Lukwago ne banne bategesi okulonda kwabakulembeze ba FDC
Pulezidenti w’ekiwayi kya Forum for Democratic Change – FDC eky’e Katongo Erias Lukwago agamba Akakiiko akawaggulu mu FDC kakutuula wiiki eno okukubaganya ebirowoozo ku nteekateeka z’okulonda Abakulembeze b’ekibiina abaggya. Ono agamba nti ne bbanka bazitegeezezza dda obutakirizza biwandiiko biriko mukono ggwa Nathan Nandala – Mafabi wamu n’omuwanika kuba bagobwa.
NUP ewaddeyo obukadde 10 eri abategeka omukulu gwa Mumbere
Ekibiina ki National Unity Platform – NUP olunaku lweggulo kyatuukirizza ekisuubizo kya Principle Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine kyeyakola nga 30-August 2023 bweyali e Kasese nti bbo ng’ekibiina baali bakuwaayo ensimbi ezitakka wansi wa bukadde 10 ziyambeko mukuteekateeka omukolo gwokwaniriza Omusinga wa Rwenzuru. Ssente zino zatwaliddwayo Ssaabawandiisi wa NUP David Lewis Rubongoya nga yazikwasizza […]
Katikkiro atangaazizza ku kya Nnaabagereka okugenda mu State House Entebe
Katikkiro Charles Peter Mayiga avuddeyo olwaleero natangaaza ku kukyala kwa Maama Nnaabagereka mu State House Entebe nasisinkana Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni. Katikkiro ategeezezza nti Nnaabagereka yabadde atutte bakungu b’ekitongole kya United Nations Development Programme – UNDP Uganda abakolagana nekitongole kya Nnabagereka Development Foundation ewa Pulezidenti. Katikkiro ayongeddeko nti kano kamu ku bunonero obunyweza enkolagana kubanga […]
Poliisi etandise omuyiggo gwa Ddereeva w’emotoka ya Gavumenti eyavuze akataka
Uganda Police Force evuddeyo netegeeza nga bwetandise omuyiggo gwa Ddereeva w’emotoka ya Minisitule y’ebyettaka nnamba UG 0302L, eyayisizza emotoka ezabadde mu kalippagano e Kyaliwajjala ku ssaawa 07:27 AM olwaleero nga 25-9-23. Poliisi egamba nti Ddereeva ono wakuvunaanibwa omusango gwokuvugisa ekimama saako n’okukozesa obubi ekidduka. Ono alagiddwa okweyanjula ku Poliisi y’e Namugongo.
Bbasale za Buganda bazizza ku yintaneeti
Owek. Robert Nsibirwa nga ye mumyuuka Ow’okubiri owa Katikkiro era Omuwanika w’Obwakabaka bwa Buganda; “Okutandika n’omwaka ogujja, bbasale z’okusoma okuva mu Bwakabaka abantu baakutandika kuzifuna nga bakozesa mutimbagano. Kino kikoleddwa okusobola okutumbula obwerufu mu nteekateeka eno n’okusala ku ssente abantu zebateeka mu ntambula nga bagoba ku bya bbasale.”
Kkooti eragidde Gavumenti okuliyirira Maama gwebattira omwana mu kwekalakaasa
Omulamuzi wa Kkooti Enkulu mu Kampala Musa Ssekaana alagidde Gavumenti okuliyirira omukyala Hajara Nakitto eyafiirwa omwana we mu kwekalakaasa okwaliwo mu November 2020 obukadde 50. Omulamuzi Ssekaana yategeezezza nti okufa kw’omwana ono kumenya mateeka era nga kuggyibwako eddembe ly’obulamu mu ngeri ey’ekimpatiira, Bwatyo nategeeza nti Gavumenti yabadde erina okusasulira ebikolwa byayo. Nakitto yavaayo nawawabira Ssaabawolereza […]
Ogwa Ssegiriinya ne Ssewanyana bagwongezzaayo okutuusa nga 24 October
Omubaka wa Kawempe North Munnakibiina kya National Unity Platform Muhammad Ssegiriinya olunaku olwaleero ategeezezza Kkooti Enkulu evunaana bakkalintalo nti alina ekirwadde kya kkookolo w’olususu wamu n’ekirwadde mu mawuggwe ebimubala embiriizi. Bino abitegeezezza Omulamuzi Alice Komuhangi Khaukha olwaleero bwabadde agenzeeyo okuwulira omusango gwobutujju ogumuvunaanibwa ne Mubaka munne owa Makindye West Allan Ssewanyana, wamu n’abantu abalala 4 […]
Nnabagereka asisinkanye Pulezidenti Museveni
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Olunaku olwaleero nsisinkanye Her Royal Highness Nnabagereka wamu n’abakungu bazze nabo mu State House, Entebe. Twogedde ku ngeri gyetuyinza okweyambisaamu obuwangwa olw’emirembe n’enkulaakulana (okuzzaawo Obuntubulamu). Mbakubirizza okulowooza ku ngeri gyetuyinza okweyambisaamu obuwangwa n’okutumbula ennono n’enkola ennungi; okugeza, tusobola tutya okukuza abaana nga tetusse buyiiya nakulowooza mu bbo?”
Pulezidenti wa Guinea atabukidde abazungu mu lukungaana mu Amerika
Pulezidenti wa Guinea omuggya Col. Mamady Doumbouya awuniikirizza Ensi bw’ayimiridde mu maaso g’abazungu n’abalagira okufa ku bibakwatako era n’abasaba beesonyiwe amawanga g’Africa kubanga Demokulaasiya w’abazungu takola mu Africa. Ono ategeezezza abakulu mu kibiina ky’amawanga amagatte nti ye okuwamba obuyinza tekyali kigendererwa kye ng’omuntu wabula yayagala kutaasa nsi ye era kyova olaba nga tewali musaayi gwayiika […]