Nnaabagereka alambudde ekkuumiro ly’ebisolo erya Bwindi

Kibirige Edward ye Ssengule 2023

Ow’Engeye Kibirige Edward Musajjalumonde ye Ssengule wa Radio Simba 2023. Endukusa eyasinze ye Kavuma Denis eyeddira Engo. Tusiima abalanga naffe abatutaddemu ssente wamu n’Abawuliriza ba Radio Simba abeyiye e Mukono mu Summer Gardens. Tusiima bwongerwa! Uganda Revenue Authority (URA) KCB Bank Uganda

Munnamawulire wa Simba awangudde engule ya Munnamawulire asinze okusaka amawulire agagasa abantu

Munnamawulire wa Luboggola Simba Martin Amayiko Kigongo olunaku olwaleero awangudde engule ya Munnamawulire asinze okusaka amawulire ga Radio agalina kyegongera ku muntu wabulijjo mu kisaawe ky’obutonde bwensi mu 2023 Population and Development Annual Media Awards. Engule emuweereddwa aba National Population Council. Emboozi zeyakola ku kitundu ky’e Kikandwa (Kasejjere) ngettotola ku ngeri gyebayonoonamu obutonde bwensi, ebyabatuukako […]

Aba Opposition bazzeeyo mu Palamenti

Ababaka okuva ku ludda oluvuganya Gavumenti bagenda kusisinkana ettuntu lyaleero okusalawo oba baddamu okwetaba mu ntuula za Palamenti oba basigale ku ky’okuzizira. Kino kiddiridde Sipiika, Nnaalongo Anitah Among okulangirira olunaku lw’eggulo nti olwaleero Gavumenti egenda kwanjula alipoota ku bantu abazze babuzibwawo ng’eno yensonga eyali ebafulumizza Palamenti.

Lwaki omwenge togunywera waka – Minisita Opendi

Hon. Sarah Opendi; “Omuntu bwagula omwenge gwe nagenda agunywera awaka tetulina buzibu naye kuba tetujja kufuga maka gabantu, olina eddembe okukolerayo kyoyagala. Kyetuva twagambye nti Supermarket zisobola okutunda omwenge okuva ssaawa 4 ezookumakya okutuusa ssaawa 4 ezekiro, era oli bwaba ayagala okunywa omwenge ggwe genda ogugule Supermarket ogutwale awaka onywere eyo. Lwaki abantu batya okunywera […]

Kkooti egobye okujulira kwa UMSC

Kkooti egobye okujulira kwa Uganda Muslim Supreme Council (UMSC) kweyabadde etaddeyo ngeyagala okulemesa okutundibwa kw’ebitu by’Obusiraamu olw’ebbanja erisoba mu buwumbi 19. Singa UMSC eremererwa okusasula obusuubuzi, Justus Kyabahwa obuwumbi bwe 19 nga 24-December, 2023 ebintu ebyateekeddwa ku lukalala byakutundibwa, okuli n’ekitebe. Munnamateeka wa Kyabahwa, Meddie Kalule bwati bwategeezezza Bannamawulire.

Abakulu b’essomero e Lwengo bakwatiddwa

Abasomesa b’essomero lya Coloh Children’s Foundation erisangibwa mu Disitulikiti y’e Lwengo bakwatiddwa nebaggalirwa olw’ebigambibwa nti baalemera omuyizi Ojuma Joel ow’emyaka omwenda nebamukuumira ku ssomero olw’obutamalaayo bisale bya ssomero. Ebyembi omuyizi ono yasangiddwa mu kisulo nga yetugidde mu kisulo ekiggya abazadde be mu mbeera nga bagamba nti omwana waabwe yandiba nga yattibwa buttibwa.

Rev. Fr. Mudduse aziikiddwa olwaleero

Okuziika Rev. Fr. Lawrence Mudduse e Mityana. Ekitambiro ky’emmisa eky’okusabira omugenzi kigenda mu maaso mu Mityana Cathedral Parish, kikulembeddwamu Omusumba we Ssaza ly’e Mityana Bishop Anthony Zziwa. Katikkiro Charles Peter Mayiga yakulembeddemu Ab’ekitiibwa n’Abakungu okuva mu Gavumenti ya Kabaka okwetaba mu kuwerekera omugenzi.

Aboluganda bagaana okwogerako gyetuli mukunoonyereza – Minisita Muhoozi

Minisita omubeezi ow’ensonga zomunda mu Ggwanga Gen. David Muhoozi; “Okunoonyereza kwakaluba olwokuba wabulawo enkolagana wakati wa b’oluganda nabanoonyereza wamu ne fayiro z’emisango okubula. Ab’oluganda basalawo kukolagana nabitongole byabwannakyewa. Ebiwandiiko bya NIRA byakakasiddwa abantu 9 ku 18 ababuzibwawo. Okubuzibwawo kwa; Kibalama, Kajumba ne Kisembo tewali muntu alumiriza kukulaba.”

Alipoota eno mugiwe Bannayuganda bamanye obulimba bwa NUP – Minisita Muhoozi

Minisita omubeezi avunaanyizibwa ku nsonga zomunda mu Ggwanga Gen. David Muhoozi ategeezezza Palamenti nti okunoonyereza ku misango 30 egyawabibwa aba National Unity Platform – NUP mu Uganda Human Rights Commission – UHRC era okunoonyereza kulaga nti waliwo ebibuuzo bingi ku kwemulugunya kwa Opposition. Ono agama nti abawagizi abo aboogerwako tebakolaganye bulungi nabanoonyereza oba obujulizi bwabwe […]