Omwana eyali awambiddwa eddwaliro lya Rosewell bamuwaddeyo eri bazadde be

Poliisi ekutte ababba obutaala bw’emotoka mu Kampala

Uganda Police Force ku CPS mu Kampala olunaku lweggulo yayanukudde okwemulugunya kw’abantu ku Social Media ku bubbi bw’ebintu ku motoka wakati mu Kampala. Poliisi yakoze ekikwekweto mweyakwatidde abagambibwa okwenyigira mu kubba side mirror z’emotoka n’ebintu ebirala ku motoka. Waliwo abakwatiddwa lubona nga babba ebintu ku motoka ezitambula wamu neezo eziteereddwa mu Parking ezateekebwawo Kampala Capital […]

Omubaka ow’enjawulo okuva e Burkina Faso akyalidde ku Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Col. Ismael Diaouari, omubaka ow’enjawulo okuba eri omukulembeze ow’ekiseera owa Burkina Faso, Captain Ibrahim Traore, eyankyaliddeko mu State House, Entebe, mu ttuntu. Twayogedde ku nkolagana eyenjawulo wakati w’amawanga gombi.”

Benedicto Kiwanuka yali ayagala nnyo Eggwanga lye – Minisita Nabakooba

Archbishop wa Kampala His Grace Paul Ssemogerere asabye wabeewo emirembe wamu n’obwenkanya naddala ng’abantu bakola emirimu gyabwe bwebaba baagala okuleka omukululo ngyeyali Ssaabalamuzi Benedicto Kiwanuka. Bino yabyogeredde mu misa eyategekeddwa e Rubaga, okwabadde abakungu ba Gavumenti abenjawulo. Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ebyettaka, amayumba n’okuteekerateekera ebibuga Judith Nabakooba yatenderezza nnyo Benedicto Kiwanuka nategeeza nti ono yali […]

Basse omusawo Entebe nebamusuula mu nnyumba etanaggwa

Uganda Police Force Entebe etandise okunoonyereza kukyaviiriddeko Omusawo w’eddwaliro lya Wagagai Health Center e Kasenyi, mu Katabi Town Council, mu Disitulikiti y’e Wakiso okufa. Omulambo ggwe gusangiddwa mu nnyumba etanaggwa okuliraana essomero lya Faith International School.

Poliisi e Nsangi ekutte 3 abagambibwa okukola ebiccupuli bya ssente

Uganda Police Force e Nsangi ekutte abantu 3 abagambibwa okuba nga babadde bakola ssente ez’ebiccupuli okuli; ddoola neza Uganda. Bano era basangiddwa n’ebiragalalagala wabula ngokunoonyereza kukyagenda mu maaso.

Gavumenti ewaddeyo Lugogo bazimbewo ekisaawe ekiri ku mulembe

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Nyaniriza ekiteeso kya Summa, Kkampuni ya Turkey enzimbi ekyokuzimba ‘multipurpose indoor sports complex’ e Lugogo mu Kampala. Gavumenti egenda kubawa obuyambi bwonna bwebetaaga kuba yetaaga eby’emizzanyo okukulaakulana.”

Katikkiro akungubagidde Evelyn Lagu

Katikkiro Charles Peter Mayiga avuddeyo nakungubagira omuyimbi era munnakatemba Evelyn Nakabira aka Evelyn LAGU eyavudde mu bulamu bwensi olunaku lw’eggulo. Katikkiro, omugenzi amwebazizza olw’obutatuulira kitone kye ate n’okweyisa obulungi mu bulamu bwe. Kamalabyonna asaasidde nnyo ab’oluganda, mikwano gy’omugenzi ne bannabitone bonna.

Poliisi yakedde kuyiwa basajja baayo e Busaabala

Uganda Police Force ekedde kuyiwa basajja baayo abawanvu n’abampi e Busaabala mu kifo awalina okubeera ttabamiruka eyayitiddwa Ssentebe wa Forum for Democratic Change – FDC Amb. Waswa Biriggwa. Olunaku lw’eggulo Kkooti Enkulu yawadde ensala yaayo ku kwemulugunya okwateekebwayo netegeeza nti ttabamiruka ono talina kubaayo.

Ekiwaayi kya Besigye kikubye Poliisi ekimooni

Ba delegate ba Forum for Democratic Change – FDC abagenda mu ttabamiruka w’ekibiina eyayitiddwa Ssentebe Amb. Waswa Biriggwa nga balina coaster ezibatwala mu kifo ekitanategeerekeka olukiiko gyerugenda okutuula. Wabula yo Uganda Police Force yakedde kwebulungulula kifo e Busaabala gyebabadde balina okutuula. Video Credit: NTV Uganda