Pulezidenti Museveni asisinkanye abasawo abakyuusizza ensigo e Mulago
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yasisinkanye abasawo okuva mu Ddwaliro e Mulago ne banaabwe okuva ebweru w’eggwanga abasobodde okukyuusa ensigo yomuntu okugiteeka mu mulala nga gwemulundi ogwasoose mu Uganda. Steven Mpagi yeyagiddwamu ensingo gyeyawaayo kyeyagalire neteekebwa mu muganda we Mark Maurice Kiyemba, omutuuze we Munyonyo. Okulongoosa kuno kwakoleddwa abasawo abakulembeddwamu Prof. Frank Asiimwe nga bali wamu […]
UPDF egande kutandika okuwandiisa aba LDU – Brig. Kulayigye-
Omwogezi w’eggye lya UPDF Brig. Felix Kulayigye ategeezezza ng’eggye bwerigenda okuwandiisa abasirikale bo ku byalo 1440 okutandika nga 27-December-2023 mu Disitulikiti okuli; Kyenjojo, Kitagwenda, Bunyangabu, Kamwenge, Kyegegwa ne Kasese. Kino kikoleddwa oluvannyuma lwa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni okuyisa ekiragiro kyokuwandiisa aba LDU bayambeko okukuuma abatuuze nga batangira obulumbaganyi obukolebwa aba ADF.
Pulezidenti Museveni enaku enkulu azikutte n’abazzukulu
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yafunyeemu akadde n’abazzukulu ku ffaamu ye e Rwakitura okubasomesa ku buwangwa, famire wamu n’obugagga obwensibo nga bayita mu byobulimi. Oluvannyuma bafunye ekifaananyi ekyawamu ne mukyala we Janet Kataaha Museveni okwo kwossa bawala baabwe, abakoddomi kko n’abazzukulu.
Mukomye ettamiiro – Ssaabalabirizi Kaziimba
Abakulistaayo abakkiriza bakungaanidde mu Lutikko ya All Saints mu Kampala okwetaba mu kusaba kwa Ssekukkulu nga okukulembeddwamu Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, Stephen Kaziimba Mugalu. Ssaabalabirizi Mugalu avumiridde eky’okuggyamu embuto nategeeza nti Ssekukkulu ekwata ku kutumbula bulamu, so si kubusaanyaawo. Ono era abuuliridde Bannayuganda ku kuttamiiro erisukiridde.
Mukomye okusosola mu Bannayuganda – Ssaabasumba Ssemogerere
Ssaabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Paul Ssemogerere; “MU Uganda yaleero tulabe nti obuli bw’enguzi bususse mu offiisi za Gavumenti, obubenje ku nguudo obususe, obutagoberera nfuga y’amateeja, ebisale by’entambula okulinnya mu biseera bya ssekukkulu, abasawo okusaba abalwadde ssente nga tebanabakolako, ebisale byamasomero ebyekalamye, okutunda obubonero mu matendekero wamu n’abantu abali mu makomera nga tebawozesebwa.”
Empaka za Mulimamayuuni cup zakomekerezeddwa
Empaka za Mulimamayuuni Cup ezategekebwa Omubaka akiikirira Mukono County North Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Abdallah mu kaweefube w’okukulaakulanya ebitone kyakomekerezeddwa nga buli ttiimu eyetabyeemu yaweereddwa omujoozi n’emipiira, ttiimu eyawangudde yetwalidde ente. Mu ngeri yemu era Omubaka Ono yaduukiridde abavubuka abavuga booda booda nga bakola ebibiina byabwe mwebatereka ssente, yabawadde piki piki piki empya. […]
Bobi Wine emisa ya ssekukkulu agikwatidde Gayaaza
Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Nze ne famire yange nga tuli wamu ne Hon. Joel Ssenyonyi, Hon. Nkunyingi Muwada wamu n’abakulembeze abalala emisa ya Ssekukkulu tugikwatidde ku Our Lady of good counsel Cathedral e Gayaza. Neebaza nnyo Fr. Makanga, Parish Priest, olwokutwaniriza obulungi ssaako nokwogerako kukunyigirza okuliwo mu Ggwanga.”
Bannaddiini bagaanye okusabira Sobi
Bannaddiini okuva Ekerezia bagaanye okusabira omugenzi Paddy Sserunjogi aka Sobi. Ab’oluganda lwa Sobi bategeezezza nti basabeye Ekerezia y’e Bukunda, Masaka okusabira omwoyo gwa muganda waabwe Sobi eyattibwa nga 18, December wabula Ekerezia nebabategeeza nti babadde tebalina nteekateeka yonna kumusabira. Bbo aboluganda bagamba nti Sobi yabadde alina okusabirwa kuba bingi byakoledde Eggwanga lye yadde yalina byeyakola […]
Poliisi etandise okunoonyereza ku ttemu eryabadde e Bungereza
Bambega ba Uganda Police Force bazzeeyo mu Kinyarwanda ekisangibwa mu Ackright Bwebajja, Kajjansi Town Council, omusirikale wa SFC, Odongo Johnson, weyakubidde abantu 3 amasasi, omu nafiirawo. Okusinziira ku Poliisi akanyoolagano kavudde ku mukazi eyabadde mu bbaala.