Magogo ne banne baniriziddwa mu mizira
Omukulembeze ekibiina ekifuga omupiira ogw’ebigere mu ggwanga ki Federation of Uganda Football Associations (FUFA), Eng. Moses Magogo, Ssentebe w’akakiiko akatwala eby’emizannyo mu Ggwanga, Ambrose Tashoobya, Ssaabawandiisi w’akakiiko kano, Dr. Ogwel Benard Patrick baaniriziddwa mu mizira ku kisaawe Entebbe bwebabadde bava ku mu kibuga Cairo mu ggwanga lya Misiri ewakubiddwa akalulu Uganda mweyatuukidde ku kkula ly’okutegeka […]
Aba NRM mu Kampala batabukidde Minisita Kyofatogabye
Wabaluseewo obutakkaannya wakati wa w’Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Kampala Christopher Kabuye Kyofatogabye ne Bannakibiina ki National Resistance Movement – NRM mu Kibuga ng’entabwe evudde ku Minisita Kyofatogabye okulumiriza Nnankulu w’ekitongole ekitwala ekibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority – KCCA Dorothy Kisaka okubeera emabega wa vvulugu yenna eyetobese mu Kibuga Kampala. Bannakibiina […]
Katikkiro asisinkanye abasuubuzi b’omu Kikuubo
Katikkiro Charles Peter Mayiga asisinkanye abasuubuzi b’omu Kikuubo nebabaako byeboogera. Ensisinkano egendereddwamu okunyweza enkolagana yaabwe n’Obwakabaka naddala mu by’enjigiriza, eby’obulimi, eby’obulamu, n’eby’enkulaakulana.
Omubaka wa Switzerland akyaddeko mu masiro
Omubaka wa Switzerland mu Uganda, H.E. Valentin Zellweger akyaddeko mu Masiro e Kasubi okulambula emirimu egikolebwayo. Ayanirizibbwa Minisita avunaanyizibwa ku Masiro, Oweek.Dr. Anthony Wamala. Atenderezza nnyo obukugu obwolesebbwa mu kuzzaawo Muzibu-Azaala-Mpanga.
Obutwa bususse mu kasooli wa Uganda – Emmanuel Dombo
Avunaanyizibwa ku by’amawulire era omwogezi w’ekibiina kya National Resistance Movement – NRM Emmanuel Lumala Dombo avuddeyo nategeeza nga balirwana ba Uganda bwebazzeemu okuwera kasooli okuva mu Uganda okuyingizibwa ewaabwe olwokuba alimu obutwa obwa aflatoxins bungi. Ono agamba nti ekyenaku tanalabayo nkola nnuŋŋamu mu Uganda erondoola obutwa bwa Aflatoxin. Ono agamba nti enkwata y’amakungula embi si […]
Lwaki temwagala b’amaggye kwanja bya bugagga byabwe? – Babaka
Ababaka ku ludda oluvuganya bavuddeyo nebawakanya ekya Gavumenti okugamba nti abasirikale b’eggye lya UPDF tebajja kwanjulira IGG byabugagga byabwe nti wabula bakubyanjulira Chieftaincy of Military Intelligence (CMI). Bano bagamba nti ebyokwerinda biweebwa omutemwa ggwa ssente munene nnyo okuva mu mbalirira y’Eggwwanga nti n’olwensonga nti olwokuba tewali byamaanyi bisaasanyizibwako nsimbi zino bayinza okwagala okwezza ensimbi zino […]
Newuunya entegeera ya Bannayuganda ku nsonga ezimu – Sipiika Tayebwa
Omumyuuka wa Sipiika Thomas Tayebwa avuddeyo nategeeza nti oluvannyuma lwokusoma ebyawandiikiddwa abantu ku kirowoozo gyokusindana mu kuyimba wakati wa Bebe Cool ne Jose Chameleone avuddeyo nategeeza nti yewuunya endowooza ya Bannayuganda abalowooza nti olwokuba olina ekifo mu Gavumenti, olina kubeera nga kyuuma nti tolina bulamu nga muntu. Ono agamba nti okugamba nti waliwo ebintu ebyamakulu […]
FDC muveeyo mukolagana ne NRM mu lwatu temwebuzaabuza – Norbert Mao
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Ssemateeka era Ssenkaggale w’ekibiina ki Democratic Party Uganda, Norbert Mao avuddeyo nasaba abakulembeze mu Kibiina kya Forum for Democratic Change bakomye okukolagana n’ekibiina ekiri mubuyinza ekya National Resistance Movement – NRM mu nkukutu wabula baveeyo bakolagane nakyo mu lwatu okusinga okuwudiisa Bannayuganda. Bino Mao abyogeredde mu lukuŋŋaana lwa Bannamawulire nategeeza […]
Katikkiro avumiridde e Kyaddondo okuzira omupiira ne Buddo
Katikkiro Charles Peter Mayiga avumiridde ekya ttiimu y’Essaza lya Kyaddondo okuzira omupiira gweyabadde erina okuzannya ne Buddu ku mutendera gwa ‘Quarter Finals’ mu mpaka z’Amasaza ga Buganda. Owomumbuga asinzidde wano n’agamba nti buno bwabadde busiwuufu bwa mpisa bwennyini ara naasaba abakulira Kyaddondo okukangavvula ttiimu yaabwe kubanga bulijjo empisa zezifuga omuzannyo gw’omupiira.