagunga nga kabaddemu tuleela, ttipa ne pickup nekasalako oluguudo lwa Kampala – Jinja. Ategeezezza abagoba b’ebidduka bonna nti emotoka zonna ezidda e Jinja kati ziyita Katosi nga zikyamira Wantoni – Mukono, nga nezidda e Kampala […]