Abasirikale ba Poliisi 4 bagobeddwa lwakubba emitwalo 3 egya ddoola

UCDA eyagala obuwumbi 13 ebweyambise okuyigiriza abantu okunywa kaawa

Uganda Coffee Development Authority (UCDA) esaba obuwumbi bw’ensimbi 13.952 obwenyongereza bukozesebwe mu bintu ebirala ebyomugaso ebitateekebwamu nsimbi okuli; akawumbi 1.566 okutumbula emmwaanyi ya Uganda mu Ggwanga lya China, akawumbi 1.66Bn okutumbula emmwaanyi ya Uganda mu Middle East ne Maghreb, n’endala akawumbi 1.2 okuzimba coffee hub e Kyambogo okuyingiriza Bannayuganda okunywa kaawa. Akakiiko ka Palamenti kewuunyizza […]

UWEC eyagala obuwumbi 10 okuzaalisa empologoma

Uganda Wildlife Conservation Education Centre (UWEC) eyagala obuwumbi 10 mu mbalirira y’omwaka 2024/25 okuzaalisa empologoma okusobola okwongera ku bungi bwazo mu Ggwanga. UWEC egamba nti zakendera okuva ku 460 mu 2022 nga kati ziri nga 320, nga bagamba nti kino kivudde kulwanira butonde wakati w’abantu n’ebisolo byomunsiko.

Kkooti eyisizza ekiragiro ekikwata Molly Katanga

Omulamuzi wa Kkooti ya Nakawa Elias Kakooza azzeemu nayisa ekibbaluwa kibakuntumya ekirala eri Molly Katanga oluvannyuma lwokulemererwa okulabakiko mu Kkooti emirundi egiwerako ku musango gwokuttemula bba Katanga. Omulamuzi alagidde Uganda Police Force okukwata Molly Katanga obutassukka nga 12/Feb/2024 nategeeza nti ebiwandiiko bye Ddwaliro ebireeteddwa Bannamateeka be tebimatiza. Kakooza ategeezezza nti Molly Katanga nebwaba mulwadde Kkooti […]

Anyigirizibwa noyo ayita mu kaseera akazibu ddukira eri Mukama – Bobi Wine

Omukulembeze wa National Unity Platform Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine olunaku lweggulo yegasse ku bakirizza e Jinja Karoli mu Kawempe mu misa ku makya. Yeebazizza nnyo Rev. Father Charles Kimbowa eyamwanirizza wamu n’okumuwa emikisa wamu n’abakirizza abamwanirizza. Kyagulanyi agamba nti wakati mu kusoomoozebwa n’okuniyigirizibwa ekifo ekituufu gyolina okuddukira okufuna okukakanyizibwa ebeera nnyumba ya […]

Omubiri gwa Hon. Ogwal gutwaliddwa mu Palamenti

Omubiri gw’abadde omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Dokolo, Cecilia Barbara Atim Ogwal gutuusiddwa ku Palamenti enkya yaleero okusobozesa Ababaka okumukubako eriiso evvannyuma n’okusiima emirimu gyakoledde Eggwanga. Wagenda kubaawo olutuula lwa Palamenti olw’enjawulo olunaku lwaleero olusuubirwa okwetabwamu n’omukulembeze w’Eggwanga Yoweri Kaguta Museveni.

Hon. Sseggona yawaddeyo offiisi mu butongole eri Hon. Muwanga

Hon. Medard Sseggona (Busiro East) yakwasizza mu butongole offiisi eri Ssentebe wa PAC (Central) omuggya, Hon. Muwanga Kivumbi (Butambala County). Hon. Kivumbi yakkaatirizza omugaso gwokweteekateeka wamu n’okwanukula ebibuuzo byonna ebibaawo mu budde n’okukola Alipoota z’Obukiiko.

Katikkiro alambudde amasiro g’e Kasubi

Katikkiro Charles Peter Mayiga; “Nnambudde omulimu ogukolebwa ku Masiro e Kasubi, era kati ebitundu nga 90 ku 100 tubimaliriza ku mulimu guno. Buli lwetambula omulimu guno, enjawulo erabika era ebisigaddeyo bitono nnyo, naddala munda, essaawa yonna omulimu tugenda kuguggyako engalo, Amasiro gaggulwewo.”

Owa UPDF akwatiddwa lwakweyita kyatali

Eggye lya UPDF livuddeyo neritegeeza nga bwerikutte musajja waalyo Private Kyambadde ngono abadde yerinyisa eddaala neyefuula Major. Ono yakwatiddwa ngalindiridde kutandika kuwozesebwa annyonyole lwaki yefuula kyatali.

Pulezidenti Museveni asisinkanye Pulezidenti w’e Ghana

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yevumbye akafubo ne Pulezidenti wa Ghana H.E Nana Addo Dankwa Akufo-Addo ku Speke Resort e Munyonyo nebogerezeganya ku nsonga zenkolagana wakati w’Amawanga gombiriri. #NAMSummitUg2024