Waliwo ekibinja ekikwata piki piki mu kibuga lwabutagondera biragiro byateereddwawo olwa NAM
Waliwo ekibinja ky’abasajja abalabiddwako mu Kampala nga bakwata booda booda wabula nga bano tebalina yunifoomu ya kitongole kyonna kikwasisa mateeka gyebambadde. Bano bakozesa akakodyo kokupakinga ku pavement banaabwe abalala abatakimanyi bwebabegattako nga bakwata piki piki zaabwe. Bano balabiddwako okuliraana Kingdom Kampala nga bakwata piki piki. Kigambibwa nti bano bakwata piki piki ezitagoberera biragiro byateereddwawo olwolukiiko […]
Abalondeddwa mu bifo ebyenjawulo mu EC basunsuddwa olwaleero
Akakiiko ka Palamenti akasunsula abantu ababa balondeddwa Pulezidenti ku bifo ebyanjawulo aka Appointments Committee, akatudde olwaleeroi nga kakubiriziddwa Sipiika Nnaalongo Anitah Among kasusundde abantu abalondeddwa Pulezidenti okujjuza Akakiiko k’eyokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission Uganda okuli; Omulamuzi Simon Byamukama (Chairperson), Hajjati Aisha Lubega (Deputy), James Emorut, Stephen Tashobya, Anthony Okello, Simba Ssali ne Caroline Bainamaryo. […]
Embeera mu Ggwanga essusse okubeera embi – Winnie Kiiza
Bannabyabufuzi okuva mu bibiina by’obufuzi ebivuganya Gavumenti eby’enjawulo okuli Forum for Democratic Change, National Unity Platform, ne Alliance for National Transformation (ANT) bafulumizza ekiwandiiko ekyawamu nga bemulugunya ku mbeera eri mu Ggwanga. Okusinzira ku kiwandiiko ekisomeddwa Munnakibiina kya ANT, Hon. Winnie Kiiza bano bagamba nti embeera y’obunkenke esusse mu Ggwanga nga buli lukya abantu bawambibwa […]
Poliisi ekutte abantu 3 abagambibwa okutta Dr. Abiriga
Omwogezi wa Uganda Police Force SCP Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga ekitongole kya Poliisi ekikola ku kunoonyereza nga kikolera wamu ne Poliisi mu bitundu bya Elgon, Sipi, Albertine wamu ne Masindi kwogatta ne Flying Squad bwebakutte omuntu owookubiri ngono asuubirwa okuba omu ku basasulwa mukyala womugenzi Cherotic Betty okutta bba eyali akulira ebyobulamu mu Disitulikiti […]
Uganda Airlines eganyuddwa mu lukungaana lwa NAM
Jennifer Bamuturaki ngono yakulira kkampuni y’ennyonyi y’eggwanga eya Uganda Airlines avuddeyo natendereza eky’Abakungu abazze okwetaba mu lukungaana lwa NAM olwokusalawo okusaabalira mu nnyonyi za Uganda Airlines nga wetwogerera bakaweebwa emirimu gya ngendo 13 nga zino za kusaabaza bakungu okubaggya mu bitundu eby’enjawulo okubatuusa ku kisaawe ky’enyonyi ekya Entebbe International Airport. Bamuturaki agamba kino kigenda kwongera […]
Poliisi etandise okukwata abanyakula amasimu mu jam
Omumyuuka w’omwogezi wa Uganda Police Force eya Kampala Metropolitan Police Luke Oweyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi bweyanukudde omulanga gw’abantu ku banyakula amasimu mu bitundu bya Lower Nsooba, Upper Nsooba, UEB, Kagugube, n’ebitundu ebirinaanyeewo ngera Poliisi y’e Wandegeya etandise ebikwekweto n’ekigendererwa kyokufuuza bakyalakimpadde bano. Poliisi egamba nti yakakwata abavubuka 7 nga abamu ku bano bakwatibwa ku […]
Abayogerera eddagala erigema COVID-19 ebikikinike mugenda kukwatibwa
Ministry of Health- Uganda evuddeyo netegeeza nti egenda kuvunaana abantu abo bonna abavaayo neboogerera obubi eddagala erigema ekirwadde kya COVID-19 kyebagamba nti kyaviirako abantu obutajjumbira kwegemesa eddagala nerituuka nokwonoonekera mu tterekero. Daniel Kyebayinze, Dirrecor Public Health bwabadde ayanukula ebyafulumira mu alipoota ya Ssaababalirizi w’ebitabo bya Gavumenti eyategeeza nti eddagala erigema COVID-19 lya buwumbi 28 lyakwookebwa […]
Atemyetemye omwana wa muganda we namuteeka mu sseppiti amufumbe
Uganda Police Force mu Disitulikiti y’e Ntungamo etandise okunoonyereza ku ttemu eryakoleddwa ku kyalo Kyanyanzira, mu Muluka gw’e Nyanga, mu Gombolola y’e Rubare. Okusinziira ku ssentebe w’ekyalo Basiima Stephen 63, agamba nti omwana ow’emyaka 11 Ariho Patrick omuyizi ku ssomero lya Kiyombero Primary School e Kyanyanzira nga 14/01/2024 ku ssaawa nga ttaano ezookumakya yatemeddwatemeddwa Nelson […]
Buli omu eyenyigira mukukola firimu yaffe weebale nnyo – Bobi Wine
Documentary Film ya #BobiWineThePeoplesPresident ewangudde engule ya Audience Choice Award mu Cinema Eye Honors 2024 mu New York. Hon. Kyagulanyi aka Bobi Wine yeebazizza abo bonna abenyigira kukola firimu eno okuva mu 2017. Firimu eno yali eraga engeri ono nabawagizi be gyebatulugunyizibwamu abebyokwerinda.