Nina emirimu mingi gyenkola – Minisita Huda
Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga zabazirwanako Huda Abason Oleru, agamba nti ekimutuusa ekikeerezi mu ntuula za Palamenti gyemirimu emingi gyabeera nagyo ku mmeeza ye. Ono agamba nti basanga obuzibu okwawuzaamu kyenkanyi obudde bwebalina okubeera mu Palamenti wamu n’okukola emirimu gyobwa Minisita. Nti era tebakikola kagenderere obutalabika mu Palamenti oba okujja ekikeerezi wabula giba mirimu […]
Baminisita balina emirimu mingi kyebava batajja – Rukia Nakadama
Omumyuuka wa Ssaabaminisita owookusatu Rukia Nakadama, yetonze ku lwa Baminisita okutuukanga ekikeerezi mu ntuula za Palamenti nategeeza nti bano balina emirimu mingi egyokukola wabula nasuubiza nti bagenda kufuba okulanga nti bakyuusaamu. Wabula ono yanenyezza Sipiika okusazaamu olutuula amangu nga agamba nti yandirinzeeko kuba ye yatuuse mu ddakiika 2 zokka Sipiika nasazzaamu olutuula. Ono agamba nti […]
Jam abeera mungi mu kubo kyenva ntuuka ekikeerezi – Minisita Ssempijja
Minisita avunaanyizibwa ku byokwerinda n’ensonga zabazirwanako Vincent Ssempijja yavuddeyo nategeeza Palamenti nti okutuuka ekikeerezi kyavudde ku kalippagano k’ebidduka ku luguudo lwa Jinja Road olwokuba luli mu kudaabirizibwa. Ono yategeezezza nti kyamutwalidde essaawa nnamba okuva e Mbuya okutuuka ku Palamenti yadde nga alina obugombe bw’emotoka z’eggye lya UPDF n’emotoka eggulawo ekkubo.
Lwaki Baminisita mwebuzaabuza – Sipiika
Sipiika wa Palamenti Anitah Among avuddeyo nategeeza nti ekya Baminisita obutalabikako mu ntuula za Palamenti tekimuyigula ttama yadde nti tebamwagala n’omumyuuka we Thomas Tayebwa, wabula ye kyayagala nti balabikeko mu ntuula za Palamenti okwanukula ensonga ezinyiga Bannayuganda.
Baminisita lwaki temwagala Sipiika – Hon. Nyakikongoro
Omubaka Omukyala wa Disitulikiti y’e Sheema Rosemary Nyakikongoro avuddeyo nasaba Ssaabaminisita okuletera Palamenti olukalala lwa Baminisita abagamba nti tebaagala Sipiika Among wamu n’omuyuuka we Thomas Tayebwa nga agamba nti kuno kuba kuyisaamu Sipiika maaso. Ono ategeezezza nti Baminisita bwebaba tebawulira mirembe kubeera mu ntuula ezikubirizibwa Sipiika Among ne Tayebwa kimuleetera okwewuunya oba nga bano bakolera […]
Bobi Wine ayuguumizza Lira
Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform, Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine olwaleero atandise okutalaaga ebitundu bye Lira mu kaweefube gw’aliko okusisinkana abawagizi be n’okuggulawo woofiisi z’ekibiina mu bitundu eby’enjawulo. Ab’e Lira basangiddwa nga bamulindiridde ku makubo era obwedda buli wayita nga mizira na nduulu.
Kiki Bobi Wine kyakoledde Bannayuganda? – Hajat Namyalo
Omuwabuzi wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ow’enjawulo ku nsonga z’ebyobufuzi era nga yakulira offiisi ya National Resistance Movement – NRM – ONC Hadijah Namyalo bweyabuuziddwa ku nkuŋŋaana z’Omukulembeze wa National Unity Platform – NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine“Kyagulanyi yavuganya ku bwa Pulizidenti nawangulwa. Kiki kyasakidde Bannayuganda? Abadde asakira famire ye. Alina amayumba agobuwumbi….”
Musitule amaloboozi gammwe ababanyigiriza bagawulire – Bobi Wine
Omukulembeze wa National Unity Platform – NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine olunaku olwaleero asuubizza abantu b’e Busia okubaddiza obwannanyini ku by’obugagga ebiri mu kitundu kyabwe omuli ne zzaabu. Ono era abasabye okusitula amaloboozi gaabwe eri ababanyigiriza basobole okubeetakkuluzzaako.
Bobi Wine asuubizza ab’e Mayuge okubaddiza ennyanja
Pulezidenti wa National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine asuubizza abantu b’e Mayuge okubaddiza ennyanja yaabwe baddemu okuvuba nga tewali abakuba ku mukono singa aba akutte entebe y’obukulembeze bw’Eggwanga. Kyagulanyi era asabye abantu b’omubuvanjuba okusigala nga bali bumu bewale abantu abefunyiridde okubaawulayawula naddala nga bakozesa ssente y’omuwi w’omusolo. Bino abyogeredde mu lukuŋŋaana lw’akubye […]