Abantu abalwala kkookolo w’ekibumba beyongedde – Minisita Muhanga
Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku byobulamu Margaret Muhanga olunaku olwaleero ategeezezza Palamenti nti Uganda Cancer Institute e Mulago efuna abalwadde ba kkookolo w’ekibumba 56 nga kino kivudde ku kulya mmere erimu obutwa obumanyiddwa nga aflatoxins.
Poliisi etandise okuyigga aba Capital Chicken
Uganda Police Force eya Kira Road evuddeyo netegeeza nga bwetandise okunoonyereza ku bugambibwa okuba obufere obwakolebwa Kkampuni ya CAPITAL CHICKEN. Kigambibwa nti wakati wa 2021 ne 2023, CAPITAL CHICKEN yaggulawo offiisi ku Kanjokya Street mu Kampala Central Division, abantu gyebatwala nga ssente okuzisiga mu bizineesi nga babasuubizza amagoba. Mu ntandikwa bizineesi yalabikanga etambula obulungi wabula […]
Abazadde bezimbidde laboratory ku ssomero lya Gavumenti
Abazadde ku Ssomero lya Gavumenti erya Buzzibwera S.S e Luweero bavudde ku by’okulinda Gavumenti okubazimbira Ekkeberero lya ssayansi (laboratory) nebesondamu obukadde 200 nebalyezimbira. Bano bagamba bakooye abaana baabwe okulemererwanga okutwala amasomo ga ssaayansi olw’ekizibu ky’ebikozesebwa.
Aba booda booda temugeza kukima Kyagulanyi – Bakulembeze
Abakulembeze ba booda booda mu Kampala balabudde bannaabwe obutakemebwa kwetaba mu bikujjuko by’okwaniriza Pulezidenti wa National Unity Platform – NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine kuba Uganda Police Force bano yabalabudde nti bino bimenya mateeka era anaakwatibwa nga abirimu ajja kuba akikoze ku lulwe.
Bbo baali bampaaki okubalekera ambulance yange? – Hon. Anite
Minisita Hon Anite Evelyn; “Mwebale kutujukiza kino. Kituufu emotoka yange agafemulago nagibaggyako era sitonda olwekyo kyenakola. Lwaki nagitwala? Kuba tebanonda. Mwali munsuubira ntambule butambuzi nga sirina kyentutte? ‘Galatians 6:7 A man reaps what he sows.”
Uganda erina okusasula obuwumbi 112 eri CAF – Minisita Ogwang
Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku by’emizannyo Peter Ogwang MP avuddeyo nategeeza nti Uganda erina okutuukiriza obukwakulizzo 6 nga tenakirizibwa kutegeka mpaka za AFCON 2027 nga buno kuliko n’okusasula obukadde bwa ddoola 30 bwebuwumbi 112 ebisale byokutegeka eri Confederation of African Football (CAF) ng’omwezi gwa February 2025 tegunatuuka.
Poliisi ekutte kkondo abadde atigomya abasuubuzi – Fred Enanga
Omwogezi wa Uganda Police Force mu Ggwanga, Fred Enanga atenderezza Poliisi erwanyisa obubbi olw’okukwata omubbi kkondo, Kuddu Ashiraf eyali yeyita Mr. X aludde ebbanga nga anoonyezebwa. Ono abadde anoonyezebwa oluvannyuma lw’okukuba Najjuko Prossy amasasi ng’ono yali akola bizinensi ya kukyusa ssente mu katale ka Arubaine e Busia. Mu ngeri yeemu Enanga ategeezezza nti Poliisi mu […]
Abalowooza nti Museveni munamuggya mu buyinza nakalulu mwerimba – Norbert Mao
Omukulembeze wa Democratic Party Uganda era nge ye Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Ssemateeka n’essiga eddamuzi, Norbert Mao avuddeyo nasekerera Bannabyabufuzi abalowooza nti akalulu kasobola okuggya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu buyinza n’abasaba okukomya amampanti bakkirize okutuula naye bateese ku magenda ge. Bino yabyogeredde Jinja mu kaweefube ekibiina gw’ekiriko okunyweza obuwagizi nategeeza nti ekyamuleetera okukola […]
Poliisi etandise omuyiggo gwa Bannansi ba Egypt abatembeeya essippiti
Omwogezi wa Minisitule evunaanyizibwa ku nsonga z’omunda mu Ggwanga Simon Peter Mundeyi avuddeyo nategeeza nga bwebatandise omuyiggo gwa Bannansi ba Egypt abatembeeya essepiti mu Kampala. Bya James Kamaali