Bobi Wine akwatiddwa nga yakatuuka ku Kisaawe Entebe
Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine olubadde okutonnya ku kisaawe ky’Ennyonyi Entebe ab’ebyokwerinda ababadde mu ngoye ezabulijjo nebamukwatirawo nebamuteeka mu mmotoka zabawe era mukiseera kino ono ateereddwa mu mmotoka naggyibwawo.
Bobi Wine agobye aba Poliisi ababadde bayingidde ewuwe
Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine atabukidde abasirikale ba Uganda Police Force ababadde bayingidde ewuwe nabagoba bafulume mu bunnambiro. Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine mu katambi nga yebuuza lwaki abebyokwerinda bayingidde mu maka ge nga tebakomye okwo bakubye era nebakwata omukuumi we owawaka.
Omukuumi wa Bobi Wine akubiddwa abebyokwerinda
Omukulembeze wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine ngali wamu nakulira Oludda oluwabula Gavumenti Hon. Mathias Mpuuga Nsamba e Magere nga bannunula omukuumi wa waka abadde akwatiddwa abebyokwerinda. Ono alabiddwako mu katambi oluvannyuma lwokumuyimbula ngakaaba era nategeeza nti abadde akubiddwa naye mugumu. Empale yo bagiyuzizza.
Bobi Wine Poliisi emuwerekeddeko okutuuka ewuwe – Patrick Onyango
Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga Pulezidenti wa National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine bwatuuse obulungi mu Ggwanga ngava emitala w’amayanja nti era abebyokwerinda bamuwerekeddeko okumutuusa mu maka ge e Magere Kasangati. Onyango yebazizza abebyokwerinda abakozi omulimu omunene okukuuma Eggwanga okulaba nti lisigala nga […]
Teargas anyoose e Magere
Abawerekedde ku Mukulembeze wa National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine nga omwogezi wa Poliisi owa Kampala nemiriraano Onyango bategezezza bakozesezza omukka ogubalagala E Magere okugoba abawagizi be ababadde bazze mu maka ge.
Gavumenti erina eteekateeka okutumbula ebyamayumba – Minisita Nabakooba
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ettaka, amayumba n’enkoteekerateekera ebibuga Judith Nabakooba avuddeyo nategeeza nti Gavumenti erina enteekateeka z’okutumbula embeera zabantu naddala mu by’amayumba. Ono asabye ebitongole eby’enjawulo okukolera awamu ne Gavumenti okutuukiriza ekirooto kino. #WorldHabitatDay #UgHousingSymposium
Bobi Wine tumuyambye kumuwa ntambula yabwereere – Rt. Hon. Nabbanja
Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister avuddeyo nategeeza Palamenti nti Omukulembeze wa National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine tanaggalirwa waka we nti wabula nti bamuyambye kumuwa ntambula emutuusa ewuwe n’obukuumi obutataataganya byabusuubuzi ku luguudo lw’e Ntebe.
Bannamawulire abakwatiddwa babadde tebasobola kubawula ku bantu balala – Patrick Onyango
Omwogezi wa Uganda Police owa Kampala Metropolitan Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nti embeera mu Kampala n’emiriraano nzikakamu era Bannayuganda bagenda mu maaso n’emirimu gyabwe nga mpaawo abataataganya. Ono ayongeddeko nti ekyenaku bwebabadde bakola ebikwekweto, Bannamawulire 14 bakwatiddwa mukayise akavuyo mbu abebyokwerinda babadde tebasobola kubawula ku bantu babulijjo. Bano batwaliddwa ku Poliisi Entebe wabula oluvannyuma lwokubasunsulamu […]
Poliisi eyodde Bannakibiina kya NUP Entebe
Uganda Police Force etandise okuyiwa basajja baayo abawanvu n’abampi mu Kibuga Ntebe okunyweza ebyokwerinda oluvannyuma lwa Bannakibiina kya National Unity Platform okulangirira nti olunaku lw’enkya bagenda kwaniriza omukulembe w’ekibiina Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine ku kisaawe Entebe ngakomawo mu Ggwanga. Poliisi ekutte Bannakibiina kya NUP 7 abasangiddwa nga batimba oluguudo era omwogezi wa Poliisi […]