Abataka Abakulu b’Obusolya ne ba Katikkiro baabwe bakungubagidde munnaabwe Omutaka Lwomwa

Poliisi ekirizza okukwata Milly Naluwenda

Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga ekitongole kyaayo ekya Crime Intelligence Unit bwekyakoze ekikwekweto e Lungujja mu Lubaga Division mu Kampala, n’emikwata omuntu omu Milly Naluwenda. Onyango agamba nti ono yakwatiddwa okuyambako mu kunoonyereza Poliisi kweriko. Ono agumizza aba famire nti babeere bakakkamu ali mu mikono mituufu.

Ebyogerwa nti abasirikale baggya ssente ku basuubuzi mu Trust Arcade bya ppa – Patrick Onyango

Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango avuddeyo ku katambi akabadde katambuzibwa ku mikutu gya Social Media ngalaga abasirikale ba Poliisi nga bagabana ssente ezigambibwa okuba nti zagiddwa ku basuubuzi mu kikwekweto kyebakola ku Trust Arcade. Onyango agamba nti; 1. Ekikwekweto kyakolebwa mu mateeka nga Poliisi ekimanyiiko bulungi ngeri wamu n’ekitongole […]

Abakulu b’Ebika batenderezza emirimu gya Lwomwa

Bajjajja Abakulu b’Ebika batenderezza emirimu gya Lwomwa Daniel Bbosa Omubuze, bategeezeza nti ajja kujjukirwanga olw’ebirungi ebingi byakoze mu bulamu bwe. Abataka basabye Gavumenti okwongeramu amaanyi mu kulwanyisa ebikolwa eby’ettemu ebisusse mu Ggwanga nga byatwaliddemu n’Omutaka Daniel Bbosa omukulu w’Ekika ky’Endiga. Bajjajja balabudde Abazukkulu okwewala okukozesa obubi emitimbagano nga bawalampa abantu abalala n’okubasiiga enziro.

Kkampuni ya GoGo Electric ekoze booda booda z’amasanyalaze

Kkampuni ya GOGO Electric evuddeyo okutaasa Munnayuganda naddala oyo omuvuzi wa booda booda mu kiseera kino ngamafuta gabuseere, bano bakukolera piki piki eyamasanyalaze nga tewetaaga mafuta era nga wetwogerere balina piki piki 1000 eziri ku luguudo ezitambula. Leonard Okech ngono akola nga Client Relations Manager, agamba nti bakyuusa ne piki piki ezibadde ezamafuta nebazifuula eza […]

Omuti gwomuwafu abakiise webatuula okuteeka omukono ku ndagaano yolwenda gugudde

Omuti gw’omuwafu (Canarium Tree) webateera emikono ku ndagaano y’olwenda gwagudde oluvannyuma lwa namutikwa w’enkuba eyatonnya ekiro ekyakeesa bbalaza mu Ssetendekero wa Kyambogo. Omuti guno gukwata ekifo kyakumwanjo nnyo mu byafaayo bya Buganda kuba kigambibwa nti Olubiri lwa Ssekabaka Muteesa I lwali mu kifo kino nga terunasengulwa kutwalibwa Mengo. Photo Credit; Daily Monitor

Ekitongole kya Keddi Foundation kiduukiridde abantu ababundabunda

Ekitongole kya Keddi Foundation kiduukiridde abantu ababundabunda mu nkambi y’e Kyaka II n’ebintu ebikozesebwa mu bulamu obwabulijjo obwenjawulo. Bano babawadde ebintu ebikozesebwa mu kusoma omuli ebitabo, emmere wamu n’ebintu ebirala eri ssomero lya Angles Care School, abantu abawangalira mu Kyaka II Refugee Camp wamu n’abatuuze abalala. CEO wa Keddi Foundation Dr. Keddi Steven bweyabadde awaayo […]

Poliisi ekutte abadde abba nnamba z’emotoka

Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Luke Oweyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi bweyakutte Muwanguzi Isaac 21, nga mutuuze w’e Salaama ku bigambibwa nti abadde abba ennamba z’emotoka. Isaac yakwatiddwa olunaku lw’eggulo e Kabowa oluvannyuma lwokumunoonyeza ebbanga. Okunoonyereza kulaga nti Isaac abadde abba ennamba z’emotoka nebyuuma ebirala ku motoka mu bitundu by’e […]

Poliisi ekutte musajja waayo eyabba piki piki gyebakwata ku CPS

Omwogezi wa Uganda Police SCP Enanga Fred avuddeyo nategeeza nga Poliisi ya Kampala Metropolitan bweyakutte musajja waayo PC Ahabwe Michael eyadduka ku Poliisi ya CPS oluvannyuma lwokubba piki piki ya y’omuvuzi wa booda booda Walusimbi Samuel. Piki piki ya Walusimbi yali ekwatiddwa mu kikwekweto kya Poliisi y’ebidduka era omusirikale ono nemuweebwa okugitwala mu yard ya […]

Omukulu w’essomero akwatiddwa lwakujingirira ebyava mu bigezo bya P.7

Lillian Ayebazibwe, ngono mukulu wa Ssomero lya Bubaale Primary School e Bushenyi akwasiddwa Uganda Police Force ab’ekitongole ekivunaanyizibwa ku bigezo mu Ggwanga ekya Uganda National Examinations Board-UNEB ku bigambibwa nti yagingiridde ebyava mu bigezo bya P.7 nebatuuka n’okuweebwa ebifo mu S.1 mu masomero agenjanwulo so nga ebigezo by’abayizi bano 114 byakwatibwa ku nsonga ezekuusa ku […]