Sheebah ne Cindy mulina okukyuusa ku nnyambala – Babaka
Ababaka ba Palamenti okuli; Peggy Wako akiikirira Abakyala abakadde, ne Nsaba Buturo (Bufumbira East) bavuddeyo ne bavumirira ennyambala embi eyayoleseddwa abayimbi @Sheebah Karungi ne Cindy sanyu bwebaali battunka mu kuyimba ku Lwokutaano oluwedde e Kololo. Bano bagamba nti ennyambala eno siyawano era nebasaba Minisitule evunaanyizibwa ku Tekinologiya n’okuluŋŋamya Eggwanga okuvaayo eyogere ku nsonga eno ng’Eggwanga […]
Bulora byoyogera byongera kunnyonyola kyenagambye – Prof. Spire
Prof. Jimmy Spire Ssentongo aka Spire Cartoons avuddeyo nayambalira RCC wa Rubaga Burora Herbert Anderson; “Buli kyowandiika kyongera kwoleka okusaasira kwange (nsaasira obulago wamu n’ebibegaabega byo ebirina omutawaana gwokusitula obuzito bw’omutwe gwo ogutaliimu kantu buli lunaku!) bwekuli okutuufu. Mu kifo ky’okusunguwala, wandibadde omala kwenoonya mu bw’omuntu bwo obw’omuwulenge ozuule engeri gyosobola okweyisaamu ngekuweesa ekitiibwa. Ekyenaku […]
Aba NUP temulowooza ku kyokwekalakaasa – SCP Enanga
Omwogezi wa Uganda Police Force SCP Fred Enanga avuddeyo nategeeza nti Poliisi eri bulindaala okwaŋŋanga abawagizi ba National Unity Platform begamba nti besomye okwekalakaasa okwetoloola Eggwanga lyonna nga bawakanya ekiragiro ky’okuyimiriza enkuŋŋaana zaabwe. Enanga agamba nti amawulire g’okwekalakaasa bagafunye okuva mu bakessi baabwe abazze balondoola entambula z’omukulembeze wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine […]
Pulezidenti Museveni asisinkanye Gen. Fattah
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni enkya yaleero mu State House Entebe asisinkanye Ssentebe wa Transitional Sovereign Council of the Republic of the Sudan, Gen. Abdel Fattah Al-Burhan nebaabako ensonga zeboogerako naddala ku mukago gw’amawanga gombi.
Abatuuze e Butaleja beralikirivu lwa lutindo
Abatuuze b’e Gombolola y’e Himutu mu Disitulikiti y’e Butaleja beralikirivu olw’embeera olutindo lwokka olubagatta ku Gombolola y’e Mazimasa okubeera mu mbeera embi bweti okumala emyaka egiwerako nga mpaawo avaayo kubayamba.
Burora sisimuka wesulise – Prof. Spire
Prof. Jimmy Spire Ssentongo aka Spire Cartoons avuddeyo nayambalira RCC wa Rubaga Burora Herbert Anderson; “Ssebo, buli lukya nsaasira obulago wamu n’ebibegaabega byo ebirina omutawaana gwokusitula obuzito bw’omutwe gwo ogutalina kyeguyamba buli lunaku!”
Nze siri nga Besigye, nina obuwagizi – Nandala Mafabi
Ssaabawandiisi wa Forum for Democratic Change Nathan Nandala – Mafabi avuddeyo nalangirira nga 2026 bwagenda okwesimbawo ku bwa Pulezidenti bwa Uganda; “Nze siringa ye (Kizza Besigye) atalina na buwagizi. Nze ekisookera ddala nina obuwagizi ewaffe bwensobola okutandikirako. Ntandikira awo (e Buvanjuba) olwo njakugenda mu Mambuka, e Bugwanjuba ne mu Massekkati awo ngobuwanguzi mbumaze. Nina ebisaanyizo […]
Kirabo eyatta muganzi asindikiddwa ku alimanda e Luzira
Omulamuzi wa Kkooti Enkulu e Mukono David Matovu asindise Dr. Mathew Kirabo eyasingisibwa omusango gw’okutemula muganzi we Desire Mirembe ku alimanda mu Luzira Upper Prison ngalindirira okumusomera ekibonerezo kye kuba omusango gwasalibwa ngayadduka mu Ggwanga.
Katikkiro akomyeewo mu Ggwanga
Katikkiro Charles Peter Mayiga akomyewo okuva ku lugendo lw’abaddeko e Saudi Arabia awabadde olukiiko lwa UNESCO omwavudde ebibala by’okuggya Amasiro ge Kasubi ku lukalala lw’ebifo eby’enkizo ebiri mu katyabaga. Asuubizza nti amasiro gaakuteekebwamu ebifo awatundibwa emmere eyaffe eyaakuno.