Ebifo ebirala 6 bizuuliddwamu bbomu – Enanga

Poliisi esazeeko Mabiito Business Hub e Nateete

Abebyokwerinda basazeeko Mabiito Business Hub e Nateete mu Divizoni y’e Rubaga mu Kampala oluvannyuma lwekiteeberezebwa okubeera bbomu okusangibwa mu kitundu kino okuliraana offiisi za LC1 Nateete Central B. Abasuubuzi basabiddwa okwamuka ekifo kino.

Kitalo! Eyaliko HM wa Lubiri SS afudde

Kitalo! Eyaliko omukulu w’essomero lya Lubiri Senior Secondary Godfrey Ssentongo Ssempa afudde. Ono abadde yakawummula emirimu gyobusomesa. Ssentongo era yaliko omukulu w’essomero lya Bishop’s Senior School Mukono ne Kanjuki SS.

Embeera ya Ssegiriinya mbi

Omubaka wa Kawempe North Munnakibiina kya National Unity Platform Hon. Ssegiriinya Muhammad aka Mr Updates abasawo mu Ddwaliro e Buddaaki gyali mukujanjabibwa bakamutemye nti bwaba wakusuuka embeera gyalimu kati wakumala ku kitanda mu Ddwaliro emyezi 6.

Ebyabadde e Gabon tebisobola kutuuka Uganda – Kulayigye

Eggye ly’Eggwanga erya UPDF livuddeyo nerisekerera Bannabyabufuzi mu Uganda abalowooza nti okuwamba Gavumenti okubaluseewo mu Mawanga ga Africa naddala mu bugwanjuba kugenda kujja mu Uganda nti beerimba. Omwogezi w’eggye ly’eggwanga UPDF Spokesperson Brig. Gen. Felix Kulayigye agamba nti ensonga eyavuddeko amaggye okuwamba obukulembeze mu Ggwanga lya Niger, Gabon, Mali, n’amawanga amalala kukulembeza bya bugagga wabula […]

Omubaka wa Busiro North aduukiridde abalwadde

Hon Nsubuga Paul Busiro North Munnakibiina kya National Unity Platform olunaku lw’eggulo yakyaddeko ku Kakiri Subcounty Health Centre III erisangibwa e Kasoozo Magogo Parish nadduukirira abalwadde n’ebintu eby’enjawulo omwabadde bulangiti, ssabbuuni, essuuka, emmere wamu n’ebintu ebirala ebikozesebwa mu bulamu.

UPDF eragidde abambala ebyambalo by’amaggye okukomya

Omwogezi w’Eggye ly’eggwanga UPDF Spokesperson Brig. Gen. Felix Kulayigye avuddeyo nalabula Bannabyabufuzi abambala ebyambalo eby’efaananyirizaako ne by’Eggye lya UPDF okukikomya bunnambiro nti era babiweeyo ku kitebe ky’amaggye e Mbuya oba ssi ekyo baakukwatibwa bavunaanibwe. Kulayigye agamba nti baali baakola dda okulabula wabula bakizudde nti Bannabyabufuzi ate kati bazzeemu buto okwambala ebyambalo bino mu ngeri ey’okubasoomooza.

Pulezidenti Museveni akungubagidde eyaliko omubaka wa Kassanda

Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yakungubagidde Munnakibiina kya National Resistance Movement – NRM eyaliko Omubaka wa Kassanda North Ssalabaya Henry nategeeza nti ono abadde mwoyo gwa Ggwanga. Mu mubaka bwe obwasomeddwa Minisita Judith Nabakooba, Pulezidenti yategeezezza nti omugenzi abadde muwagizi wa NRM lukulwe ngayagala nnyo ebyobulimi. Mu 2008 bweyali akyali mubaka wa Palamenti yaleeta ekiteeso mu […]

Abalimi ba mayirungi batiisizza obutaddamu kulonda Pulezidenti Museveni

Abalimi ba mayirungi era Bannakibiina kya National Resistance Movement – NRM e Butambala bavuddeyo nebakomba kwebaza eriibwa nti kikafuuwe tebajja kukombya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni kalulu singa kamutanda n’ateeka omukono ku tteeka eriwera okulima n’okutunda amayirungi mu Ggwanga. Bano bagamba amayirungi ye maama ye taata waabwe nga munno mwebaggya ne ssente ze bassa mu kalulu […]

Minisitule ya mazzi emenye ekikomera ekibadde kizimbiddwa mu lutobazi mu Namanve

Abakwasisa amateeka mu Minisitule evunaanyizibwa ku by’amazzi wamu n’obutonde bw’ensi olunaku olwaleero bamenye ekikomero ekibadde kizimbibwa wakati mu lutobazi lw’e Namanve. National Environment Management Authority (NEMA) Uganda ewagidde omulimu guno ogwokumenya ekikomera kino, ye nannyini kuzimba kikomera kino ateeberezebwa okubeera Munnansi wa Buyindi adduse.