Gavumenti etaddewo obuwumbi 150 okuyamba ku kkampuni enzimbi
Bbanka ya Gavumenti eyamba abantu okwekulaakulanya eya Uganda Development Bank Ltd – UDB erangiridde obuwumbi 150 eri kampuni ezizimba enguudo, amayumba n’ebizimbibwa ebirala. Akulira Uganda Development Bank Patricia Ojangole agamba nti kampuni enzimbi zizze ziraajana okuganyulwa mu bbanka eno wabula olw’okuba bo betaaga ensimbi nyingi, babadde balekebwa ebbali. Bya Khalid Kintu
Kkooti ya Ssemateeka eyongeddeyo ogwa Fox Odoi ne banne
Kkooti etaputa ssemateeka eyongezzayo okuwulira omusango gw’omubaka wa Palamenti Fox Odoi Oywelowo akiikirira West Budama ne banne gwebawaaba nga bawakanya engeri etteeka erikugira omukwano ogw’ebikukujju gyelyayisibwamu. Ssaabawolereza wa Gavumenti nga ye muwawabirwa mu musango guno, wamu n’abawaabi, balabiseeko mu maaso g’omuwandiisi wa Kkooti, Suzanne Annyala Okeny olwaleero okukkanya ku lunaku lw’okutandika okuwulira omusango guno. Bano […]
Abatuuze e Bugweri batabuse lwabutabaliyirira ku ttaka
Abatuuze abawangalira mu Ggombolola y’e Bulanku ne Mukuutu mu Disitulikiti y’e Bugweri wamu nabo Ggombolola y’e Buwunga mu Disitulikiti y’e Bugiri batabukidde aba Kkampuni ya Qiul Company olwokutandika okusima ddlam mu ttaka lyabwe wabula nga tebanabaliyirira. Wabula ye RDC wa Disitulikiti y’e Bugweri Janat Billy Mulindwa agumizza abatuuze nti bajja kubasasula. Bya Willy Kadaama
Abadde RCC wa Kawempe awaddeyo offiisi
Abadde RCC w’e Kawempe Omulangira Walugembe Sulaiman alabudde munne amuddidde mu bigere Yasin Ndidde ku babbi b’ettaka saako abafere abateevuunya ng’ebiwuka mu Kawempe. Ono okwogera bino abadde awaayo woofiisi mu butongole eri RCC wa Kawempe omuggya Yasin Ndidde.
Ssemujju naawe osobola okuntuma mu Kira – Sipiika Tayebwa
Amyuuka Sipiika wa Palamenti, Thomas Tayebwa avuddeyo nayanukula abamukolokota olw’okutumibwa mukyala w’omukulembeze w’eggwanga era Minisita w’Ebyenjigiriza, Janet Kataaha Museveni okumukiikirira mu lukungaana lw’enjiri nga bagamba nti ono aba amusinga obuyinza nategeeza nti ye takirinamu buzibu bwonna era bwewabaawo n’Omubaka ayagala okumutuma waddembe kuba ye kyatunuulira sikutuumibwa wabula kuweereza Ggwanga lye. Kino kiddiridde Hon. Ssemujju Nganda […]
Pulezidenti muntu wakitiibwa nnyo mu Ggwanga – Minisita Muhanga
Omubeezi wa Minisita ow’ebyobulamu, Margaret Muhanga avuddeyo nategeezezza Palamenti nti buli muntu asemberera Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni asaanye okusooka okukuberebwa COVID-19 kubanga Pulezidenti muntu wakitiibwa alina okukuumibwa obutiribiri ennyo. Ono agamba nti COVID-19 akyaliwo mu ggwanga era buli wiiki bafuna abalwadde abali wakati wa 50 ne 60.
Okudda kwa Bobi Wine tekutukwatako – Minisita Baryomunsi
Minisita avunaanyizibwa ku by’amawulire n’okuluŋŋamya Eggwanga, Dr. Chris Baryomunsi avuddeyo nasambajja ebibadde biyitiŋŋna nti Gavumenti eteekateeka okuggyako yintaneeti ku lunaku olwokuna nga 5-October olw’okutya ebiyinza okubaawo nga Pulezidenti wa National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine akomawo mu Ggwanga akomawo. Ono ategeezezza nti buno bulimba obuwedde emirimu kubanga Kyagulanyi waddembe okudda nga bwayagala […]
Sabiiti ayolekedde okulya obwa Ssentebe bwa FDC nga tavuganyiziddwa
Jack Sabiiti ayolekedde okulangirirwa kubwa Ssentebe bw’ekibiina ki Forum for Democratic Change – FDC okudda mu bigere bya Amb. Wasswa Biriggwa oluvannyuma lw’okubulwa amuvuganya ku kifo kino. Kino kiddiridde Biriggwa okuggyayo empapaula okuddamu okuvuganya ku kifo kino kyokka natazizzaayo ekiwadde Sabiiti omukisa okuyitawo nga tavuganyiziddwa. Pulezidenti wa FDC, Patrick Oboi Amuriat ategeezezza nti ekisanja kya […]
Buli mukungu wa Gavumenti olina kukozesa Uganda Airlines – Dr. Baryomunsi
Gavumenti eyisizza ekiragiro eri Abakungu baayo bonna abagenda emitala w’amayanja okutandika okukozesa ennyonyi y’Eggwanga eya Uganda Airlines nga bagenda ku ŋŋendo gyekkirizibwa okugwa. Kino kigendereddwamu okukendeeza ku nsaasaanya y’ensimbi z’omuwi w’omusolo n’okufunira ennyonyi eno emirimu okusinga okugaba ensimbi mu Mawanga amalala ate nga ne wano waliwo ennyonyi esobola okukozesebwa. Ekiragiro kino kiyisiddwa Minisita avunaanyizibwa ku […]