Pulezidenti Museveni ekkolero lyayaggulawo emirundi 3 litundibwa
Ekkolero Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni lyeyaggulawo emirundi 3 okukola eddagala ne mRNA vaccine e Kigoogwa, matugga mu Disitulikiti y’e Wakiso mu 2020 liteekeddwa ku katale lwamabanja. Ebbanja eriviiriddeko ekkolero lino okutundibwa kigambibwa nti kkampuni ya Dei Biopharma Limited, eyali emanyiddwa nga Dei Natural Products International Limited yeyowola ensimbi zino wabula nezigiremerera okusasula. Ekirago ekyafulumiziddwa aba […]
Musaaga tetujja kuzikiza – Hon. Mpuuga
Akulira oludda oluwabula Gavumenti Hon. Mathias Mpuuga Nsamba agamba nti oluvannyuma lw’omukulembeze wa National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine okuwummulamu wiiki 2 wakuddamu okutalaaga eggwanga nga ne Masaka wakutuukayo. Mpuuga yasabye abantu obutawubisibwa kiragiro kya Uganda Police Force kyagamba nti tekiri mu mateeka nti era NUP yakugenda mu maaso n’okukola emirimu gyaayo […]
Olwaleero mazaalibwa ga Pulezidenti Museveni
Olwaleero lunaku lwamazaalibwa ga Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, ono yazaalibwa nga 15-September, 1944 era awezezza emyaka 79. Mwenna abazaalibwa ku lunaku lwerumu naye tubaagaliza olunaku lw’amazaalibwa olulungi.
Omubaka Ssegiriinya asiibuddwa
Omubaka wa Kawempe North Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Ssegiriinya Muhammad aka Mr Updates akubye ku matu nasiibulwa okuva mu Ddwaliro mu kibuga Amsterdam, Netherlands. Ono asiimye nnyo abawagizi ba NUP mu Netherlands abakoze ekisoboka okulaba nti afuna obujanjabi.
Ebikozesebwa mu kulonda byatuusiddwa dda e Hoima
Ebikozesebwa mu kulonda byatuusiddwa mu bifo eby’enjawulo ewagenda okulonderwa akalulu k’okujjuza ekifo kya Ssentebe wa Disitulikiti y’e Hoima era weziweredde ssaawa 1 eyookumakya ga leero ng’okulonda kutandise mu bitundu ebisinga obungi. Okusinziira ku Kakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission Uganda, okulonda kugenda kukomekerezebwa ku ssaawa 10 ez’olweggulo.
Ogw’okutta Nagiriinya ne ddereeva we gulindiridde kiva wa Ba Court Assessors
Ba Court Assessors 2 ku lunaku olwokubiri wiiki ejja bebagenda okuwa ekirowoozo kyabwe eri Omulamuzi wa Kkooti Enkulu Isaac Muwata ku oba abantu 6 abateeberezebwa okuttemula Maria Nagiriinya ne Ddereeva we Ronald Kitayimbwa basingisibwa omusango oba bayimbulwa awatali kuvunaanibwa. Kino okubaawo kidiridde Omulamuzi Muwata okutegeeza nga bwafundikira okwekeneenya obujulizi bwawaabi wamu ne Bannamateeka b’enjuyi zombi.
Poliisi tetwagiwandiikira kugisaba lukusa twali tugitegeeza butegeeza – Bobi Wine
Omukulembeze wa National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine avuddeyo ku byayogeddwa omwogezi wa Uganda Police Force SCP Fred Enanga; “Bwe twawandiikira Poliisi twali tetusaba lukusa kuva gyebali wabula twali tubategeezaako ku nteekateeka zaffe. Omumyuuka w’omuduumizi wa Poliisi DIGP, Maj. Gen Geoffrey Tumusiime Katsigazi talina buyinza kuwera mirimu gikolebwa kibiina kyabyabufuzi. Njagala okubakakasa […]
Okulonda e Hoima kugenda mu maaso
Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM era akwatidde ekibiina kino bbendera mu kuddamu okulonda okujjuza ekifo kya Ssentebe wa Disitulikiti y’e Hoima, Uthuman Mugisha Mubaraka, amalirizza okulonda. Ono alondedde ku ssomero lya Dwoli Church of Uganda, mu Ggombolola y’e Kitoba era n’ategeeza nti obuwanguzi bumuli mu ttaano.
Twabadde ba mirembe, Poliisi nga yetukolako efujjo – Bobi Wine
Omukulembeze wa National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine; “Abantu bafffe babadde ba mirembe nga bwetwakibagamba, wabula kyewuunyisa nti abantu ababadde baziba enguudo okumala essaawa eziwerako kati ate kati bebagamba nti tubadde tuziba enguudo. Mukirabye Pulezidenti Museveni ne mutabani we ne bawala be nabamufunamu bwebaziba enguudo mu kibuga wakati nga tewali abakuba ku […]