Mukyala Nakyobe asisinkanye abagenda okuvuga aba NAM
Head of Public Service era nga ye muteesiteesi omukulu ow’olukuŋŋaana lwa NAM, Lucy Nakyobe enkya yaleero asisinkanye ba ddereeva abatendekeddwa okuvuga abagenyi abagenda okwetaba mu lukuŋŋaana lwa NAM ne G77+ China ezigenda okubeerawo mu Kampala. #namsummitug2024
Abaaliko ba Ssaabaminisita ne vice president boolekedde okwefunira emotoka empya
Minisitule ya Public Service evuddeyo netegeeza nti yetaaga obuwumbi 7 mu obukadde 200 okugula emotoka empya kapyata ezaabaliko abakulembeze okuli; Edward Ssekandi ne Bassaabaminisita Ruhakana Rugunda ne Amama Mbabazi nga akasiimo gyebali nga bwekyakolebwa ku baaliko ba Sipiika.
Nnaabagereka akyalidde ku Basaakaate
Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda atuuse ku ssomero lya Hormisdallen e Gayaza okulambula Abasaakaate wamu n’okubaako byabayigiriza ebinaabayamba mu ntambuza y’obulamu bwabwe. Ayaniriziddwa Mw. Mukalazi Kizito Hormisdas omutandisi w’essomero lino.
Mao ayagala enkolagana ya DP ne NRM ezzibwe buggya
Ssenkaggale w’ekibiina kya Democratic Party Uganda era nga ye Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Ssemateeka Norbert Mao akawangamudde nti ayagala enkolagana y’ekibiina ki DP gyekirina ne Gavumenti ya National Resistance Movement – NRM ezzibwe buggya mu kisanja ky’ebyobufuzi ekiddako ekya 2026-2031. Mao agamba enkola eno yakuyambako nnyo ekibiina kya DP okukola obulungi mu kalulu aka […]
Poliisi ekutte ababbi b’emotoka e Mukono n’e Masaka
Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo nategeeza ng’ekitongole kya Poliisi ekirwanyisa obunyazi obw’emmundu ekya Flying Squad Unit e Masaka ne Mukono, kyakoze ebikwekweto 3 ebyenjawulo ku babbi b’emotoka okukakkana nga emotoka 5 ne piki piki 1 bizuuliddwa wamu ne nnamba z’emotoka eziwerako okuva na bagambibwa okubeera ababbi. Ababbi 3 abagambibwa okubeera abattabbu bebakwatiddwa […]
Uganda Airlines eguze bbaasi ya kayoola
Kiira Motors etongozza bbaasi empya gyetuumye Uganda Airlines coach, bwabadde annyonyola oluvannyuma lwokugyekebejja okugenda mu maaso wali mu Luweero Industries e Nakasongola, CEO wa Kiira Motors Paul Musasizi ategeezezza nti Uganda Airlines ye kkasitoma asoose okubaggulako bbaasi ya Kayoola.
LOP omuggya Ssenyonyi akwasiddwa offiisi mu butongole
Hon. Joel Ssenyonyi akwasiddwa woofiisi y’akulira oludda oluwabula Gavumenti mu butongole okuva ewa Hon. Mathias Mpuuga Nsamba eyaweereddwa obuvunaanyizibwa obulala. Mu bimukwasiddwa mulimu fayiro erambika emirimu bwegibadde gitambula kwalina okutandikira.
Maama Nnaabagereka aguddewo ekizimbe ekimubuddwamu ku Hormisdallen
Maama Nnaabagereka Sylvia Nagginda agguddewo ekizimbe galikwoleka ku ssomero lya Hormisdallen School e Gayaza ekibuddwamu erinnya lye. Ekizimbe kino kya myaliiro esatu nga kyakusomeramu. Essomero lya Hormisdallen lyelyafunye omukisa okutegeka Ekisaakaate ky’omulundi guno. Nnaabagereka gyasiibye ng’alambula Abasaakaate okulaba byebayize.
Ntuuse kikeerezi lwabutaba na motoka yabwa Minisita – Hon. Mwebesa
Minisita avunaanyizibwa ku byobusuubuzi, Francis Mwebesa yetondedde akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku byobusuubuzi olwokutuuka ekikeerezi nategeeza nti obuzibu buvudde kukuba nti emotoka ye eya Gavumenti yamuggibwako netwalibwa oukuvaga abagenyi abajja mu lukungaana lwa NAM nafundikira nga akwatiddwa akalippagano k’ebidduka.