Abatuuze e Kamwenge badduse ku kyalo
Abatuuze abawerako bagaddewo amadduuka gaabwe nebaabulira akattawuni ka Kyitehurizi mu Disitulikiti y’e Kamwenge oluvannyuma lwabagambibwa okubeera abayeekera ba ADF okulumba ekitundu kino mu ttumbi nga bukya ku lwokubiri nebatta abantu 10.
Omusirikale wa Poliisi ekubye banne amasasi omu namutta e Kajjansi
Omuserikale wa Uganda Police Force avudde mu mbeera n’akuba banne amasasi okukkakkana ng’omu afiiriddewo ate ababiri nebagendera ku bisago. Ensasagge eno ebadde Wakiso mu ttawuni kkanso y’e Kajjansi mu Kinyarwanda mu Akright Estate, mu kiro ekikeesezza olwaleero. Kigambibwa nti abasirikale bano baafunyemu obutakkaanya bwebaabadde banywa omwenge mu bbaala emu ekyaviiriddeko omu okunona emmundu mu maka […]
Njakuva mu offiisi singa bakama bange tebanyongera kisanja – Hon. Mpuuga
Akulira oludda oluvuganya Gavumenti mu Palamenti Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Mathias Mpuuga Nsamba avuddeyo nategeeza nti mwetegefu okuva mu kifo kino singa bakama be basalawo okulonda omulala amuddire mu bigere. Owek. Mpuuga bino abyogeredde mu lukiiko lwa Bannamawulire lwakubye olwaleero bwabadde ayogera ku bibadde mu mwaka n’engeri gyebatambuddemu.
Sobi tabadde mukozi wa Gavumenti – Minisita Kabbyanga
Minisita omubeezi avunaanyizibwa kukulungamya Eggwanga Kabbyanga Godfrey Baluku avuddeyo nategeeza Bannamawulire nti Paddy Sserunjogi aka Sobi eyatiddwa nti tabadde mukozi wa Gavumenti. Ono ategeezezza nti buli mukozi wa Gavumenti ya Uganda alina ID era nekinyonyola omulimu gwakola mu Gavumenti.
KCCA munoonye ssente za Johnbosco Muwonge mu bwangu – Sipiika Among
Sipiika wa Palamenti Nnaalongo Anitah Among alagidde ekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority – KCCA okuteekayo okusaba okusasula omugagga Muwonge Johnbosco nnannyini ttaka okutudde akatale k’abatembeeyi aka Smart City akasangibwa ku Ggwanda ng’omugagga ono abadde aweze okugobawo abatembeeyi bano lwa Gavumenti butamusasula. Omugagga Muwonge agamba kati omwaka mulamba nga bamusuubiza malusu […]
Thomas Kwoyelo avunaanibwa emisango 78
Olwaleero Kkooti y’ensi yonna ewozesa bakalintalo mu kibuga Gulu lw’egenda okusomera eyali omuduumizi mu kabinja k’abayeekera ba LRA akakulirwa Joseph Kony, Thomas Kwoyelo emisango 78 egivunaanibwa. Kino kiddiridde Kkooti eno olunaku lw’eggulo okukakasa nti Kwoyelo alina okwewozaako oluvannyuma lw’omuwaabi wa Gavumenti okuleeta obujulizi obulaga nti asaanidde okuvunaanibwa emisango egyo wabula egimu baagimuggyeko kubanga yabadde wakuvunaanibwa […]
Sobbi atiddwa mu kavuvungano akabadde e Gomba
Kitalo! Paddy Sserunjogi aka Sobbi omu ku basajja abatigomya nga Bannakampala yakubiddwa nattibwa abatuuze ababadde bataamye obugo bwebabadde bagenze n’ekibinja kyabavubuka okugoba abatuuze ku ttaka e Maddu Gomba eriweza Square mile emu nga likayanirwa abantu 2.
Ekya Sobbi kibeere ekyokuyiga eri buli omu – Bobi Wine
Omukulembeze wa National Unity Platform – NUP Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; ” Tosobola kutoloka kuva mu Sobibor, bweyagamba nga afuluma ekibanda kya firimu mu Ghetto mu Kisenyi mu myaka gya 1990 eyo. Firimu eyali eriko ebisera ebyo baali bagiyita ‘Escape from Sobibor,’ emboozi eyali ekwata ku nkambi eyitibwa Sobibor eyali mu Nazi Germany […]
Abaliko ba Sipiika bakwasiddwa emotoka empya ttuku
Sipiika wa Palamenti Nnaalongo Anitah Among olunaku olwaleero akwasizza abaliko ba Sipiika emotoka empya ttuka ezaguliddwa Palamenti. Ono bwabadde azibakwasa abategeezezza nti Gavumenti egenda kubawa amafuta n’okuziddaabiriza nga bwekyetaagisa era esasule ne ba ddereeva baazo naye nga buli omu agenda kwefunira ddereeva bamuwandiise. Sipiika era abategeezezza nti buli luvannyuma lwa myaka etaano bajja ku bakyusizanga […]