Mabiriizi agudde omusango ku DIGP Katsigazi

Okuwulira ogwokubba amabaati oguvunaanibwa Minisita Kitutu gwongezeddwayo

Kkooti eyongezzaayo okuwa ensala yaayo ku musango gw’amabaati oguvunaanibwa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’e Karamoja Dr. Mary Goretti Kitutu okutuusa nga 10 – November 2023. Kino kikoleddwa okuwa Kkooti ewozesa abalyake n’abakenuzi obudde obumala okwekeneenya wamu n’okutangaaza ku kya Minisita Kitutu kyeyavaayo nategeeza nti oludda oluwaabi terwaleeta bujulizi obwetaagisa okwewozaako ng’amateeka bwegakirambika.

Pulezidenti Museveni asula teyebase lwakutalaaga Ggwanga – Bobi Wine

Omukulembeze wa National Unity Platform – NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine ayongedde okukolokota Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni bwategeezezza abantu b’e Bunyoro nti entebe y’obwa pulezidenti agituddemu mu bukyamu kubanga yaginyakula ku ye era nti okutalaaga kwaliko kumutuuza obufoofofo. Kyagulanyi agamba nti entambula zaaliko Pulezidenti Museveni tazaagalirako ddala era aludde nga azirwanyisa okutuusa […]

Poliisi eyodde aba Booda Booda ababadde bekalakaasa mu Kampala

Aba booda booda mu Kampala enkya yaleero bakedde kukaalakaala n’omulambo gwa munnaabwe agambibwa okuba nga atomeddwa loole ya Homeklin Services. Kigambibwa nti loole eno emotomedde agezaako kudduka ku basirikale ba Uganda Police Force wamu nabakwasisa amateeka okuva mu kitongole kya Kampala Capital City Authority – KCCA ababadde bamugoba. Poliisi yeyambisizza omukka ogubalagala okugumbulula aba booda […]

Enanga alabudde Bobi Wine n’abawagizi be

Omwogezi wa Uganda Police Force SCP Fred Enanga yavuddeyo nawanjagira abawagizi ba National Unity Platform – NUP abavaayo mu bungi nebeyiwa ku nguudo olwo nebakola oluseregende olutambula empola nti kino kyabulabe eri bbo wamu n’omukulembeze wa NUP. Poliisi ebasabye okulaba nti bino byonna bikolebwa mu ngeri enuŋŋamu etali yabulabe olwo kisobozese Bannakibiina kya NUP okukozesa […]

Nannyini motoka eyakola akabenje netta abantu asibiddwa lwakulemererwa kuleeta ddereeva we

Nannyini mmotoka nnamba UBM 489B eyakola akabenje ddekabusa nga 26 December, 2022 omwafiira abantu, avunaaniddwa gwakulemererwa kuleeta dereeva eyali avuga mmotoka ye. Mukasa Godfrey nannyini mmotoka asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka etuula e Mpigi Fatuma Nabirye, n’asomebwa omusango gw’okulemererwa okuleeta ddereeva eyali avuga mmotoka ye nnamba UBM 489B eyakola akabenje nga 26 December, 2022. […]

Poliisi esiimye aba FDC

Omwogezi wa Uganda Police Force SCP Fred Enanga avuddeyo nasiima Bannakibiina kya Forum for Democratic Change Col. (Rtd) Dr. Kizza Besigye olwengeri gyebateeseteeseemu olukuŋŋaana lwabwe nga bakolera wamu n’ebyokwerinda mu Disitulikiti y’e Nebbi. Enanga agamba nti bano batudde munda mu Hall n’abantu 40 era nabalonda abakulembeze baabwe. Ono ayongeddeko nti olukiiko lwaggwa bulungi nga mpaawo […]

Amasiro g’e Kasubi gaziddwa ku lukalala lw’ebifo ebyobulambuzi eby’Ensi yonna

Amasiro g’e Kasubi gaggyiddwa ku lukalala lw’ebifo by’obulambuzi ebiri mu katyabaga. Amawulire gano gaasanguziddwa mu lukung’aana lwa UNESCO olugenda maaso mu kibuga Riyad ekya Saudi Arabia. Kino kitegeeza Amasiro gano gasobola okuleeta abalambuzi abava wano ne wabweru w’Eggwanga.

Nina emirimu mingi gyenkola – Minisita Huda

Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga zabazirwanako Huda Abason Oleru, agamba nti ekimutuusa ekikeerezi mu ntuula za Palamenti gyemirimu emingi gyabeera nagyo ku mmeeza ye. Ono agamba nti basanga obuzibu okwawuzaamu kyenkanyi obudde bwebalina okubeera mu Palamenti wamu n’okukola emirimu gyobwa Minisita. Nti era tebakikola kagenderere obutalabika mu Palamenti oba okujja ekikeerezi wabula giba mirimu […]

Baminisita balina emirimu mingi kyebava batajja – Rukia Nakadama

Omumyuuka wa Ssaabaminisita owookusatu Rukia Nakadama, yetonze ku lwa Baminisita okutuukanga ekikeerezi mu ntuula za Palamenti nategeeza nti bano balina emirimu mingi egyokukola wabula nasuubiza nti bagenda kufuba okulanga nti bakyuusaamu. Wabula ono yanenyezza Sipiika okusazaamu olutuula amangu nga agamba nti yandirinzeeko kuba ye yatuuse mu ddakiika 2 zokka Sipiika nasazzaamu olutuula. Ono agamba nti […]