Tetujja kudda mu Palamenti – LOP

Nabbanja vvaayo mangu onyonyole ku byokukwata aba NUP – Sipiika Tayebwa

Omumyuuka wa Sipiika Thomas Tayebwa atadde Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister okuvaayo mu bunnambiro ayanukule ku bigambibwa nti abebyokwerinda bakozesa eryanyi, obukambwe obusukiridde wamu n’ebikolwa ebyokulumya bwebaali bakwata Abakulembeze ba National Unity Platform ssaako n’okusalako ekitebe ky’ekibiina.

Ekitebe kya NUP kisaliddwako Poliisi

Ab’ebyokwerinda okuli; Military, UPDF wamu ne Uganda Police Force bakedde kusalako kitebe kya National Unity Platform e Kamwokya. Aba NUP babadde balangiridde nga bwebatagenda kujaguza lunaku lwamefuga wabula nga bategese okusabira emyoyo gyabawagizi ba NUP abazze battibwa wamu nabo abazze babuzibwawo.

Nze saagala byabufuzi munveeko – Gen. Kayihura

Eyaliko omuduumizi wa Uganda Police Force Rt. Gen. Kale Kayihura avuddeyo neyesammula ebigambibwa nti ateekateeka kwesogga by’abufuzi avuganye ku kifo ky’omubaka akiikira Bufumbira East mu Palamenti. Kayihura agamba nti ezo ngambo ezitaliiko mutwe namagulu kuba nti ye ng’omuntu atya eby’obufuzi era tayinza kwesimbawo wadde kubwa Ssentebe bw’ekyalo nga amaanyi agenda kugateeka mu kulunda. Ono era […]

Muyimbule abantu baffe, abaafa mutuwe emirambo – Bobi Wine

Pulezidenti wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine asisinkanye eb’enganda z’abantu abazze babuzibwawo abateeberezebwa okubeera ab’ebyokwerinda kwossa n’abo abakyawagamidde mu mikono gy’abebyokwerinda nabagumya nti Bannamateeka b’ekibiina bakola kyonna ekisoboka okulaba nga abantu babwe bafuna obwenkanya. Kyagulanyi alabudde ab’ebyokwerinda abenyigira mu kuwamba abawagizi baabwe nti ekiseera kigenda kutuuka era bakuvunaanibwa nga abantu.

Oyo Nandala Gavumenti ye muwaga – Hon. Ssemujju

Abakulembeze ba Forum for Democratic Change abekiwayi kyo ku Katonga nga bakulembeddwamu Pulezidenti Erias Lukwago ne Hon. Ibrahim Ssemujju Nganda bavuddeyo ne bategeeza nti Hon. Nathan Nandala – Mafabi enaku zino ayogeza amaanyi agatagambika olwokuba yesiga eryaanyi Gavumenti lyemuwa nti naye bino ekiseera kijja kutuuka byonna bikome.

Byonna byetwayisa mu ttabamiruka waffe byali mu mateeka – Erias Lukwago

Abakulembeze b’ekibiina ki Forum for Democratic Change – FDC ab’ekiwayi ky’e Katonga nga bakulembeddwamu Pulezidenti waabwe ow’ekiseera Loodi mmeeya Erias Lukwago bagumizza abawagizi baabwe nti byonna ebyasalibwawo mu lukungaana Ttabamiruka lwebaatuuza nga 19 omwezi oguwedde bwebyakolebwa mu mateeka era nga tebasaanidde kuba nakutya kwonna. Kino kiddiridde ab’ekiwayi kye Najjanankumbi okusekerera ab’e Katonga nga byonna byebakola […]

Sipiika Tayebwa awakanyizza okyokuwa abaana abawala empeke

Omumyuuka wa Sipiika Thomas Tayebwa avuddeyo nasaba Gavumenti ya Uganda obutayisa kiragiro kiwaliriza bawala balina myaka 15 n’okudda waggulu kukozesa empeke ziziyiza kufuna mbuto nategeeza kino kyenkanankana n’okutongonza okwegatta awatali abakuba ku mukono.

Aba Opposition bekandazze nebafuluma Palamenti

Ababaka ku ludda oluwabula Gavumenti olunaku olwaleero bekandazze nebafuluma mu lutuula lwa Palamenti nga balaga obutali bumativu bwabwe olw’abantu abazze bawambibwa abebyokwerinda, okusiba abakulembeze wamu n’okubatyoboola. Bano bagamba nti bakooye okulaba nga bayisibwamu amaaso entakera.

Gavumenti tenakiriza kyabaana bato kumira mpeke – Minisita Muhanga

Omubeezi wa Minisita ow’ebyobulamu Hon. Margaret Muhanga asambazze ebitambulira ku mikutu gy’amawulire nti Gavumenti yakkirizza abaana ab’emyaka 15 okukozesa empeke z’enteekateeka yezadde. Ono asinzidde mu Palamenti nagamba nti kino kyaleeteddwa nga kirowoozo okutaasa abawala abafuna embuto nga tebaneetuuka wabula tekyalangiriddwa era ssi nkola ya Gavumenti.