Aba NUP kyonna ekibatuukako mwe mumanyi – Brig. Kulaigye

Ebya Nabbanja tebirina makulu, sijja kubiwa budde – Bobi Wine

Pulezidenti wa National Unity Platform – NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine avuddeyo nayanukula Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister ku bigambo byeyavaayo nayongera nti abantu abamwaniriza mu bitundu gyagenda yabasomba kuva Kampala, nategeeza nti tamwewuunya era tasobola kumuwa budde bwe. Kyagulanyi agamba abantu be tebalina kufa ku bigambo bya Nabbanja kubanga azinira ku […]

Eyali DPC w’e Koboko afulumizza ekifaananyi ngali Canada

Eyaliko DPC wa Poliisi y’e Wandegeya ne Koboko DPC Samuel Abwang yavuddeyo nalaga nga bwafaanana kati ngali mu Ggwanga lya Canada gyeyaddukira oluvannyuma lwokutoloka mu Ggwanga bweyali avunaanibwa omusango gwokutumbula ebisiyaga wamu n’okutunda emmundu.

Poliisi eragidde aba loogi okuwandiika ebikwata ku bagenyi

Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police, Patrick Onyango ayisizza ekiragiro ku loogi zonna ne wooteeri ezirina ebisulo okutandika okuwandiika bakasitoma baabwe. Okusinziira ku Onyango, ekiragiro kino tekisosola era kikola ku bakasitoma abasuzeewo ekiro ekiramba naabo abagenda okumalawo akaseera akatono.

UNRA ekirizza bbaasi okukozesa olutindo lw’e Katonga

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku nguudo mu Ggwanga ki Uganda National Roads Authority – UNRA kyaddaaki kikirizza bbaasi okuddamu okuyita ku lutindo lw’okumugga Katonga ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka. Bbaasi zibadde zimaze akaseera nga zigaaniddwa okuyita ku lutindo luno olubadde lutereezebwa nga kino kyaddirira enkuba okulwonoona. Okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa aba UNRA, obuzito obutasukka […]

Ssaabaminisita Nabbanja akiikiridde Pulezidenti Museveni e Kyankwanzi

Rt. Hon. Nabbanja Robinah Prime Minister atuuse ku ttendekero lya National Leadership Institute – Kyankwanzi ettendekero ly’ebyobukulembeze okwogerako eri abakulu b’amasomero ga Siniya ab’omubuvanjuba bwa Uganda abaagendayo okubangulwa ku nsonga ez’enjawulo. Ono akiikiridde Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ali ku mirimu gy’Eggwanga.

Sirina kyensobola kukolera bbeeyi y’amafuta – Minisita Okaasai

Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku byamasanyalaze, Sidronius Okaasai avuddeyo nategeeza Sipiika Anitah Among nga bwatalina kyasobola kukolera bbeeyi y’amafuta agalinnye ensangi zino okuggyako okugumya abantu kubanga zino nsonga za nsi yonna. Kino kiddiridde Sipiika okumubuuza kyebakozeewo okulaba nti ebbeeyi y’amafuta ekendeerako wabula ono ategeezezza nti ebimu ku bireese embeera eno be Bazungu okuba nga betaaga […]

NDA ekutte ababadde batunda eddagala lya Gavumenti

Ekitongole ekivunaanyizibwa ku Ddagala mu Ggwanga ekya Uganda National Drug Authority nga kikolera wamu ne Uganda Police Force kitegeezezza nga bwekikutte abantu 6 mu Kampala nga bano basangiddwa nga batunda eddagala lya Gavumenti okuli; ARVs, eryomusujja wamu nebikozesebwa okukebera akawuka akaleeta mukenenya n’ebirala ebikozesebwa mu malwaliro. Abakwatiddwa kuliko; Ambrose Mwiru ne Beinomugisha Vincent ngono abadde […]

FDC erangiridde okulonda kw’Abakulembeze abaggya

Ekibiina kya Forum for Democratic Change – FDC kirangiridde enteekateeka z’okulonda obukulembeze obuggya okuviira ddala ku bwa Pulezidenti okutuuka ku bakulembeze b’okubyalo. Enteekateeka eno erangiriddwa Omumyuka w’Omwogezi w’ekibiina John Kikonyogo mu lukuŋŋaana lwa Bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina e Nnajjanankumbi. Ono ategeezezza nti abantu bakufuna empapula z’okwesimbawo okuva nga 8 okutuuka nga 12 omwezi guno. Okusinziira […]

Bobi Wine akozesezza emotoka ya Gavumenti okusomba abantu – Kirunda

Amyuuka Munnamawulire wa Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni, Faruk Kirunda avuddeyo nategeeza; “Oluvannyuma lwa Bobi Wine okulemererwa okuweza abantu mu nkuŋŋaana ze asazeewo kukozesa motoka ya Gavumenti okunyiiza abebyokwerinda batandike effujjo. Avunaanyizibwa by’entambula mu Minisitule y’ebyobulamu alina okuvunaana avunaanyizibwa ku motoka nnamba UG 4679M.” Emotoka ngesombye!