Ssentebe w’akakiiko ka EC ne banne bavudde mu offiisi oluvannyuma lw’ekisanja kyabwe okuggwako
Ssentebe w’Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission Uganda Omulamuzi Simon Byabakama wamu n’akakiiko ke bavudde mu offiisi oluvannyuma lw’ekisanja kyabwe okuggwako nga kati balindiridde Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okulaba oba ng’abongera ekisanja. Omwogezi wa EC Paul Bukenya akakasizza kino wabula nategeeza nti Bannayuganda tebasaanye kweralikirira nti emirimu kya EC gyakuzingama kuba balina Technical Team […]
Eddagala erigema COVID19 lyabuwumbi 28 nomusobyo lyelyayonoonekera mu sitoowa za NMS
Alipoota ya Ssaababalirizi w’ebitabo bya Gavumenti John Muwanga eraga nti eddagala erigema ekirwadde kya COVID-19 eriwerera ddala 5,619,120 nga libarirwamu obuwumbi 28.159, lyaggwako nga likyali mu sitoowa za National Medical Stores, Uganda, so nga lyagulibwa ku ssente ezewolebwa okuva mu Bbanka y’Ensi yonna. Alipoota eraga nti eddagala eddala eryaggwako likyali mu malwaliro okwetoloola eggwanga lyonna […]
Abakozi abempewo 10192 bebazuulibwa ku lukalala lw’abakozi ba Gavumenit
Ssaabalirizi w’ebitabo bya Gavumenti John Muwanga avuddeyo nawa Gavumenti amagezi okufuba okulaba nti ennunula ssente obuwumbi 53 okuva mu bakozi 10,192 abateekebwa ku lukalala lwa Gavumenti kwesasulira emisaala wabula bano nga tebaliiyo kuba bwebaddamu okuwandiisa abakozi bonna mu February 2023, bazuulibwa ngabamu baafa, abalala bawummula nabalala nga badduka ku mirimu.
Sipiika alangiridde Ssenyonyi nga LOP eri Palamenti
Oluvannyuma lw’Omubaka Joel Ssenyonyi okulangirirwa nga akulira Oludda oluwabula Gavumenti omuggya, Ababaka ba National Resistance Movement – NRM bakulembeddemu ababaka abalala okwebaza Hon. Mathias Mpuuga Nsamba emirimu gyakoze emirungi mu kiseera kyamaze nga LOP n’okubeera ekyokulabirako eri abalala. Sipiika Anitah Among asabye Ssenyonyi okutandikira Mpuuga wakomye era namujjukiza bulijjo okumwebuzaangako ngakola emirimu gye nga bwekirambikibwa. […]
Sipiika awakanyizza ekifo ekyaweebwa Zaake, bakuwa byoya byanswa
Sipiika wa Palamenti Anitah Among awakanyizza ekyokulondebwa kw’Omubaka MP Zaake Francis Butebi ku kifo ky’omumyuuka wa Nampala wa Babaka b’Oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti. Sipiika ategeezezza nti ono bamuwa byoya byanswa kuba ekifo kino tekiriiyo mu mateeka ga Palamenti.
Abadde LOP Hon. Mpuuga akwasizza LOP omuggwa Hon. Ssenyonyi offiisi
Abadde akulira Oludda oluwabula Gavumenti Hon. Mathias Mpuuga Nsamba Munnakibiina kya National Unity Platform olunaku olwaleero awaddeyo offiisi mu butongole nasibirira entanda amudidde mu bigeye Hon. Joel Ssenyonyi; “Olwaleero mpaddeyo offiisi ya LOP mu Palamenti mu butongole. Nebaza abantu bomu Nyendo-Mukungwe Division abanesiga okubakiikirira ekyasobozesa ekibiina kyange ekya NUP okulaba obusoobozi bwange nensobola okuweereza nga […]
Poliisi ekutte Namwandu n’abaana bagiyambeko mukunoonyereza kwokuttibwa kwa Dr. Abiriga
Uganda Police Force e Masindi ekutte abantu 4 okuli omukyala w’omugenzi, omukozi w’awaka n’abaana b’abadde akola ng’akulira eby’obulamu mu Disitulikiti ye Masindi, Dr. Gino Abiriga eyatemuddwa olunaku lw’eggulo bagiyambeko mu kunoonyereza ku nfa ye. Okusinziira ku kunoonyereza okwakakolebwa, kiteeberezebwa nti okutemulwa kwa Dr. Abiriga kwandiba nga kwavudde ku nkayana za bya bugagga.
Obukadde 600 bwetusaba Baminisita ba Kampala bebazisaka – KCCA
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku Kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority – KCCA kivuddeyo nekitangaaza ku bigambibwa nti ky’asabye Palamenti obukadde 600 okutegeka olukungaana lw’okujjukira ekirwadde kya Covid-19 mwebagenda okujjukirira abakozi baabwe ne Bannayuganda abaafa ekirwadde ekyo. Okusinzira ku kiwandiko ekifulumiziddwa KCCA, ssente zebagenda okukozesa bbaaziggye mu bannamukago baabwe okuva mu Ggwanga lya Canada nga nayo […]
Ssente twazoononera mu kunoonya abawagizi ba NUP abagambibwa okubuzibwawo abataliiyo – Wangadya
Ssentebe w’Akakiiko akalera eddembe lyobuntu aka Uganda Human Rights Commission – UHRC Mariam Wangadya avuddeyo nategeeza nti ezimu ku nsimbi ezaweebwa Akakiiko bazikozesa okunoonya abawagizi ba National Unity Platform abagambibwa okubuzibwawo so nga tekyali kituufu. Wangadya, asabye Palamenti ebongere obuwumbi 3.756 zibayambe ku kwongera ku misaala gyabakozi wamu n’ensako nategeeza nti bafuna emitwalo 60 buli […]