Aba Poliisi 2 bakwatiddwa lwa bubbi e Katuna

Njakulwanyisa abo bonna abesenza ku ttaka lyamakuumiro g’ebisolo – Pulezidenti Museveni

Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister olunaku olwaleero akiikiridde Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku mukolo gwokukuza olunaku lw’ebisolo olwa UN World Wildlife Day ogubadde ku ssomero lya Kagorogoro Primary School mu Disitulikiti y’e Kyenjojo. Mu mubaka bwa Pulezidenti bwasomye, ategeezezza nti okukuza olunaku luno mukisa gwamaanyi okukuuma obutonde obuli mu nsi eno obwenjawulo era Pulezidenti […]

Edduwa ekulembera omwezi omutukuvu ogwa Ramadhan esomeddwa olwaleero

Olunaku olwaleero Omubaka omukyala owa Kampala Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Shamim Malende yetabye mu Dua ekulembera omwezi Omutukuvu ogwa Ramadhan ku muzigiti gw’e Kyadondo. Edduwa eno yetabiddwako Omulangira Kasim Nakibinge, Omulangira Khalifan, Supreme Mufti Muhammad Galabuzi n’abalala.

Sirina kasiimo kenafuna nga nvudde ku bwa LOP – Hon. Winnie Kiiza

Eyaliko akulira oludda oluvuganya Gavumenti owa Palamenti eye 10 LOP Emeritus Hon. Winnie Kiiza avuddeyo nasambajja ebigambibwa nti yateesa ku kasiimo kobuweereza nga LOP weyawummulira. Ono agamba nti ebintu ebyamuweebwa kwaliko; accolade, diary, calendar n’ensawo era nga bino byaweebwa abo bonna abalina ebifo byobukulembeze mu Palamenti ye 10. Ono agamba nti bintu bino yabifuna mu […]

Omusuubuzi agambibwa okugoba abantu ku ttaka akwatiddwa ku biragiro bya Hon. Nabakooba

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ettaka, amayumba nokuteekerateekera ebibuga Hon. Judith Nabakooba ngakolera wamu ne Uganda Police Force okuva e Mubende bakutte omusuubuzi Moses Madoi ku bigambibwa nti atwala ettaka ly’Abantu mu Disitulikiti y’e Kassanda. Abantu okuva mu magombolola 3 okuli; Kalwana, Kassanda ne Kalutuntu bali mu kutyq nti essaawa lyonna bandisengulwa okuva ku ttaka lyabwe.

Bobi Wine yemujjwa akulembeddemu okumalawo ebibamba ku mukolo gwokutereka Eng. Bbosa

Oweek. Twaha Kaawaase Kigongo Omumyuka wa Katikkiro Asooka yaakulembeddemu Abaami ba Kabaka okugenda okutereka Lwomwa Omubuze era awerekeddwako ba Minisita ba Kabaka, Abaami b’Amasaza, Abakungu okuva mu Gavumenti ya wakati, bannaddiini ne bannabyafuzi ab’enjawulo. Enteekateeka z’okutereka Lwomwa Omubuze Eng. Daniel ziwedde era entaana esimiddwa ya ffuuti 15 ng’omubiri gw’omutaka guzingiddwa mu mbugo ezikunuukirizza mu 200. […]

Bobi Wine talina busobozi kukulembera Uganda

Omubaka Twaha Kagabo avuddeyo ku biriwo mu National Unity Platform; “Kino kikakasizza kyenayogerako emabegako nti mu bukulembeze bwa National Unity Platform mujjuddemu katemba. Njagala okwebaza obukulembeze bwa Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) okwoleka nti waliwo ebintu byebasobola okukola nebyebatasobola kuba bwetwali tujja mu bukulembeze twawa Bannayuganda essuubi nti tusobola okutwala obuyinza bwa Uganda. Kino kituyambye […]

Lwomwa omuggya atuuziddwa

Eria Lwasi Buzaabo alondeddwa kubwa Lwomwa omukulu w’Ekika ky’Endiga. Ono yabadde Katikkiro wa Lwomwa omubuze Eng. Daniel Bbosa. Buzaabo ayanjuddwa ewa Katikkiro Charles Peter Mayiga wa Buganda Charles Peter Mayiga, oluvannyuma anaamwanjula ewa Ssaabasajja Kabaka. Katikkiro Charles Peter Mayiga asabye Lwomwa omuggya okukumaakuma bazzukulu be, nokukimanya nti Ssaabasajja Kabaka ye Ssaabataka. Katikkiro w’Ekika ky’Endiga, Paul […]

Sigenda kuva ku kifo kya Parliamentary Commissioner – Hon. Mpuuga

Omumyuuka w’Omukulembeze wa National Unity Platform ow’Amasekkati Hon. Mathias Mpuuga Nsamba nayanukula ekiwandiiko ekyafulumiziddwa ekibiina kya NUP. Ono ategeezezza nti; “Sigenda kuggibwa ku mulamwa gw’abafamire abalina ebigendererwa byabwe abegezaako okubikka ensonga enkulu ku ngeri ekibiina gyekiddukanyizibwamu awatali bwerufu wamu n’okunyigiriza abakulembeze abalala abali mu kibiina.” Ono ategeezezza nti amagezi agamuweereddwa okulekulira ku kifo kya Parliamentary […]

Tetugenda kukiriza muntu kulya ssente ya muwi wa musolo – Bobi Wine

Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine avuddeyo ku nsonga y’omuyuuka we owa masekkati Hon. Mathias Mpuuga Nsamba eyakirizza nti yafuna ensimbi obukadde 500 nga akasiimo olwekifo kyeyaliko nga akulira oludda oluwabula Gavumenti. Kyagulanyi agambye nti tajja kukiriza kolwa kyakulya ssente yamuwi wa musolo. Ono agamba nti bawadde Omubaka Mpuuga amagezi […]