Abakedde okwekalakaasa olwa EACOP bayooleddwa
Waliwo ekibinja ky’Abavubuka nga 15 abakwatiddwa Uganda Police Force mu Kampala bano nga bagamba nti balwanirira butonde bwa Nsi nga begattira mu “Students Against Eacop Uganda” Movement, nga babadde bekalakaasa nga bawakanya East African Crude Oil Pipeline (Eacop) mu maaso ga Palamenti. Bya Kamali James #ffemmwemmweffe
Zaake bamukulisizza ebikonde bya Akol
Banakibiina ki National Unity Platform mu Disitulikiti y’e Mityana n’ebitundu ebirinaanyeewo bakedde mu maka g’Omubaka MP Zaake Francis Butebi okumukulisaayo mu Ddwaliro oluvannyuma lwa Mubaka munne Anthony Akol okumukuba ebikonde ebyamutuusa ku kitanda. Bamutonodde ebirabo ebyanjawulo ku mulolo gwokwebaza Katonda ogubadde mu maka ge e Buswabulongo mu Mityana. Bya Jospeh Balikuddembe #ffemmwemmweffe
Abantu abenjawulo bakyalidde ku mubaka Malende
Abantu abenjawulo batuuseeko mu Ddwaliro e Nsambya okukyalira ku Mubaka omukyala owa Kampala Shamim Malende ali mu kujanjabwa oluvannyuma lwokulumizibwa mu kavuvungano akaliiwo mu Palamenti wiiki eno bweyasikasikanyizibwa abagambibwa okubeera abebyokwerinda. #ffemmwemmweffe
Mwenyigire mu byobufuzi bwemuba mwagala okukyuusa Eggwanga lyammwe – Bobi Wine
Olunaku olwaleero nga bwerubadde mu bifaananyi Bannakibiina kya National Unity Platform nga batalaaga Disitulikiti ye Soroti. Omukulembeze wa NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine akiikidde Uganda Police Force gyagambye nti ebasindirizza nebagoba ku nguudo mwasanjala nebayisa eya mu byalo nti wabula kino tekirobedde bawagizi baabwe kubeyungako. #ffemmwemmweffe
Mwongere okulumya abatulinako ensaalwa – Minisita Joseph Kawuki
Minisita Joseph Kawuki Bwabadde alambika abaami ba Kabaka abaggya wamu n’abantu abeetabye mu ttabamiruka w’amaserengeta ga Africa Cape Town, Oweek. Joseph Kawuki agambye nti bangi abalaba ebintu Buganda byekola nebasalawo okubyogerera amafukuule n’ekigendererwa ekyokusuula Buganda, bano abasekeredde n’agamba nti omukisa gujjira yetegese era bwotuuulira nnamungi w’omuntu eyetabye mu ttabamiruka ono kabonero akalaga nti Buganda lwazi. […]
Zaake alina okunetondera kuba muto ku nze – Hon. Akol
Omubaka akiikirira Kilak North Anthony Akol; “Ndi muntumulamu nnyo naye bwonumbagana obeera nga alumbye enjovu. Kyekintu kyekimu ekyatuuka ku Odonga Otto bweyansamba era kyekyatuuse nekwono omusajja eyabadde agezaako okunsitula n’okunsindika. Amazima nsuubira MP Zaake Francis Butebi okuvaayo anetondere kuba muto ku nze. Mu buwangwa bwaffe omuntu omukulu bwaba atudde olina okumuwa ekitiibwa.” #ffemmwemmweffe
Abalonzi ba Zaake baneebazizza okumutimpula – Hon. Akol
Omubaka akiikirira Kilak North Anthony Akol avuddeyo neyewuunya engeri Omubaka Munnakibiina kya National Unity Platform akiikirira Mityana Minicipality Zaake Butebi gyeyatuuseemu okuweebwa ekitanda mu Ddwaliro e Nsambya ngagamba nti oluvannyuma lwakavuvuŋŋano akaliiwo mu Palamenti. Akol agamba nti yaleka Zaake ayimiridde era nga abuukabuuka wabula alowooza nti wandiba nga waliwo abantu abakozesa akakisa ako nebatuusa ku […]
Eyaliisa omwana obubi bamusibye emyaka 35
Namwanje Stella 33 ngono yeyaliisa omwana empita mbi ssaako n’okumunyweesa omusulo eyalabikira mu katambi, Omulamuzi wa Kkooti Ento e Masaka Aloysius Natwijuka Baryeza amuwadde ekibonerezo kyakusibwa emyaka 35. Omulamuzi ategeezezza nti ono aweereddwa ekibonerezo ekikakali asobole okubeera ekyokulabirako. #ffemmwemmweffe
Abasomesa 2 basimbiddwa mwaka lwa kubba bigezo bya P7
Omulamuzi w’Eddaala erisooka owa Kkooti y’e Kira olunaku olwaleero asindise Abasomesa 2, Albert Pabeku ne Vincent Muheki mu kkomera ku bigambibwa nti bakirizza okusangibwa n’ebigezo by’ekibiina ekyomusanvu ebyomwaka 2024. Bano abawadde ekibonerezo kyakusibwa omwaka 1 n’emyezi 2 oba okusasula engasi ya bukadde 5. Bano babadde ba mmemba ku mukutu gwa WhatsApp ogwatuumiddwa “Final Cake 2024.” […]