Omubaka Kagabo (NUP) yetabye mu nsisikano yakabondo ka NRM ne Pulezidenti Museveni

Mukole enguudo Bannamityana babawa omusolo mungi – Babaka

Abamu ku Babaka ba Palamenti abakiikirira Disitulikiti y’e Mityana nga Bannakibiina kya National Unity Platform okuli; Omubaka Omukyala owa Disitulikiti Hon. Hon. Joyce Bagala Ntwatwa, MP Zaake Francis Butebi – Mityana Municipality ne Hon. Kalwanga David Lukyamuzi owa Busujju County olunaku lw’eggulo balambudde enguudo mu Disitulikiti eno okulaba embeera mweziri bwebatyo nebavaayo nebategeeza nga bwebatagenda […]

Lumu okunyigirizibwa kwetuyitamu kujja kukoma – Bobi Wine

Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Munaffe Muwanga Owen, Councilor wa LC3 akiikirira Nabaziza-Kyengera eyawambibwa mu Lubigi ku lwokutaano lwa wiiki ewedde n’okutuusa olwaleero talabikanga era nga luno lwe lunaku 8. Yawambibwa abasajja abaali batambulira mu motoka nnamba UAL119V nga babagalidde emmundu bweyali adda awaka ngava ku mukolo kwetwalagira Documentary […]

Big Eye abuuza omusolo ogusasulwa Bannayuganda gyegulaga

Big Eye StarBoss avuddeyo; “Eggwanga lituuse mu mbeera nti kati Eddwaliro omuntu alina kulibanja muntu ssekinoomu eyakeera neyekolera ssente ze, sso ssi Gavumenti gyetuwa emisolo! Emisolo gyetuwa giraga wa?”

Aba Allied Health Professionals’ Council bakoze ekikwekweto e Wakiso

Abakwasisa amateeka okuva mu Allied Health Professionals’ Council mu Disitulikiti y’e Wakiso bakoze ekikwekweto ku malwaliro agakola omulimu gwokujanjaba abantu nga tegalina layisinsi. Abasawo abawerako abatalina bisaanyizo bakwatiddwa mu kikwekweto kino.

Abafamire ya Cecilia Ogwal baleese muwala we okumuddira mu bigere

Abafamire y’omugenzi Cecilia Barbara Atim Ogwal baleese muwala we, Rosemary Alwoc Ogwal okudda mu bigere bye, ng’omubaka omukyala owa Disitulikiti ye Dokolo wadde ono abadde awangaalira Bungereza naye bagamba nti asobola bulungi okutuukiriza ebiruubirirwa bya Maama we. Bano bagamba nti ono bamuyitiddemu dda ku bizibu by’ kitundu era mwetegefu okukolera abantu. Wabula era bategeezezza nti […]

UNRA epakuse okukuba oluguudo Pulezidenti lweyayogeddeko ebiraka – Ofwono Opondo

Omwogezi wa Gavumenti Ofwono Opondo avuudeyo ku mukutu gwa X; “Oluvannyuma lwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okuvaayo neyemulugunya ku X ngayagala bamunyonyole lwaki oluguudo lwa Mukono-Kisoga-Nkokonjeru-Jinja olwatongozebwa mu 2016/17 lwonooneka ku sipiidi etagambika. Uganda National Roads Authority – UNRA edduse misinde okuziba ebinnya ku luguudo lwa kiromita 68.”

Ebigambo ebyogeddwa Hon. Macho bisimuulwe – Sipiika Tayebwa

Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Rt. Hon. Thomas Tayebwa alagidde Clerk wa Palamenti okusimuula mu Hansard ebigambo ebyogeddwa Omubaka wa Busia Municipality Geoffrey Macho ngalumiriza ekibiina kya National Unity Platform okusosola mu mawanga nga agamba nti mu bantu bekyakalonda okujjuza ebifo ku bukiiko bwa Palamenti obwoludda oluvuganya abenjawulo abasingako bava mu Buganda.

Sibuli ssente eziweebwa State House ne Office of the President nti ziriibwa Pulezidenti Museveni – Minisita Musasizi

Minisita Omubeezi avunaanyizibwa ku by’Ensimbi Henry Musasizi, avuddeyo nasambajja ebyayogeddwa Ababaka nti Pulezidenti alina abakozi 1,757 n’emotoka 666 nga bino byonna bisaasanyizibwako ssente z’omuwi w’omusolo mpitirivu. Ono agamba nti sibuli nsimbi eziweebwa State House Uganda ne offiisi ya Pulezidenti nti ziriibwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ng’omuntu.

Omu ku bagambibwa okubba ssente okuva mu maka g’omuwanika wa NRM akwatiddwa

Uganda Police Force ekutte omuvuzi wa Booda Booda, Ivan Lukungu 25, ateeberezebwa okwenyigira mu bubbi bwa ssente eziwerera ddala obuwumbi 2 n’obukadde 200 nga zino zabbibwa mu maka g’omuwanika w’ekibiina kya National Resistance Movement – NRM, Barbara Nekesa Oundo e Muyenga mu December w’omwaka oguwedde ng’ennaku z’omwezi 15. Ono yasangiddwa mu kibuga ky’e Masaka nga […]