Ebyokuziika kwa Hon. Cecilia buvunaanyizibwa bwa Palamenti
Palamenti evuddeyo netegeeza nti ebyokuziika omugenzi Cecilia Barbara Ogwal bwebuli obuvunaanyizibwa bwayo so ssi kibiina kya Forum for Democratic Change. Palamenti esabye abantu obutagoberera pulogulaamu efulumiziddwa FDC ku mikutu gya social media. Sipiika wa Palamenti n’abafamire bakuvaayo bafulumye enteekateeka entuufu ezokuziika. Palamenti ekubirizza FDC obutayisa mu mugenzi maaso nga bateeka katemba mu lugendo lwe olusembayo […]
Pulezidenti Museveni kati ye Ssentebe w’omukago gwa NAM
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni olunaku olwaleero akwasiddwa ekifo ky’obwa Ssentebe bw’omukago gwa Non-Aligned Movement – NAM era nga ekifo kino wakukibeeramu okumala emyaka 3. Pulezidenti Museveni adidde Pulezidenti wa Azerbaijan Ilham Aliye nga akiikiriddwa H.E Jeyhun Aziz Ogu Bayramov, Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ebweru.
Ababbi 3 batiddwa e Ndejje
Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi y’e Katwe bwetandise okunoonyereza ku bubbi n’ettemu ebyabaddewo nya 18-January-2024 ku ssaawa kumi nabbiri ezolweggulo e Ndejje Kibutika mu Makindye Ssabagabo Municipality, mu Disitulikiti y’e Wakiso. Okusinziira ku kunoonyereza okwakakolebwa kulaga nti abakozi ba Shana Distributors Ltd, Kikuubo, okuli; […]
EFC Uganda Limited eggaddwawo
Bank of Uganda evuddeyo netegeeza nga bweggaddewo EFC Uganda Limited – MDI era negiggyako ne layisinsi okugisobozesa okuggalawo. Bank of Uganda ng’ekozesa obuyinza obugiweebwa ssemateeka mu kawayiro 72(1) ne 12 (1) (d) ne (g) obwa Microfinance Deposit-taking Institutions (MDI) Act, 2003 olunaku olwaleero nga 19-January-2024 egaddewo EFC Uganda Limited era negiggyako ne layisinsi y’okyuwola n’okutereka […]
Omusomesa eyabadde agenze okukekevvula omuyizi bamusanze n’obupiira bwa kiss
Abasirikale ba Uganda Police Force basanze obupiira bu kkalimpitawa ekika kya Kiss ne nnusu lukumi mu nsawo z’omusomesa John Senfuma eyabadde asendasenda omuyizi omuwala okwegatta naye. Ssenfuma bamukwatidde mu waabwe wa muwala mu nnyumba. Bwana Ssenfuma John kigambibwa nti musomesa ku ssomero lya Hillside College Mityana kigambibwa nti bazadde b’omuwala bakimanyaako nti asendasenda muwala waabwe […]
UNRA eguddewo flyover ya Clock Tower
Flyover ewerezza ddala mita 584 ku Clock Tower Flyover eguddwawo okutandika okukozesebwa ebidduka okuva ku Jinja Road/Mukwano okudda e Kibuye/Entebe Road n’okudda. Piki piki, abobuggaali, abatambuza ebigere wamu n’emotoka enzito ezisussa ttani 7 n’ekitundu tezikirizibwa ku lutindo luno. #UNRAworks
Omusomesa eyabadde ayagala okweganzika ku muyizi akwatiddwa
Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nti Poliisi y’e Kanyanya bweyakutte Omusomesa Kato John Ssefuma 40 nga musomesa mu ssomero e Mityana wabula ngabeera mu Disitulikiti y’e Mukono kubigambibwa nti yabadde agezaako okusendasenda omuyizi owemyaka 15 mu ssomero lyerimu gyasomesa okwegatta naye. Sheilah 26, omutuuze wa Erisa […]
Muliranwa asse Maama n’abaana be 3 e Kamwenge
Abatuuze ku kyalo Rwenchwera, mu Nkoma Katalyeba Town Council mu Disitulikiti y’e Kamwenge bakeeredde mu kiyongobero oluvannyuma lwa Maama n’abaana be 3 okuttibwa muliranwa waabwe. Abatuuze bavudde mu mbeera nebatwalira amateeka mu ngalo okukkakana nga basse Sam Asiimwe agambibwa okutta Maama n’abaana be.
Tulina kukwatira wamu okusigukulula Museveni – Erias Lukwago
Pulezidenti wa Forum for Democratic Change ow’ekiwayi ky’e Katonga Erias Lukwago avuddeyo navumirira Bannabyabufuzi abavaayo nebalumba bannaabwe abali ku ludda oluvuganya Gavumenti, nategeeza nti kino tekibatwala mu maaso nakatono wabula ate bonna nga bwebali ku ludda oluvuganya balina kwegatta basobole okusindiikiriza Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ave mu ntebe kubanga gwemulamwa gwabwe omukulu.