NUP ekyokuwamba abantu ekikozesa kutwala bantu baayo ebweru – Minista Muhoozi
Gavumenti evuddeyo netegeeza nga ekibiina kya National Unity Platform NUP bwekirina campaign yokwonoona erinnya lya Gavumenti ngeyita mu kiwambabantu, Minisita Muhoozi ategeezezza kino ab’oludda oluvuganya Gavumenti bakikozesa okufuna visa bagende ebweru. Muhoozi yewuunyizza nti lwaki tebakwata nnamba za motors ezawamba abantu. Muhoozi era ategeezezza nti byonna ebikolebwa byabulimba wabula ekyenaku ensi gyebalaga zikiriza obulimba buno […]
Sipiika alagidde Minisita Muhwezi okuvaayo ku nsonga zeddembe ly’obuntu
Sipiika wa Palamenti Nnaalongo Anitah Among alagidde Minisita Gen Jim Katugugu Muhwezi okuvaayo mu bunnambiro n’ekiwandiiko ekikwata ku nsonga y’okulinyirira eddembe lyobuntu eyaleetebwa ab’oludda oluvuganya Gavuementi oluvannyuma lwobudde obwaweebwa Gavumenti okwanukula okuggwako.
Omubaka Onen awakanyizza ekiragiro kya Sipiika
Omubaka Charles Onen, Omumyuuka wa Ssentebe w’Akakiiko ka Palamenti akakwasisa empisa n’amateeka aziimudde ekiragiro kya Sipiika Nnaalongo Anitah Among ekyokugoba Ababaka b’oludda oluvuganya mu ntuula z’Obukiiko nategeeza nti tebanafuna kiwandiiko kitongole okuva ewa Clerk ekibaragira okubagoba.
Muhoozi alambudde enguudo mu Kampala ezirimu ebinnya
Mutabani wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni era nga akola nga omuwabuzi we ow’enjawulo ku bikwekweto ebyenjawulo Gen. Muhoozi Kainerugaba ngalabula enguudo mu Kampala ezijudde ebinnya ezirina okudaabirizibwa Special Forces Command Construction Regiment abaweebwa obuwumbi 2 okuva mu Kampala Capital City Authority – KCCA okudaabiriza enguudo mu Kampala wakati.
Eddy Kenzo asisinkanye Pulezidenti Museveni
Eddy Kenzo avuddeyo nategeeza; “Mukugezaako okutereeza ekisaawe kyaffe ekyokuyimba wamu nokukisakira, nsisinkanye Muzeeyi wange H.E Yoweri Kaguta Museveni netwogera ku bwetaavu bwenoongosereza mu tteeka lya Copyright & Neighboring Rights Act 2006. Yabadde nsisinkano yamaanyi mweyakiririzza okulondoola ensonga eno mu bwangu. Era yakirizza okusaba kwange okwokusisinkana Abakulembeze ba Uganda National Musicians Federation nokumutegezza wa wetutuuse mukutumbula […]
Ababaka Bannakibiina kya FDC mudde mu Palamenti muve ku bya Mpuuga – Nsibambi
Nampala wa Babaka ba Forum for Democratic Change ow’ekiwayi ky’e Najjanankumbi Yusufu Nsibambi alagidde ababaka ba FDC okuddayo bakiike mu ntuula za Palamenti mu bwangu ddala, bave mukwekandagga nga bwebaalagirwa akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti. Nsibambi ategeezezza nti ekibiina kyasoose kutuula ne kyekenneenya ensonga eno era nekisalawo Ababaka baakyo badde mu Palamenti bateeseze abantu […]
Tugenda kunoonya owa Poliisi eyayambako Hajji Kiyimba – Enanga
Omwogezi wa Uganda Police Force SCP Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga Poliisi bwetandise okunoonyereza musajja waayo eyayambako Hajji Abdul Kiyimba ne mutabani we Hamza Kiyimba okuyingira omuzikiti gwa Old Kampala ku lunaku Lw’okutaano wiiki ewedde nebaleetawo akajagalalo mu Muzigiti.
Mukolere ku ttaka lyammwe okwewala okulibba- Minisita Nabakooba
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ettaka, amayumba nokuteekerateekera ebibuga Hon. Judith Nabakooba avuddeyo navumirira enkayana zettaka ezisusse mu benganda mu Greater Mubende nga kiva ku balumbagana bebaba bagabira edda ettaka nebatandika okubatiisatiisa. Ono yategeezezza nti tekikomye mu bantu naye kituuse ne mu Kkanisa wabula nategeeza nti Gavumenti ekola ekisoboka okukikomya. Minisita yasabye abantu okukozesa ettaka lyabwe […]
Ogwa Ssegiriinya ne Ssewanyana gwongezeddwayo
Omulamuzi wa Kkooti Enkulu ewozesa egya Nnaggomola Alice Komuhangi eyongezzaayo okuwulira omusango oguvunaanibwa ababaka Bannakibiina kya National Unity Platform Hon. Ssegirinya Muhammad FANS PAGE ne Hon. Allan Ssewanyana okutuuka nga 19 February 2024. Kino kiddiridde Munnamateeka wa Ssegirinya, Sam Muyizzi Mulindwa okutegeeza Kkooti nti omuntu we tasobodde kulabikako olw’ensonga yaweebwa ekitanda ate ng’akyetaaga obujjanjabi obusingawo […]