Omubaka Zaake agobwe mu Palamenti – Hon. Kinnyamatama
Omubaka Juliet Kinyamatama Ssuubi akiikirira Abakyala mu Disitulikiti y’e Rakai avuddeyo nasaba Akakiiko ka Palamenti aka Parliament’s Rules Committee okusindika Omubaka Munnakibiina kya National Unity Platform MP Zaake Francis Butebi (Mityana Municipality) mu ddwaliro okukeberebwa bulungi obwongo nti era agobwe ne mu Palamenti ebbanga lino lyabuzaayo ery’emyaka 2 n’ekitundu okumalako ekisanja kye.
Katikkiro akwasiddwa ennyumba Buddukiro olwaleero
Omumyuuka w’Omukulembeze wa National Unity Platform owa Massekkati Hon. Mathias Mpuuga Nsamba; “Mukuuma Ddamula, Katikkiro Charles Peter Mayiga akwasiddwa mu butongole enyumba Buddukiro – enyumba entongole eya Pookino. Enyumba eno yazimbwa mu 1936 kyokka nedda mu mikono gya gavumenti oluvanyuma lw’okuwerebwa kw’Obwakabaka mu 1966. Tweebaza Pookino, Owek. Jude Muleke, eyawoma omutwe muntekateeka z’okuddabiriza enyumba eno. […]
Bawala ba Katanga basaba kweyimirirwa
Omulamuzi wa Kkooti Enkulu mu Kampala Isaac Muwata olunaku olwaleero atandise okuwulira okusaba kwokweyimirirwa okwateekebwayo bawala b’omugenzi Henry Katanga 2 abavunaanibwa omusango gwokutaataganya obujulizi obwandikozeseddwa mu musango gwokuttibwa kwa kitaabwe.
Bannansi ba Congo 14 bakwatiddwa lwakukusa bikozesebwa mu nvuba embi
Ekitongole ekirwanyisa envuba embi okuva mu Uganda Police Force ekya Fisheries Protection Unit kyakutte Bannansi b’eggwanga lya Democratic Republic of Congo 14 nga kigambibwa nti bano babadde bakukusa ebintu ebikozesebwa mu nvuba embi nebabayingiza mu Uganda nga beyambisa ennyanja Muttanzige. Mu ngeri yemu waliwo ne Bannayuganda 16 abakwatibwa mu Ggwanga lya DRC bano nga baalina […]
Bannamateeka mulekeraawo okumala obudde nga mutuuze enkiiko ku nsonga ezitalina makulu – Kiryowa
Ssaabawolereza wa Gavumenti Kiryowa Kiwanuka atabukidde abalamuzi ne Bannamateeka olw’okuyita nga enkiiko ezitalina makulu ne balema okukola emirimu . Kiwanuka anokoddeyo olukiiko lwebaatuuza gyebuvuddeko okwogera ku bbaluwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni gyeyasindikira Ssaabalamuzi wa Uganda ng’emulagira atunule mu nsonga z’enkaayana ku by’obugagga naddala ettaka eziri mu ddiini y’Obusiraamu kyagamba nti kyali tekyetaagisa wadde. Kiryowa era […]
Minisita vaayo oyogere ku bupiira obunyiga abasajja – Sipiika Tayebwa
Omumyuuka wa Sipiika Thomas Tayebwa avuddeyo nasaba Minisita w’Ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng Ocero okuvaayo nekiwandiiko ku kwemulugunya kw’Ababaka abamu abavuddeyo nebategeeza nti obupiira bu kalimpitawo obutundibwa mu Ggwanga butono mu sayizi nti era Bannayuganda betaaga okusomesebwa kukukozesa obupiira nga betegekera okujaguza olunaku lw’obupiira olw’ensi yonna olwa World Condom Day olwokubaawo nga 13 February 2024.
Abadde agambibwa okubba ebintu bya muganzi we azuuse – Poliisi
Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nti nga 3-Feb-2024 Poliisi y’e Kanyanya yafunye okwemulugunya okuva eri Namasera Winnie 25, omutuuze w’e Kyebando Central Zone nga agama nti muganzi we Lukyamuzi Timothy 26, yali atutte ebintu bye ebyo mu nnyumba nga tamuwadde lukusa. Poliisi bweyakola okunoonyereza nekizuula nti mu […]
Kitalo! Abantu 3 bagudde mu nnyanja e Busaabala
Omwogezi wa Uganda Police Force Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga abantu 3 bwebagudde mu mazzi nebabbira oluvannyuma lweryato lyebabadde basabaliramu okubbira okuliraana omwalo gw’e Busaabala. Kigambibwa nti bano babadde batwala musenyu okuva mu bizinga e Mukono nga bagutwala BUsaabala nga kigabibwa nti kino kivudde ku muyaga ogwamaanyi ogubadde ku nnyanja.
Tororo Cement eddaabirizza ebizibe bya UWESO Masuulita Children’s Home
Muwala w’Omukulembeze w’Eggwanga Natasha Museveni Karugire olunaku olwaleero akiikiridde Maama we era Minisita w’Ebyenjigiriza n’emizannyo Janet Kataaha Museveni ku mukolo gwokuwaayo ebizimbe okuli ebisulo byabaana 2, ekifo webaliira emmere wamu n’ekisulo kyabagenyi mu UWESO Masulita Children’s Home bino nga byadaabiriziddwa Tororo Cement LTD.