Aba FDC abakedde e Busaabala babakubye mizibu

Omubaka Ssegiriinya akomyeewo mu Ggwanga

Omubaka wa Kawempe North Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Hon. Ssegiriinya Muhammad aka Mr Updates akomyeewo mu Ggwanga okuva e Netherlands gyabadde afunira obujanjabi. Omubaka Ssegiriinya avuddeyo nalaga obutali bumativu bwe eri abantu ababadde bagamba nti si mulwadde abadde ali ku bubaddi, nategeeza nti abantu bano babi nnyo n’okusinga abakomerera Yeesu nga mu […]

Ttabamiruka wa FDC eyategekeddwa Biriggwa atudde

Olukiiko lwa Forum for Democratic Change – FDC olutudde ku Katonga Road wamu n’olukiiko olufuzi olw’ekibiina (NEC) nga bakulembeddwamu Ssentebe Amb. Waswa Biriggwa bakubye Uganda Police Force ekimooni nebatuuza ttabamiruka mwebakoledde enkyukakyuka mu bukulembeze bw’ekibiina; balonze Mmeeya wa Kampala, Erias Lukwago, nga Pulezidenti w’ekibiina ow’ekiseera nebayimiriza Patrick Oboi Amuriat ne Ssaabawandiisi Nathan Nandala – Mafabi […]

Pulezidenti Museveni awagidde ekya Poliisi okuyimiriza enkuŋŋaana za Bobi Wine

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni avuddeyo ku kya Uganda Police Force okuyimiriza enkuŋŋaana za Pulezdienti wa National Unity Platform – NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine so nga byo ebivvulu ebisomboola abantu abayitirivu bigenda mu maaso naddala mu Kampala. Pulezidenti ategeezezza nti ebivvulu bitegekebwa mu ngeri ennambulukufu nga n’abantu abayingira basooka kwazibwa ekitali ku nkuŋŋaana […]

NUP siyeyalina okunzijanjabisa – Hon. Ssegiriinya

Omubaka wa Kawempe North Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Muhammad Ssegiriinya aka Mr Updates; “Kino kankibatangaaze, ekibiina kyange si kyekyalina okusasulira ebisale by’eddwaliro. Buvunaanyizibwa bwa Palamenti. Okusooka baali bansuliridde naye oluvannyuma lwakazito akateekebwawo ekibiina kyange wamu n’Ababaka abalala olwo nebansasulira ebisale by’eddwaliro.”

Amuriat ne Nandala baggyeyo empapula okuddamu okwesimbawo

Olwaleero ab’egwanyiza ebifo eby’enjawulo mu kibiina ki Forum for Democratic Change – FDC lwebatandise okuggyayo empapula z’okuvuganya ku bifo okuli ekya; Pulezidenti, Ssaabawandiisi, Omuwanika, Omwogezi w’ekibiina n’ebirala. Pulezidenti wa FDC, Patrick Oboi Amuriat ne Ssaabawandiisi Nathan Nandala – Mafabi bebamu kubamze okuggyayo empapula okuvuganya ku bifo eby’enjawulo. Okulonda kusuubirwa okubaawo nga 6 omwezi oguggya.

Ttabamiruka alina okubeerayo – Amb. Waswa Biriggwa

Ssentebe wa Forum for Democratic Change – FDC, Amb. Wasswa Birgigwa akalambidde n’agamba nti ateekwa okutuuza ttabamiruka w’ekibiina kino ku kifuba kubanga Ssemateeka w’ekibiina amukiriza era n’akowoola abo bonna abaagaliza ekibiina kya FDC ebirungi , ku lw’okubiri lwa wiiki eggya babukeereze nkokola e Busaabala bamwetabemu. Biriggwa agenze okwogera bino nga Kkooti ne Uganda Police Force […]

Ababaka abatambula ne Muhoozi tebakikola lwakwagala, bakikola lwakutya – Hon. Ssemujju

Hon. Ibrahim Ssemujju Nganda omwogezi w’ekibiina kya Forum for Democratic Change; “Abajja mu bungi okumwaniriza, tebamwaniriza olwokuba nti bagamba nti kati bagenze okukizuula nti Muhoozi Kainerugaba mutabani wa (H.E) Museveni nti yasinga amagezi nti yasinga obumanyirivu okusobola okutambuza Uganda obulungi, naye bonna abasinga obungi bakikakasa nti tufugirwa ku mudumu gwa mmundu okufuna emirembe….. kyenkugambye nti […]

Abayimbi kiki ekibanywesa enjaga – Hon. Rev. Fr. Onen

Omubaka akiikirira Gulu East Rev. Fr. Chalres Onen awatali bujulizi avuddeyo nalumiriza abayimbi Bannayuganda okukozesa ebiragalalagala ekibalemesezza okuganyulwa mu bitono byabwe wamu n’okuleetawo enkyuukakyuuka mu bantu kuba abantu babayigirako bingi. Ono yewuunya lwaki abayimbi tebakoppa banaabwe okuva mu nsi nga; Singapore, South Africa ne Democratic Republic of the Congo (DRC) abeyambisizza ekitone kyabwe okulaakulanya amawanga […]

Lwaki muteeka amabeere ebweru – Hon. Rev. Fr. Onen

Omubaka akiikirira Gulu East Rev. Fr. Chalres Onen avuddeyo nategeeza Palamenti nti mu ddiini gyasoma ekintu kyokka ekyolesebwa mu lwatu lye ssakalamentu wabula ensangi zino yewuunya okulaba abakyala nga kumpi bayita bukunya, amabeere gali bweru gaboolekezza obwangu gyoli gakugamba Katonda abeere naawe. Obuwale obwomunda babuyisa bweru nga n’abasajja mwobatwalidde abambala empale ezirimu ebituli mbu ‘damage’ […]