Munnakibiina kya NRM eyalimba emyaka agiddwa ku bwa Kansala
Omulamuzi wa Kkooti e Iganga Dan Apebbo agobye Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM Mbeiza Eric ngono abadde mukiise w’Abavubuka ku Lukiiko lwa Iganga Municipal Council oluvannyuma lwokukizuula nti yagingirira ebiwandiiko byobuyigirize ssaako n’okukyuusa emyaka gye ku ndagamuntu okumusobozesa okugwa mu maka gyobuvubuka. Omulamuzi alagidde Munnakibiina kya Forum for Democratic Change Sharif Hishaka eyawaaba […]
Mbuulirayo Omubaka eyali akwatiddwa UPDF olwokwambala enkofiira emyuufu – Rt. Hon. Nabbanja
Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister avuddeyo nasambajja ebyogeddwa Akulira Oludda oluwabula Gavumenti Joel Ssenyonyi nti Bannayuganda bakwatibwa olwokwambala obukofiira obumyuufu olwokuba zefaananyiriza ebyambalo bya UPDF, nategeeza nti alabye Ababaka abawerako nga bazambadde naye mpaawo yali akwatiddwa so nga era bano tebavangayo kwetondera UPDF so nga Omubaka Lilian Aber yavuddeyo neyetonda mu bwangu.
Ngenda kutegeka okulonda okwamazima n’obwenkanya mu 2026 – Byabakama
Ssentebe w’Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission Uganda eyakalayizibwa ku kisanja ekiggya Omulamuzi Simon Byabakama avuddeyo nasuubiza Bannayuganda akalulu akamazima n’obwenkanya mu 2026. “Eri Bannayuganda mwenna, mbasuubiza ekitagenda kukyuuka nti tugenda kutuukiriza omulimu gwaffe ogutuweebwa Ssemateeka ogwokutegeka akalulu akamazima n’obwenkanya okutumbula Demokulasiya mu Ggwanga. Nze ne ttiimu yange tugenda kukola kyonna ekisoboka okutegeka akalulu […]
Emotoka ya Gavumenti etomodde emotoka y’omubaka Kimosho
Omubaka Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM akiikirira Kazo Constituency, mu Disitulikiti ye Kazo nga ye Ssentebe w’Akakiiko ka Palamenti aka Physical Infrastructure Dan Atwijukire Kimosho; “Emotoka ya Gavumenti nnamba UG 4229C etomedde eyange mu jam nga etaddeko n’obugombe n’oluvannyuma mu malala amanyi nebasimbula nebagenda. Amalala g’abakozi ba Gavumenti ku nguudo zaffe galina okunogerwa […]
Abalondebwa ku Kakiiko k’ebyokulonda bakubye ebirayiro
Ssentebe w’Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission Uganda Omulamuzi Simon Byabakama, omumyuuka we Hajati Aisha Lubega balayiziddwa ku kisanja kyaabwe ekyokubiri olunaku olwaleero. Bammemba abalala okuli eyali omubaka wa Kajara County (Ntungamo District) Stephen Tashobya, Omusomesa wa Makerere University owa Political Science and Public Administration, Dr Sallie Simba Kayunga, eyaliko Omubaka wa Kioga County […]
Ssenkulu wa URA akyaddeko embuga
Ssenkulu wa URA, Omuk. John Musinguzi n’abamu ku baakola nabo batukyaliddeko olwaleero Twogedde ku nsonga ez’enjawulo era batutegeezeza nti eby’okuggya omusolo ku luwalo si nteekateeka yaabwe n’akatono, era nabo baleese oluwalo. Tubeebaza olw’okukolagana n’Obwakabaka era tubasabye okwongera okuteekawo emisomo eri abantu okumanya emigaso gy’okuwa emisolo, naffe tujja kubakwasizaako.
Obwakabaka butenderezza emirimu gyomugenzi Oweek. Hajji Sseguya
Obwakabaka butenderezza emirimu gy’omugenzi Oweek Hajji Ibrahim Sseguya. Obubaka bw’obwakabaka bwetikiddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, mu kusaalira omugenzi e swallah esembayo ku muzikiti e Kibuli, naategeeza nga omugenzi bwabadde omujjumbize, omuwulirize, asengeka ensonga nga tannaba kuzanja mu lukiiko lwa Buganda, ate era agunjudde abaana omuli ne muwala we Rehma Nayiga memba ku bboodi ya Buganda […]
Abasuubuzi 4 batiddwa mu Disitulikiti y’eb Amudat
Kitalo! Abantu 4 nga bano basuubuzi ba nte okuva mu Disitulikiti y’e Mbale bakubiddwa amasasi agabatiddewo olunaku lw’eggulo abatamanyangamba abatanategeerekeka nga babakubidde mu Disitulikiti y’e Amudat ku luguudo lw’e Lemusui ku kyalo Akonguyo. Bano 4 babadde batambulira mu motoka ekika kya Toyota Harrier nnamba UBP601Q. Okusinziira ku mwogezi wa Uganda Police Force ow’ettundutundu ly’e Moroto/ASTU […]
Hon. Aber yetondedde UPDF olwokwambala ekyambalo era tumusonyiye – Brig. Kulayigye
Omwogezi w’eggye lya UPDF Brig. Gen. Felix Kulayigye avuddeyo ku ky’Omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Kitgum eyalabiddwa mu bifaananyi ngayambadde ekyambalo ky’amaggye; “Twakutte omusirikale eyamwazise ekyambalo Hon. Lillian Aber. Omubaka ono yetondedde UPDF, era netumusonyiwa. Ekyabawagizi ba National Unity Platform tebavangayo kutwetondera, nabwekityo twabalekera amateeka gabalamule.”