Eyakyuusiddwa ensigo asiibuddwa okuva e Mulago
Eddwaliro ekkulu erya Mulago National Referral Hospital olunaku olwaleero lisiibudde omuntu eyasoose okukyuusibwa ebsingo mu Uganda. Kigambibwa nti ono abadde ku dialysis okumala emyaka 2 era nga yakyuusiddwa ensingo nga 20-December-2023.
Minisita Nabakooba awadde ab’e Agago ebyapa
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga ettaka, amayumba n’okuteekerateekera ebibuga Judith Nabakooba nga ali wamu ne Ssaabalamuzi Owiny Dollo, Omubaka Beatrice Akello, Ssentebe wa LC5 ne RDC wa Agago olunaku lweggulo bakwasizza amaka n’ebika ebissukka mu 1000 ebyapa byettaka kwebawangalira.
Omukuumi wa Bugingo aziikiddwa e Ssembabule
Richard Muhumuza eyafiira mu bulumbaganyi bw’emmundu obwabakolebwako ne Paasita Aloysius Bugingo mu kiro ekyakeesa olwokusatu aziikiddwa ku biggya bya bajjaja be e Ssembabule. Mu bulumbaganyi buno Paasita Bugingo yasobola okusimattuka n’ebisago ebitonotono era nasiibulwa okuva mu ddwaliro e Mulago.
Mita za yaka zakukoma okukola omwaka guno
Minisitule evunaanyizibwa ku byobugagga obw’ensibo wamu namasanyalaze evuddeyo netegeeza nti mita zonna eza yaka zakukoma okukola nga 24-November-2024 oluvannyuma lwa tekinologiya gwezikozesa okuggwako nga Gavumenti egenda kutongoza tekinologiya omuggya.
Ennyonyi namunkanga eya UPDF egudde
Ennyoyni ekika kya namukanga ey’eggye lya UPDF ettuntu lyaleero egudde ku kyalo karugutu-Nyamisigiri, mu Gombolala y’e Kicwamba. Okusinziira kuberabiddeko bagamba nti eno ebadde eyolekera DR Congo ngegudde yakasimbula ku Ssaka Airfield mu Gombolala y’e Kicwamba. Kigambibwa nti nga tenaggwa esoose kutomera kasolya ka nnyumba nga tenakwata muliro neggwawo. Omwogezi wa UPDF Air Force Maj Naboth […]
Pastor Bugingo alumbiddwa abatamanyangamba
Abatamanyangamba abatanategeerekeka mu kiro ekikeesezza olwaleero basindiridde emotoka y’Omusumba w’abalokole Aloysious Bugingo amasasi bwabadde adda awaka okukakana nga ddereeva we gamutiddewo. Bugingo addusiddwa mu Ddwaliro e Mulago gyali mukufuna obujanjabi.
Uganda egiddwa ku lukalala lwa Agoa
Pulezidenti wa America, Joe Biden mu butongole aggye Uganda n’amawanga ga Africa amalala okuli; Central African Republic, Gabon ne Niger ku lukalala lw’ensi ezitunda eby’amaguzi byazo mu ggwanga lya America mu mukago ogumanyiddwa nga AGOA. Ekimu byaleteera Uganda ebizibu kwe kutyoboola eddembe ly’obuntu okuyitiridde ennyo.
Gen. Muhoozi alagidde abebyokwerinda okunoonyereza ku byabawagizi be abakubwa amasasi
Gen. Muhoozi Kainerugaba; “Tusinza Mukama nti omuwagizi waffe owamaanyi omusumba Bugingo yasimattuse okuttibwa ekiro ekiyise bweyabadde avuga ngadda awaka. Njogeddeko naye era ali bulungi. Yafunyeeko ekiwundu kitono ku kibegabega ekya kkono. Mukwano gwe era mmemba w’e kkanisa ye yattiddwa. Nkubiriza abebyokwerinda okukola okunoonyereza mu bwanu abo abakikoze bavunaanibwe. Naye abamenyi b’amateeka bano bebaani? Ba ADF […]
Pulezidenti Museveni bamukoledde ekibumbe e Rushere
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni bamusiimye n’ekibumbe ekyateereddwa mu Rushere Town Council, mu Disitulikiti y’e Kiruhura nga kyakoleddwa UPDF Engineers Brigadde. Ekibumbe kino kabonero akalaga amaanyi geyateeka mukosomesa abantu mu Ankole okulunda ente ezamata, okukomya obulaalo bwokutambula wamu nenkulaakulana eyomuggundu mu balunzi b’ente.