Kabushenga bamusudde ettale ku kifo kya ED KCCA
Robert Kabushenga avuddeyo ku mukutu gwe ogwa X; “Ntegeezeddwa akakiiko akavunaanyizibwa ku kugaba emirimu gya Gavumenti nti situukiriza bisaanyizo bitandikirwako ku kifo kya Ssenkulu w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku Kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority – KCCA. Sirina ddiguli yakubiri, nabwekityo sijja kulabikira ku lukalala lwabo abasunsuddwamu. Nsiima nnyo abo bonna abanjagaliza omulimu guno n’obuwagizi bwammwe.” […]
Ffe twawangudde dda, Trump yaliko mwemumanyi ne sanctions zammwe – Sipiika Among
Sipiika wa Palamenti Anitah Among yavuddeyo olunaku lw’eggulo najaganya olwobuwanguzi bwa Donald Trump ng’omukulembeze wa Amerika addako, nagamba nti obuwanguzi buno bukuggyawo ekkoligo eryamuteekebwako obukulembeze bwa Joe Biden. “Nga tukyateesa wano, kyetaaga tukubaganye ebirowoozo nga tusinziira ku nsonga so ssi byabufuzi. Era njagala okubakakasa, nti teri kutiisatiisa kugenda kungigula ttama. Njakusigala nakaseko ate kati engeri […]
Omubaka Paul Nsubuga ali mu kattu SACCO emubanja
Omubaka wa Palamenti akiikirira Busiro North mu Disitulikiti y’e Wakiso Paul Nsubuga ali mu kattu oluvannyuma lwa Bannakibiina kyobwegassi ekya Kakiri Naddangira Agaliawamu SACCO okuvaayo nebekubira enduulu nga bagamba nti ono yewola ensimbi obukadde 40 okuva mu SACCO yaabwe mu mwaka 2022 neyeyama okuzisasula mu myezi 6 wabula nga kati giweze emyaka 2 bweddu agaanyi […]
Kisaka, Luyimbazi ne Okello bayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti
Omulamuzi wa Kkooti y’e Kasangati akirizza abaali abakulu mu kitongole ekitwala ekibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority – KCCA abagobwa okuli; Dorothy Kisaka, David Luyimbazi, ne Dr Daniel Okello okweyimirirwa ku kakalu ka Kkooti ka bukadde 5 ezobuliwo olwo bbo ababeyimiridde ku bukadde 100 ezitali zabuliwo. Balagiddwa okuwaayo ppaasipooti zaabwe mu Kkooti era nga […]
Poliisi ekutte omukazi eyalabikira mu katambi ngaliisa omwana empitambi
Uganda Police Force mu Disitulikiti y’e Masaka ekutte omukyala ategeerekeseeko erya Namawejje nga kigambibwa nti ono yeyabadde mu katambi akatambuzibwa ku mutimbagano nganywesa omwana wamulirwana we omusulo ssaako n’okumuliisa empitambi. Namawejje yegayiridde asonyiyibwe nga agamba nti naye tamanyi kyamutuuseeko. #ffemmwemmweffe
Bobi Wine eyuguumizza Kisoro
Abakulembeze ba National Unity Platform nga bakulembeddwamu Pulezidenti w’Ekibiina Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine bali mu Disitulikiti y’e Kisoro gyebagenze okunoonyeza akwatidde ekibiina bendera ku kifo ky’omubaka wa Palamenti Zubedi Sultana Salim (Tana) awandiisiddwa olwaleero. #ffemmwemmweffe #PeoplePowerOurPower
Bannakibiina kya FDC 34 abakwatibwa bayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti
International Crimes Division eya Kkooti Enkulu olunaku olwaleero ekirizza Bannakibiina kya Forum for Democratic Change 36 abekiwayi ky’e Katonda abakwatibwa mu Ggwanga lya Kenya nevunaanibwa omusango gwobutujju mu July. Bano nga kuliko Abasajja 34 bayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti ka bukadde 2 ezobuliwo n’okuwaayo ppaasipooti zaabwe ate ababeyimiridde bbo basabiddwa obukadde 50 ezitali zabuliwo. Bya […]
Poliisi ekutte abagambibwa okwenyigira mu kubba piki piki
Omwogezi wa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga Poliisi mu bitundu by’e Katwe bweyakoze ekikwekweto oluvannyuma lwokutemezebwako ku bubbi bwa booda booda wamu n’obutemu obususse. Ekikwekweto kyakoleddwa mu bitundu by’e Nansana ne Wakiso okukakkana nga abantu 7 bakwatiddwa okuli; Kikabi Sufyan (mutuuze w’e Ganda) – Kalyango Edward (Mutuuze w’e Mende) – Kisekka Simon […]
IGP Byakagaba atongozza okukola dduyiro mu Poliisi
Omuduumizi wa Uganda Police Force Inspector General of Police, Abas Byakagaba, olunaku olwaleero atongozza pulogulaamu ya dduyiro ngono agenda kukolebwa buli musirikale wa Poliisi. EKigendererwa kyakulaba nti abasirikale babeera balamu okwewala endwadde eziva ku mugejjo. Batandikidde ku kitbe kya Poliisi e Naguru, Deputy Inspector General of Police, James Ocaya, neba Dayirekita abenjawulo betabye mu kukola […]